Ofuba Okugaba Magazini Enkadde?
Okuva bwe kiri nti magazini zaffe enkadde bwe tuzitereka oba bwe tuzisuula abantu baba tebasobola kuziganyulwamu, tusaanidde okufuba okuzigaba. Bwe tuwa omuntu magazini, asobola okuyiga amazima n’atandika okukoowoola erinnya lya Yakuwa. (Bar. 10:13, 14) Amagezi gano wammanga gajja kutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okugabamu magazini zaffe enkadde.
Bwe muba temusanze muntu waka mu kitundu kye mutatera kubuuliramu, muyinza okuleka magazini enkadde mu kifo abayise we batasobola kugirabira.
Bwe muba mubuulira mu bifo ebya lukale, gamba nga ku siteegi z’ebidduka, buuza abantu obanga bandyagadde okufuna eky’okusomako, balage magazini enkadde, era obasabe balondeko ze baagala.
Bw’oba ogenda mu bifo awatera okuba abantu abangi ebiri mu kitundu kye mubuuliramu, gamba nga mu malwaliro, leka magazini enkadde mu kifo abantu we balindira. Omuntu avunaanyizibwa ku kifo ekyo bw’aba waali, kiba kirungi okusooka okumusaba olukusa. Bwe wabaawo magazini zaffe mu kifo ekyo, tolekaawo ndala.
Bw’oba ogenda kuddayo eri oyo ayasiima obubaka bwaffe, lowooza ku ekyo ekiyinza okumusikiriza. Mufumbo? Alina abaana? Mulimi? Kebera mu magazini enkadde z’olina olabe eyinza okumusikiriza, era ogimutwalire.
Bwe wabaawo omuntu gw’ototera kusanga waka ng’ogenze okubuulira, lw’omusanze muwe magazini z’ataafuna.