Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Maaki ne Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! oba brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Maayi ne Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Bayibuli Ogitwala Otya?, Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, Okubonaabona Kuliggwaawo?, Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?, oba Wandyagadde Okumanya Amazima?
◼ Omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Bbalaza nga Apuli 14, 2014. Ekibiina kyammwe bwe kiba n’enkuŋŋaana ku Bbalaza, zirina okukyusibwa ziteekebwe ku lunaku olulala olwa wiiki singa tewabaawo kibiina kirala kigenda kukozesa Kizimbe kya Bwakabaka. Kino bwe kiba tekisoboka, ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde ayinza okukyusa ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza naddala ebyo ebisinga okukwata ku kibiina kyammwe, ne muba nabyo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olulala.
◼ Emboozi ya bonna ejja okuweebwa omulabirizi w’ekitundu ku lukyala olw’okubiri mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2014 ejja kuba n’omutwe ogugamba nti, “Okununulibwa mu Kiseera eky’Obuyinike.”