Kiri mu Mbeera Ki?
Ekyo kibuuzo kirungi nnyo kye tusaanidde okwebuuza nga tuteekateeka okugaba ekitabo kyonna. Ekitabo kyonna ekyefunyizzafunyizza, ekigubye oba ekiyulise kijja kuleetera omuntu okufuna ekifaananyi ekibi ku kibiina kyaffe, era kiyinza okuwugula ebirowoozo by’oyo gwe tuba tubuulira n’alemererwa okussaayo omwoyo ku bubaka obulungi ennyo, obuwonya obulamu obuli mu kitabo ekyo.
Tuyinza tutya okukuuma ebitabo byaffe nga biri mu mbeera nnungi? Bangi bakisanga nga kya muganyulo okutegeka obulungi ensawo zaabwe ze bakozesa mu kubuulira ng’ebitabo eby’ekika ekimu babiteeka wamu. Okugeza, ekifo ekimu bakiteekamu bitabo, ekirala ne bakiteekamu magazini ne brocuwa, ate ekirala ne bakiteekamu butulakiti era n’ebintu ebirala mu bifo byabyo. Buli lwe baba bazzaayo Bayibuli zaabwe n’ebitabo ebirala mu nsawo zaabwe, bakikola n’obwegendereza okwewala okubyonoona. Ababuulizi abamu bateeka ebitabo byabwe mu busawo bwa pulasitiika. Ka tube nga tukozesa ki okukuuma ebitabo byaffe, tetwagala muntu yenna kubaako ne ky’asinziirako okuvumirira obuweereza bwaffe nga tumuwa ekitabo ekitalabika bulungi.—2 Kol. 6:3.