Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 30
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 30
Oluyimba 27 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 13, ekibuuzo 1-4 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abaggalatiya 1-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Abaggalatiya 1:18–2:10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Waliwo Amadiini Mangi?—rs-E lup. 322 ¶1–lup. 323 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Yakuwa y’Agwanidde Okusinzibwa—Kub. 4:11 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: “Osobola Okubuulirako Nabo?” Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Okitobba.
Ddak. 10: Engeri z’Okubuuliramu Amawulire Amalungi—Okubuulira Abantu Aboogera Ennimi Endala. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 104, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 105, akatundu 3. Laga ekyokulabirako kimu.
Ddak. 10: Teweeraliikiriranga. (Mat. 6:31-33) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2013, olupapula 138, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 139, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Oluyimba 40 n’Okusaba