ESSUULA 5
Amaanyi Ge Yakozesa Okutonda—Oyo “Eyakola Eggulu n’Ensi”
1, 2. Enjuba eyoleka etya amaanyi ga Yakuwa ag’okutonda?
WALI oyoseeko omuliro mu budde obunnyogovu? Oboolyawo wali mu kifo ekituufu okuva awaali omuliro ogwo. Singa wagusemberera nnyo, ebbugumu lyandibadde lingi. Ate singa waguli wala, wandiwulidde obunnyogovu bungi.
2 Waliwo “omuliro” ogutubugumya buli lunaku. “Omuliro” ogwo guli mayiro ng’obukadde 93 okuva we tuli!a Ng’enjuba eteekwa okuba nga ya maanyi nnyo, okuba nti osobola okuwulira ebbugumu lyayo ate ng’eri wala nnyo! Kyokka, ensi yeetooloola enjuba eyo ng’egyesudde ebbanga ettuufu. Singa ensi yali kumpi nnyo, amazzi agagiriko gandikalidde; ate singa yali wala, gandikutte bbalaafu. N’olwekyo, singa ensi yagiri kumpi oba wala okusingako w’eri, teyandisobodde kubaako bulamu. Ng’oggyeeko okuba nti ekitangaala ekiva ku njuba kyetaagisa obulamu okusobola okubaawo ku nsi, kiyonjo, kya mugaso, era kisanyusa.—Omubuulizi 11:7.
3. Kiki kye tuyiga bwe tutunuulira enjuba?
3 Wadde kiri kityo, abantu abasinga obungi enjuba tebagitwala ng’ekintu ekikulu ennyo, wadde ng’obulamu bwabwe kwe bwesigamye. Bwe kityo, tebategeera njuba ky’etuyigiriza. Bayibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa: “Wakola ekitangaala n’enjuba.” (Zabbuli 74:16) Enjuba eweesa Yakuwa ekitiibwa, oyo “eyakola eggulu n’ensi.” (Zabbuli 19:1; 146:6) Y’emu ku bitonde eby’omu bwengula ebitulaga amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda. Ka twekenneenye ebimu ku bitonde bino ate oluvannyuma tutunuulire ensi n’ebiramu ebigiriko.
Yakuwa ‘yakola ekitangaala n’enjuba’
“Muyimuse Amaaso Gammwe Mutunule Waggulu Mulabe”
4, 5. (a) Enjuba ya maanyi kwenkana wa, era nnene kwenkana wa? (b) Yenkana wa bw’ogigeraageranya n’emmunyeenye endala?
4 Wandiba ng’okimanyi nti enjuba yaffe nayo mmunyeenye. Ekigirabisa okuba ennene okusinga emmunyeenye ze tulaba ekiro, kiri nti, yo etuli kumpi okuzisinga. Ya maanyi kwenkana wa? Munda mu makkati gaayo enjuba erimu ebbugumu eriri ku kipimo kya 15,000,000°C. Singa wali osobola okusokoola mu makkati g’enjuba akatundu akenkana akatwe ka ppini n’okaleeta ku nsi, kyandibadde kikwetaagisa okuyimirira okuva we kali mayiro ezisukka mu 90 okusobola okusigala nga totuukiddwako kabi! Buli katikitiki, enjuba efulumya amaanyi agenkanankana aga bbomu za nukiriya mitwalo na mitwalo.
5 Enjuba nnene nnyo ne kiba nti esinga ensi obunene emirundi egisukka mu 1,300,000. Kati olwo enjuba mmunyeenye nnene nnyo? Nedda, kubanga abakugu mu by’emmunyeenye bagamba nti ntono nnyo bw’ogigeraageranya ku mmunyeenye endala. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ekitiibwa ky’emmunyeenye emu tekyenkana na kya mmunyeenye ndala.” (1 Abakkolinso 15:41) Omwoyo omutukuvu gwe gwayamba Pawulo okuwandiika ebigambo ebyo. Eriyo emmunyeenye ennene ennyo ne kiba nti singa eteekebwa mu kifo enjuba w’eri, yandibuutikidde n’ensi kwe tuli. Era waliyo emmunyeenye endala ennene ennyo nga singa nayo eteekebwa mu kifo kye kimu, yandibadde etuuka ne mu kifo awali pulaneti eyitibwa Saturn, eri ewala ennyo okuva awali ensi ne kiba nti kyatwalira ekizungirizi emyaka ena okutuukayo, ate nga kyali kitambulira ku sipiidi ekubisaamu emirundi 40 ey’essasi erikubiddwa emmundu ey’amaanyi!
6. Bayibuli eraga etya nti emmunyeenye nnyingi nnyo?
6 Ekyewuunyisa ennyo okusinga n’obunene bw’emmunyeenye, bwe bungi bwazo. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti emmunyeenye tezibalika “ng’omusenyu gw’ennyanja.” (Yeremiya 33:22) Ebigambo bino bitegeeza nti waliyo emmunyeenye endala nnyingi nnyo okusinga ezo eziyinza okulabibwa n’amaaso. Singa, omuwandiisi wa Bayibuli, nga Yeremiya, yatunula ku ggulu ekiro n’agezaako okubala emmunyeenye ezirabika, yandibadde abala emmunyeenye nga nkumi ssatu zokka, kubanga ezo ze ziyinza okulabibwa n’amaaso ekiro. Obungi bw’emmunyeenye ezo buyinza okugeraageranyizibwa ku mpeke z’omusenyu eziteekeddwa mu lubatu. Kyokka, emmunyeenye nnyingi nnyo n’okusingawo; ziringa ‘omusenyu gw’ennyanja.’b Ani ayinza okubala emmunyeenye ezo?
‘Zonna azituuma amannya’
7. (a) Ekibinja ky’emmunyeenye kye tulimu kirimu emmunyeenye nnyingi kwenkana wa? (b) Ebibinja by’emmunyeenye biri bimeka era binene kwenkana wa?
7 Isaaya 40:26, lugamba nti: “Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe. Ani yatonda ebintu ebyo? Y’Oyo aggyayo eggye lyabyo okusinziira ku muwendo gwabyo; Byonna abiyita amannya.” Zabbuli 147:4 lugamba nti: “Abala emmunyeenye.” “Emmunyeenye” ziri mmeka? Ekibuuzo ekyo si kyangu kuddamu. Abakugu mu by’emmunyeenye bateebereza nti emmunyeenye ezisukka mu buwumbi 100 ze ziri mu Kibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli ekiyitibwa Milky Way.c Kyokka abalala bagamba nti nnyingi n’okusingawo. Naye ekibinja ky’emmunyeenye mwe tuli kye kimu ku bibinja by’emmunyeenye ebingi, ebirimu emmunyeenye ezisingawo n’obungi. Ebibinja by’emmunyeenye biri bimeka? Abakugu mu by’emmunyeenye bagamba nti ebibinja by’emmunyeenye biri mu buwumbi bikumi na bikumi. N’olwekyo, abantu tebasobola kumanya muwendo gwa bibinja bya mmunyeenye, wadde omuwendo omutuufu ogw’emmunyeenye buwumbi na buwumbi eziri mu bibinja ebyo. Kyokka Yakuwa amanyi obungi bwazo. Ate era buli mmunyeenye yagituuma erinnya!
8. (a) Wandinnyonnyodde otya obunene bw’Ekibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli? (b) Kiki Yakuwa kye yassaawo okufuga entambula y’ebitonde ebiri mu bwengula?
8 Tweyongera okuwuniikirira bwe tufumiitiriza ku bunene bw’ebibinja by’emmunyeenye. Ekibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli kinene nnyo ddala. Teebereza ekitangaala ekitambulira ku sipiidi ya mayiro 186,000 buli katikitiki. Kyandikitwalidde emyaka 100,000 okuva ku ludda olumu olw’ekibinja ky’emmunyeenye mwe tuli okutuuka ku ludda lwakyo olulala! Ate ebibinja by’emmunyeenye ebimu bikubisaamu ekyo mwe tuli obunene emirundi mingi. Bayibuli egamba nti Yakuwa ‘ayanjuluza eggulu’ ng’oli bwe yandyanjuluza olugoye. (Zabbuli 104:2) Era y’ateekateeka n’entambula y’ebitonde bino. Okuva ku kaweke k’enfuufu akasingayo obutono mu bwengula okutuuka ku kibinja ky’emmunyeenye ekisingayo obunene, byonna bitambulira ku mateeka agafuga obutonde Katonda ge yassaawo. (Yobu 38:31-33) Bwe kityo, bannasayansi bageraageranyizza entambula y’ebitonde eby’omu bwengula ku mazina agategekeddwa mu ngeri ey’ekikugu! Lowooza ku Oyo eyatonda ebintu bino byonna. Katonda alina amaanyi ng’ago takuwuniikiriza?
“Yakola Ensi ng’Akozesa Amaanyi Ge”
9, 10. Amaanyi ga Yakuwa geeyoleka gatya bw’olowooza ku kifo we yateeka Jupiter, ensi, n’omwezi?
9 Amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda geeyoleka ku nsi kwe tuli. Yateeka ensi mu kifo ekituufu mu bwengula obunene ennyo. Bannasayansi abamu balowooza nti ensi teyandisobodde kubeerako bintu biramu ng’eri mu bibinja by’emmunyeenye ebirala. Ate era kirabika ebitundu bingi mu Kibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli tebisobola kubaako bulamu. Mu makkati gaakyo, emmunyeenye nnyingi nnyo era ziri kumu kumu. Mulimu ekitangaala n’ebbugumu bingi nnyo era emirundi egimu emmunyeenye ziba zibulako katono okutomeregana. Ate ku njegoyego yaakyo, bingi ku bintu ebibeesaawo obulamu tebiriiyo. Kyokka yo ensi eri mu kifo ekituufu wakati w’ebifo ebyo ebibiri.
10 Ensi eganyulwa nnyo mu pulaneti ennene ennyo eyitibwa Jupiter egiri ewala ennyo. Pulaneti eno esinga ensi obunene emirundi egisukka mu lukumi era esika ensi. Ekyo kivaamu ki? Ewugula ebintu ebitambulira mu bbanga. Bannasayansi bagamba nti singa Jupiter teyaliiwo, ebintu ebitomera ensi byandisinzeewo obungi emirundi 10,000. Okuliraana ensi, waliwo omwezi. Ng’oggyeeko okulabika obulungi n’okutuwa ekitangaala ekiro, gusobozesa ensi okuba nga yeewunziseemu katono. Okwewunzika okwo kusobozesa ebiseera by’enkuba n’eby’omusana okubaawo, ekintu eky’omuganyulo ennyo wano ku nsi.
11. Ebbanga eryetoolodde ensi lituwa litya obukuumi?
11 Amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda geeyolekera mu ngeri gye yatondamu ensi. Lowooza ku bbanga eryetoolode ensi. Ebbanga likuuma ensi. Enjuba evaako amayengo amalungi n’ag’obulabe. Ag’obulabe bwe gatuuka mu bbanga eryetoolodde ensi, galeetera oxygen okufuuka omukka oguyitibwa ozone. Omukka ogwo guziyiza amayengo ag’obulabe okutuuka ku nsi. N’olwekyo, ensi yakolebwa ng’erina olububi olugikuuma!
12. Entambula y’amazzi mu bbanga eyoleka etya amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda?
12 Ogwo gwe gumu ku migaso gy’ebbanga eryetoolodde ensi yaffe, eririmu emikka egy’enjawulo nga gitabikiddwa mu kigero ekituufu okusobola okubeesaawo ebintu ebiramu ebiri ku nsi oba mu bbanga erigyetoolodde. Ekirala ekyewuunyisa ku bbanga, ye ntambula y’amazzi. Buli mwaka enjuba esitula amazzi mangi nnyo okuva mu gayanja ku nsi. Amazzi ago gakola ebire, ebisaasaanyizibwa empewo. Amazzi ago oluvannyuma lw’okusengejjebwa, gatonnya ng’enkuba oba gagwa ng’omuzira ku nsi. Ekyo kikwatagana n’ekyo Omubuulizi 1:7 kye lugamba: “Emigga gyonna gikulukutira mu nnyanja, naye ennyanja tejjula. Mu kifo emigga we giva, we gidda ne giddamu okukulukuta.” Yakuwa yekka y’asobola okussaawo entambula y’amazzi ng’eyo.
13. Bujulizi ki obw’amaanyi g’Omutonzi bwe tulaba bwe twetegereza ebimera n’ettaka?
13 Buli wonna we tulaba ebiramu, tulaba obujulizi obulaga nti eyabitonda alina amaanyi mangi nnyo. Emiti eminene ennyo era emiwanvu okusinga n’ebizimbe ebya kalina 30, n’ebimera ebisirikitu ebisangibwa mu gayanja aganene era ebikola omukka gwe tussa, byoleka amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda. Ettaka lijjudde ebiramu, omuli ensiriŋŋanyi, n’ebitonde ebirala ebisirikitu, byonna bikolera wamu okusobozesa ebimera okukula. Kituukirawo okuba nti Bayibuli eyogera ku ttaka ng’eririna amaanyi.—Olubereberye 4:12, obugambo obuli wansi.
14. Maanyi ki agali mu kantu akasirikitu akayitibwa atomu?
14 Awatali kubuusabuusa, Yakuwa “ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge.” (Yeremiya 10:12) Amaanyi ga Yakuwa geeyolekera ne mu buntu obusirikitu bwe yatonda. Ng’ekyokulabirako, singa oteeka wamu akakadde kamu ak’obuntu obusirikitu obuyitibwa atomu, buba tebusinga bunene luviri lumu olw’omuntu. Ate singa ka atomu kamu kazimbulukusibwa ne kenkana ekizimbe ekya kalina 14, akantu akabeera mu makkati gaako akayitibwa nucleus kaba tekenkana mpeke y’omunnyo eri ku mwaliro ogw’omusanvu. Kyokka, ka nucleus ako akatono ennyo ye nsibuko y’amaanyi amangi ennyo agavaamu bbomu ya nukiriya!
“Buli Kiramu Ekissa”
15. Ng’ayogera ku nsolo ezitali zimu, kiki Yakuwa kye yayigiriza Yobu?
15 Obujulizi obulala obulaga amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda bulabikira mu bisolo ebingi ebiri ku nsi. Zabbuli 148 emenya ebintu bingi ebitendereza Yakuwa, era olunyiriri 10 lwogera ku ‘nsolo ez’omu nsiko n’ensolo ez’awaka.’ Ng’awa ensonga lwaki omuntu yandiwuniikiridde olw’ebyo Omutonzi bye yakola, Yakuwa yategeeza Yobu ku bisolo ng’empologoma, endogoyi ey’omu nsiko, embogo, envubu, ne ggoonya. Kiki kye yali ayagala okuggumiza? Bwe kiba nti omuntu awuniikirira olw’ebisolo bino eby’amaanyi era eby’entiisa, kati olwo yanditutte atya Oyo eyabitonda?—Yobu, essuula 38-41.
16. Kiki ekikwewuunyisa ku bimu ku binyonyi Yakuwa bye yatonda?
16 Zabbuli 148:10 lwogera ne ku ‘binyonyi.’ Lowooza ku bika by’ebinyonyi ebitali bimu! Yakuwa yategeeza Yobu ku mmaaya, “asekerera embalaasi n’oyo agyebagadde.” Wadde ekinnyonnyi kino ekiweza ffuuti munaana obuwanvu tekiyinza kubuuka, kisobola okudduka mayiro 40 buli ssaawa, era ng’oluta lwakyo lumu luweza ffuuti 15! (Yobu 39:13, 18) Ku luuyi olulala, ekinyonyi ekinene ennyo ekiyitibwa albatross kibeera mu bbanga waggulu w’agayanja aganene ebiseera ebisinga obungi. Ebiwaawaatiro byakyo bwe biba bigoloddwa biwera ffuuti nga 11. Kiyinza okuseeyeeya mu bbanga okumala essaawa eziwera nga tekikuba biwaawaatiro byakyo. Ate ko akanuunansubi? Ke kanyonyi akasingayo obutono mu nsi yonna era kaweza inci nga bbiri zokka obuwanvu. Kayinza okukuba ebiwaawaatiro byako emirundi 80 buli katikitiki! Akanuunansubi kayinza okukuba ebiwaawaatiro nga kali mu kifo kimu ng’ennyonyi nnamunkanga era n’okubuuka nga kadda ekyennyumannyuma.
17. Lukwata eyitibwa blue whale yenkana wa obunene, era okwatibwako otya bw’okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa?
17 Zabbuli 148:7 lugamba nti: “Ensolo ennene ez’omu mazzi” zitendereza Yakuwa. Lowooza ku lukwata eyitibwa blue whale erowoozebwa okuba ekisolo ekisingayo obunene ku nsi. Lukwata eno ebeera mu gayanja aganene eyinza okuweza ffuuti 100 n’okusingawo. Obuzito bwayo buyinza okwenkanankana obw’enjovu enkulu 30. Obuzito bw’olulimi lwayo bwenkana obw’enjovu emu. Omutima gwayo gwenkana akamotoka akatono. Omutima guno omunene ennyo gukuba emirundi mwenda gyokka buli ddakiika, ekyawukana ennyo ku mutima gwa kanuunansubi ogukuba emirundi nga 1,200 buli ddakiika. Ogumu ku misuwa gya lukwata eno munene nnyo ne kiba nti omwana omuto ayinza okugwavuliramu. Mazima ddala tukkiriziganya n’ebigambo bino ebifundikira ekitabo kya Zabbuli: “Buli kiramu ekissa—kitendereze Ya.”—Zabbuli 150:6.
Yigira ku Maanyi Yakuwa Ge Yakozesa Okutonda
18, 19. Ebitonde Yakuwa bye yatonda ku nsi byenkana wa obungi, era bituyigiriza ki ku bufuzi bwe?
18 Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okutonda? Tuwuniikirira olw’ebitonde ebingi ate eby’enjawulo. Omuwandiisi wa Zabbuli omu yagamba nti: “Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa! . . . Ensi ejjudde ebintu bye wakola.” (Zabbuli 104:24) Ekyo kituufu nnyo! Bannasayansi bazudde ebika by’ebintu ebiramu ebisukka mu kakadde; kyokka abamu balowooza nti waliwo ebika ebirala bukadde na bukadde. Omusiizi w’ebifaananyi ebiseera ebimu ayinza okukisanga nti takyalina bipya bya kwongera mu mulimu gwe. Okwawukana ku ekyo, obusobozi bwa Yakuwa obw’okukola n’okutonda ebintu ebippya tebukoma.
19 Engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okutonda erina ky’etuyigiriza ku bufuzi bwe. Ekigambo “Omutonzi” kyawula Yakuwa ku bintu ebirala byonna mu butonde, kubanga byonna ‘byatondebwa.’ N’Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka, era ‘eyakolera’ awamu ne Katonda mu kutonda, tayitibwa Mutonzi mu Bayibuli. (Engero 8:30; Matayo 19:4) Wabula, ye ‘mubereberye w’ebitonde byonna.’ (Abakkolosaayi 1:15) Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi, y’agwanidde okufuga obutonde bwonna.—Abaruumi 1:20; Okubikkulirwa 4:11.
20. Kitegeeza ki okuba nti Yakuwa yawummula bwe yamala okutonda ebintu ebiri ku nsi?
20 Yakuwa alekedde awo okukozesa amaanyi ge okutonda? Bayibuli egamba nti Yakuwa bwe yamala okutonda ku lunaku olwomukaaga, ‘ku lunaku olw’omusanvu yatandika okuwummula emirimu gye gyonna gye yali akola.’ (Olubereberye 2:2) Omutume Pawulo yalaga nti ‘olunaku’ olw’omusanvu lulimu enkumi n’enkumi z’emyaka, kubanga lwali lukyagenda mu maaso. (Abebbulaniya 4:3-6) Naye ekigambo ‘okuwummula’ kitegeeza nti Yakuwa yalekera awo okukola? Nedda, Yakuwa talekeranga awo kukola. (Zabbuli 92:4; Yokaana 5:17) N’olwekyo, okuwummula okwo kutegeeza okulekera awo okutonda ebintu ku nsi. Kyokka, omulimu gwe ogw’okutuukiriza ebigendererwa bye gukyagenda mu maaso. Ng’ekyokulabirako yaluŋŋamya abaawandiika Bayibuli. Omulimu gwe era guzingiddemu okussaawo ‘ekitonde ekiggya,’ ekijja okwogerwako mu Ssuula 19.—2 Abakkolinso 5:17.
21. Bwe tunaabeerawo emirembe gyonna, tunaakwatibwako tutya olw’amaanyi Yakuwa g’akozesa okutonda?
21 Olunaku lwa Yakuwa olw’okuwummula bwe lunaakoma, ajja kusobola okwogera nti emirimu gye gyonna gy’akoze ku nsi ‘mirungi nnyo,’ nga bwe yayogera ku nkomerero y’olunaku olw’omukaaga olw’okutonda. (Olubereberye 1:31) Y’amanyi engeri gy’alikozesaamu amaanyi ge ag’okutonda oluvannyuma lw’ekiseera ekyo. K’abe ng’aligakozesa atya, tuli bakakafu nti tujja kweyongera okuwuniikirira olw’engeri Yakuwa gy’alikozesaamu amaanyi ge okutonda. Emirembe n’emirembe tujja kuyiga bingi ku Yakuwa okuyitira mu bitonde bye. (Omubuulizi 3:11) Gye tukoma okuyiga ebimukwatako, gye tukoma okuwuniikirira, era n’okubeera n’enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe ow’Ekitalo.
a Okusobola okutegeera obulungi obuwanvu bwa mayiro ezo, lowooza ku kino: Singa obadde mu mmotoka ng’ovuga mayiro 100 buli ssaawa, emisana n’ekiro, kyandikutwalidde emyaka egisukka mu kikumi okumalayo mayiro ezo!
b Abamu balowooza nti abantu abaaliwo mu biseera bya Bayibuli balina okuba nga baakozesa galubindi ezizimbulukusa. Bagamba nti singa tekyali bwe kityo, kati olwo bandisobodde batya okumanya nti emmunyeenye nnyingi nnyo era tezibalika? Abateebereza bwe batyo, baba tebalowoozezza ku Yakuwa, eyawandiisa Bayibuli.—2 Timoseewo 3:16.
c Teeberezaamu ekiseera kye wanditutte okubala emmunyeenye obuwumbi 100. Singa wali osobola okubala emmunyeenye emu buli katikitiki, era n’okikola buli lunaku okumala essaawa 24, kyandikutwalidde emyaka 3,171!