Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 7
WIIKI ETANDIKA APULI 7
Oluyimba 15 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 5 ¶9-17 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okuva 7-10 (Ddak. 10)
Na. 1: Okuva 9:20-35 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Yesu Anaakomawo Atya, era Buli Liiso Lirimulaba mu Ngeri Ki?—rs-E lup. 342 ¶4–lup. 343 ¶5 (Ddak. 5)
Na. 3: Ddi Lwe Kiba Ekituufu Omuntu Okukyusa Eddiini?—td 6C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Mugabe Magazini mu Apuli. Kukubaganya birowoozo. Ng’otandika, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okugabamu magazini nga tukozesa ennyanjula eziweereddwa ku lupapula luno. Oluvannyuma laga ensonga lwaki ennyanjula ezo zijja kusikiriza abantu. Ng’ofundikira, kubiriza bonna okusoma magazini bategeere ebizirimu era bafube okuzigaba.
Ddak. 10: Musembezenga Abagenyi. (Beb. 13:1, 2) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Bategeeze enteekateeka ezikoleddwa mu kibiina kyammwe ezikwata ku Kijjukizo. Ate era bakubirize okwaniriza abagenyi nga mw’otwalidde n’ababuulizi abatakyakuŋŋaana abanaabaawo ku mukolo ogwo. Laga ebyokulabirako bibiri. Mu kisooka, ng’omukolo tegunnatandika, omubuulizi ayaniriza oyo eyafuna akapapula akamuyita ku Kijjukizo. Mu ky’okubiri, ng’omukolo guwedde, omubuulizi y’omu akola enteekateeka n’omuntu oyo asobole okumuyamba okuyiga ebisingawo.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekirina omutwe ogugamba nti: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuddamu Abo Abatayagala Kutuwuliriza,” era basabe boogere ku birungi ebivuddemu.
Oluyimba 20 n’Okusaba