Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okugaba Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo
“Tukuleetedde akapapula kano nga tukuyita ku mukolo omukulu ennyo ogugenda okubaawo nga Apuli 14. Abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu Kristo, era wajja kubaawo okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli okulaga engeri okufa kwa Yesu gye kutuganyulamu. Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo ogwo we gugenda okubeera mu kitundu kyaffe.”
Omunaala gw’Omukuumi Apuli 1
“Abantu abasinga obungi basaba. Olowooza Katonda addamu okusaba kwaffe, oba okusaba kutuyamba buyambi obutalowooza nnyo ku bizibu byaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli ky’eyogera ku kusaba. [Soma 1 Yokaana 5:14.] Akatabo kano kalaga ensonga lwaki kikulu okusaba.”
Awake! Apuli
“Leero waliwo ebizibu bingi nnyo ne kiba nti abantu abamu bibayitirirako ne batuuka n’okwagala okwetta. Olowooza abantu ng’abo ddala baba baagala okufa, oba baba baagala bwagazi kufuna buweerero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekisuubizo kya Katonda kino kiyambye bangi okuba n’endowooza ennuŋŋamu wadde nga balina ebizibu. [Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.] Akatabo kano koogera ku nsonga ssatu lwaki omuntu teyandirowoozezza ku kya kwetta wadde ng’alina ebizibu bingi.”