Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 31
WIIKI ETANDIKA MAAKI 31
Oluyimba 105 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 5 ¶1-8 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okuva 1-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Okuva 2:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Yesu bw’Anaaba Akomyewo Abantu Tebajja Kumulaba—rs-E lup. 341 ¶3–lup. 342 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Kikyamu Okuvumirira Enjigiriza ez’Obulimba?—td 6B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: “Ofuba Okugaba Magazini Enkadde?” Kukubaganya birowoozo. Bwe muba mulina magazini enkadde, tegeeza ababuulizi bazifune era baziwe abantu nga bagenze okubuulira. Saba abawuliriza boogere ku birungi ebivudde mu kugaba magazini enkadde. Ng’omaliriza, saba omulabirizi w’obuweereza abategeeze ekibiina kyammwe we kituuse mu kugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Matayo 28:20 ne 2 Timoseewo 4:17. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri zino gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Oluyimba 135 n’Okusaba