Ebirango
Eby’okugaba mu Febwali: Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula 32: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Omwagalwa Wo bw’Afa, oba Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda. Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, musobola okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Musobola n’okubawa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Maaki ne Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! oba brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Maayi ne Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Bayibuli Ogitwala Otya?, Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, Okubonaabona Kuliggwaawo?, Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?, oba Wandyagadde Okumanya Amazima?
Emboozi ey’enjawulo eneeweebwa mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2014, ejja kuba n’omutwe ogugamba nti: “Lwaki Katonda ow’Okwagala Aleka Ebintu Ebibi Okubaawo?”
Ababuulizi bwe baba babuulira mu lujjudde nga bakozesa emmeeza oba akagaali okuli ebitabo tebasaanidde kuteekako Bayibuli. Naye, omuntu bw’aba nga ddala asiimye obubaka bwaffe oba bw’asaba Bayibuli bayinza okugimuwa.