“Nja Kutwala Akatabo Ko Singa Naawe Otwala Akange”
Bwe tuba tubuulira, oluusi tusanga abantu abatugamba bwe batyo. Okuva bwe kiri nti ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli tetubiwaanyisa n’ebyo ebirimu enjigiriza ez’obulimba, abantu ng’abo tuyinza kubaddamu tutya? (Bar. 1:25) Tuyinza okugamba nti: “Weebale nnyo. Akatabo ako koogera ki ku ngeri ebizibu by’abantu gye binaagonjoolwamu? [Muleke abeeko ky’addamu. Bw’akugamba okusoma akatabo ke osobole okufuna eky’okuddamu, oyinza okumugamba nti ggwe osoose kumubuulira ebiri mu katabo ko. Oluvannyuma soma oba juliza Matayo 6:9, 10.] Yesu yagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa wano ku nsi. N’olwekyo, ebitabo by’eddiini bye nsoma by’ebyo byokka ebyogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Wandyagadde nkulage mu Bayibuli ebimu ku bintu Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola?”