Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Nga Tugaba Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo
“Tukuleetedde akapapula kano nga tukuyita n’ab’omu maka go ku mukolo omukulu ennyo ogubaawo buli mwaka mu nsi yonna. Ku luno gujja kubaawo nga Maaki 26. Omukolo ogwo gwa kujjukira kufa kwa Yesu. Wajja kubaawo okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli nga kunnyonnyola engeri okufa kwa Yesu gye kutuganyulamu. Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo guno we gunaabeera mu kitundu kyaffe. Okuyingira kwa bwereere.”
Omunaala gw’Omukuumi Maaki 1
“Abamu beebuuza ekibuuzo kino, ‘Ddala waliwo obukakafu bwonna obulaga nti Yesu yazuukizibwa?’ Naawe wali okyebuuzizzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ensonga lwaki kikulu nnyo okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. [Soma 1 Abakkolinso 15:14.] Magazini eno erimu obukakafu obulaga nti Yesu yazuukizibwa.”
Awake! Maaki
“Naawe okiraba nti ennaku zino si kyangu kukuza baana? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abazadde bangi bafunye amagezi amalungi mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, olunyiriri luno luyambye bataata okulaba obukulu bw’okusiima abaana baabwe nga balina ebirungi bye bakoze, ekibayambye okukula nga ba buvunaanyizibwa. [Soma Abakkolosaayi 3:21.] Ekitundu kino kiraga ebintu bitaano ebisobola okuyamba bataata.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 4.