LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 6/1 lup. 23-27
  • Obutonde Bulangirira Ekitiibwa kya Katonda!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obutonde Bulangirira Ekitiibwa kya Katonda!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Tebalina kya Kwekwasa’
  • Obwengula Bulangirira Ekitiibwa kya Katonda
  • Emmunyeenye Ezeewuunyisa era n’Ebibinja Byazo
  • Ensi n’Ebitonde Ebigiriko Bitendereza Yakuwa
  • Amaanyi ge Yakozesa Okutonda—Oyo “Eyakola Eggulu n’Ensi”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Baani Abawa Katonda Ekitiibwa Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Omwoyo Omutukuvu—Gwakozesebwa mu Kutonda Ebintu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 6/1 lup. 23-27

Obutonde Bulangirira Ekitiibwa kya Katonda!

“Eggulu [lirangirira] ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.”​—ZABBULI 19:1.

1, 2. (a) Lwaki abantu tebasobola kulaba Katonda? (b) Abakadde 24 bawa batya Katonda ekitiibwa?

“TOYINZA kundaba [mu] maaso: kubanga omuntu talindaba n’aba omulamu.” (Okuva 33:20) Bw’atyo Yakuwa bwe yagamba Musa. Olw’okuba abantu banafu mu mubiri, tebasobola kulaba Katonda butereevu ne basigala nga balamu. Kyokka, mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba Yakuwa ng’ali ku ntebe Ye mu kitiibwa eky’amaanyi.​—Okubikkulirwa 4:1-3.

2 Okwawukana ku bantu, ebitonde eby’omwoyo byo bisobola okulaba Yakuwa. Ebimu ku bitonde bino be bakadde ‘abiri mu abana,’ Yokaana be yalaba mu kwolesebwa, abakiikirira 144,000. (Okubikkulirwa 4:4; 14:1-3) Kiki kye boogera nga balabye Katonda mu kitiibwa kye? Okusinziira ku Okubikkulirwa 4:11, bagamba: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo era byatondebwa.”

‘Tebalina kya Kwekwasa’

3, 4. (a) Lwaki si kya magezi okugamba nti okukkiririza mu Katonda tekikwatagana na nkola ya sayansi? (b) Lwaki abamu bagaana okukkiririza mu Katonda?

3 Muli owulira nti oyagala okuwa Katonda ekitiibwa? Abantu abasinga obungi tebaagala, era abamu bagamba n’okugamba nti Katonda taliiyo. Ng’ekyokulabirako, kakensa omu mu by’emmunyeenye yawandiika bw’ati: “Ddala Katonda ye yassaawo obwengula buno obwategekebwa obulungi tusobole okubuganyulwamu? . . . Bwe kiba bwe kityo, kisanyusa nnyo. Kyokka, nze si kikkiriza nti kituufu. . . . Okugamba nti Katonda ye yassaawo obutonde buno, tekimatiza.”

4 Okunoonyereza kwa bannasayansi kuliko ekkomo, kwe kugamba, basobola kunoonyereza ku ebyo byokka bye basobola okulaba n’okuyigako. Mu kunoonyereza kwabwe mubaamu okuteebereza. Okuva ‘Katonda bw’ali Omwoyo,’ abantu tebasobola kumumanya nga beeyambisa enkola ya sayansi. (Yokaana 4:24) N’olwekyo, tekiba kya magezi okugamba nti Katonda taliiyo olw’okuba okumukkiririzaamu tekikwatagana na nkola za sayansi. Munnasayansi omu ayitibwa Vincent Wigglesworth ow’omu Cambridge University agamba nti enkola ya sayansi nayo “yeesigamye ku kukkiriza.” Mu ngeri ki? “Enkola eyo nayo yeesigamye ku kukkiriza nti ebintu byonna ebiriwo mu butonde bikwatagana ‘n’amateeka agafuga obutonde.’” N’olwekyo, n’omuntu akkiririza mu sayansi naye kimwetaagisa okuba n’okukkiriza ng’okw’oyo akkiririza mu Katonda. Oluusi, abantu bagaana mu bugenderevu okukkiririza mu Katonda olw’okuba tebaagala kukkiriza mazima. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: ‘Omubi mu malala ag’amaaso ge, tanoonyereza: ebirowoozo bye byonna biri nti: Tewali Katonda.’​—Zabbuli 10:4, NW.

5. Lwaki abo abagamba nti Katonda taliiyo tebalina kya kwekwasa?

5 Kyokka, omuntu akkiririza mu Katonda alina kw’asinziira, kubanga waliwo obujulizi bungi obulaga nti Katonda gy’ali. (Abaebbulaniya 11:1) Allan Sandage, kakensa mu by’emmunyeenye yagamba: “Kinzibuwalira okukkiriza nti enteekateeka ennungi [mu bwengula] yajjawo mu butanwa. Wateekwa okuba nga waliwo eyagikola. Ku lwange, Katonda tategeerekeka, kyokka ebintu ebiriwo ebyewuunyisa ennyo biraga nti ye yabitonda.” Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo mu Rooma nti ebya Katonda “ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n’obwakatonda bwe; babeere [abatakkiriza] nga tebalina kya [kwekwasa].” (Abaruumi 1:20) Okuviira ddala mu kiseera ‘ky’okutondebwa kw’ensi’​—naddala okuva ku kutondebwa kw’abantu abaali bayinza okutegeera nti waliyo Katonda​—kyeyolese kaati nti eriyo Omutonzi ow’obuyinza obungi, era nga ye Katonda agwanidde okutenderezebwa. N’olwekyo, abo abatakkiriza nti Katonda gyali, tebalina kya kwekwasa. Naye, obutonde buwa bujulizi ki?

Obwengula Bulangirira Ekitiibwa kya Katonda

6, 7. Eggulu lirangirira litya ekitiibwa kya Katonda?

6 Zabbuli 19:1 eddamu ekibuuzo ekyo ng’egamba: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.” Dawudi yeetegereza nti emmunyeenye ezaali zaaka mu ‘bbanga’ zaali ziwa obujulizi obw’amaanyi obulaga nti ddala Katonda gyali. Yayongera n’agamba: ‘Obudde bw’emisana bwogera ebigambo, n’obudde obw’ekiro bwoleka amagezi.’ (Zabbuli 19:2) Emisana n’ekiro, eggulu lyoleka amagezi ga Katonda n’amaanyi ge ag’okutonda. Liringa eryogera ebigambo ebitendereza Katonda.

7 Kyokka, kyetaagisa amagezi okusobola okutegeera nti eggulu litendereza Katonda. “Siwali bigambo, newakubadde olulimi; eddoboozi lyabyo teriwulikika.” Kyokka, obujulizi obw’omu kasirise obw’ebitonde eby’omu bwengula bwa maanyi nnyo. “Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, n’ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y’ensi.”​—Zabbuli 19:3, 4. 

8, 9. Bintu ki ebyewuunyisa ebikwata ku njuba?

8 Ate era Dawudi ayogera ekintu ekirala ekyewuunyisa mu bitonde bya Yakuwa: “Mu lyo, [eggulu] ataddemu eweema y’enjuba, era eringa awasa omugole ava mu nnyumba ye; eringa omusajja ow’amaanyi ayita mu kkubo. Eva ku ludda olumu olw’eggulu n’eryetooloola okutuuka ku ludda olulala: so tewali kyekweka bugumu lyayo.”​—Zabbuli 19:4-6, NW.

9 Enjuba, mmunyeenye ntono bw’ogigeraageranya ku mmunyeenye endala. Kyokka, esingira wala obunene pulaneti ezigyetooloola. Okunoonyereza okumu kulaga nti obuzito bw’enjuba bukubisaamu obw’ensi yaffe emirundi 330,000. Kumpi obuzito bwonna ebw’ekibinja ky’emmunyeenye ensi yaffe mw’eri, bwenkanankana obw’enjuba! Amaanyi g’enjuba gasobozesa ensi yaffe okugyetooloola ng’egyesudde ebbanga lya mayiro obukadde 93. Akatundu katono nnyo ak’amaanyi g’enjuba akatuuka ku nsi yaffe, kyokka kasobozesa okubeesaawo obulamu.

10. (a) Mu ngeri ki enjuba gy’eyingira era n’efuluma mu “weema” yaayo? (b) Mu ngeri ki gy’edduka ‘ng’omusajja ow’amaanyi’?

10 Mu lulimi olw’akabonero, omuwandiisi wa Zabbuli ayogera ku njuba nga ‘omusajja ow’amaanyi’ adduka emisana okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku nsonda endala, ate ekiro n’awummulira mu “weema.” Enjuba bw’eba egolooba, eba erabika ng’eyingira mu “weema” okuwummulako. Ku makya, evaayo mangu ng’eyakaayakana ‘ng’awasa omugole ava mu nju ye.’ Ng’omusumba, Dawudi yali amanyi bulungi obunnyogovu obw’amaanyi obubaawo ekiro. (Olubereberye 31:40) Yajjukira engeri enjuba gye yamubugumyangamu era n’ebugumya n’ensi. Kyeyoleka bulungi gy’ali nti enjuba yali tekoowa kutambula ‘lugendo’ lwayo okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, wabula yali ‘ng’omusajja ow’amaanyi,’ eyali omwetegefu okuddamu okutambula olugendo olwo.

Emmunyeenye Ezeewuunyisa era n’Ebibinja Byazo

11, 12. (a) Lwaki kituukirawo okuba nti Baibuli egeraageranya emmunyeenye ku musenyu gw’ennyanja? (b) Obwengula bwenkana wa obunene?

11 Dawudi yali asobola okulaba enkumi n’enkumi z’emmunyeenye talina kyuma kiraba bintu bya wala. Kyokka, okusinziira ku kunoonyereza okwakakolebwa, omuwendo gw’emmunyeenye ezirabibwa ng’okozesa ebyuma ebiraba ebintu eby’ewala, guli obuwumbi musanvu emirundi obuwumbi omutwalo gumu, (70,000,000,000,000,000,000,000)! Yakuwa yakiraga nti waliwo emmunyeenye nnyingi nnyo bwe yageraageranya omuwendo gwazo ku “musenyu oguli ku ttale ly’ennyanja.”​—Olubereberye 22:17.

12 Okumala emyaka, bakakensa mu by’emmunyeenye baalabanga ebintu mu bwengula naye nga tebabitegeera. Bannasayansi baalowoozanga nti ebintu ebyo biri mu kibinja kyaffe eky’emmunyeenye. Mu 1924 kyazuulibwa nti ekimu ku bintu ebyo kyali kibinja kya mmunyeenye ekiyitibwa Andromeda, era nga kitwalira ekitangaala ekiva ku kibinja ky’emmunyeenye ensi mweri emyaka obuwumbi bubiri okutuukayo.a Bannasayansi bateebereza nti waliwo obuwumbi obusukka mu kikumi obw’ebibinja by’emmunyeenye, era nga buli kibinja kirimu enkumi n’enkumi z’obuwumbi bw’emmunyeenye. Wadde kiri kityo, Yakuwa “abala emmunyeenye omuwendo gwazo; [era] azituuma zonna amannya gaazo.”​—Zabbuli 147:4.

13. (a) Kiki ekyewuunyisa ku bikwata ku bikuukuulu by’emmunyeenye? (b) Kiki ekikakasa nti bannasayansi tebamanyi ‘biragiro bya mu ggulu’?

13 Yakuwa yabuuza Yobu: ‘Oyinza okusiba ekikuukuulu ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kakaaga? Oba okusumulula emiguwa egigatta ezo eziyitibwa Entungalugoye?’ (Yobu 38:31) Emmunyeenye eziri mu kikuukuulu ziba nsengeke bulungi. Wadde nga buli mmunyeenye yeesudde ginne waayo ebbanga ggwanvu ddala, ebifo byazo tebikyuka omuntu bw’azitunuulira ng’asinziira ku nsi. Olw’okuba ebifo byazo tebikyuka, abo abatambulira mu mmeeri oba mu nnyonyi, era n’abagenda mu bwengula, “bazeeyambisa nnyo okumanya ebifo bye baba batuuseemu ne bye baba bagendamu, era bibasobozesa n’okumanya ebika by’emmunyeenye eby’enjawulo.” (The Encyclopedia Americana) Kyokka, tewali n’omu amanyidde ddala maanyi ‘agasiba’ awamu emmunyeenye mu kikuukuulu kyazo. Yee, bannasayansi tebasobola kuddamu kibuuzo kino ekiri mu Yobu 38:33: “Omanyi ebiragiro by’omu ggulu?”

14. Mu ngeri ki okusaasaana kw’ekitangaala gye kutategeerekeka?

14 Ate era, bannasayansi tebasobola kuddamu kibuuzo kirala ekyabuuzibwa Yobu: ‘Mu ngeri ki ekitangaala gye kisaasaanamu?’ (Yobu 38:24) Omuwandiisi omu agamba nti ‘ekibuuzo kino kituukagana ne sayansi ow’omulembe guno.’ Abayonaani abamu abafirosoofo baali balowooza nti ekitangaala kisibuka mu liiso lya muntu. Gye buvuddeko awo, bannasayansi babadde balowooza nti ekitangaala kirimu obuweke obusirikitu. Abalala bagamba nti kitambula ng’amayengo. Leero, bannasayansi balowooza nti ekitangaala kirimu obuweke obusirikitu era nga kitambula ng’amayengo. Kyokka, tewali n’omu amanyidde ddala ki ekikola ekitangaala era n’engeri gye ‘kisaasaanamu.’

15. Okufaananako Dawudi, twandikwatiddwako tutya nga tufumiitiriza ku bwengula?

15 Okufumiitiriza ku bino byonna, kireetera omuntu okwogera nga Dawudi eyagamba: “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye walagira; omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, oba omwana w’omuntu ggwe okumujjukira?”​—Zabbuli 8:3, 4.

Ensi n’Ebitonde Ebigiriko Bitendereza Yakuwa

16, 17. Mu ngeri ki ebitonde ebiri mu ‘buziba’ gye bitendereza Yakuwa?

16 Zabbuli 148 eraga engeri endala ebitonde gye bitenderezaamu Katonda. Olunyiriri 7 lugamba: “Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, mmwe balukwata, n’ebifo byonna eby’obuziba.” Yee, ‘obuziba’ bujjudde ebintu ebyewuunyisa ebiraga amaanyi n’ekitiibwa kya Katonda. Lukwata eyitibwa blue whale, erina obuzito bwa kilo 120,000, kwe kugamba, obuzito obwenkanankana n’obw’enjovu 30! Omutima gwayo guzitowa kilo 450, era gupika mu mubiri gwayo omusaayi oguweza kilo 6,400! Lukwata zino ennene ennyo ziwuga mpola nnyo? N’akatono. Alipoota emu okuva mu kitongole ekiyitibwa European Cetacean Bycatch Campaign egamba nti, zirukwata zino ‘ziwugira mu gayanja aganene’ ku sipiidi etagambika. Okunoonyereza okumu kwalaga nti “lukwata emu yawuga mayiro ezisukka mu 10,000 mu banga lya myezi 10.”

17 Mu mbeera eya bulijjo, ekisolo ekiyitibwa bottlenose dolphin kibbira mu mazzi ffuuti 150. Kyokka, alipoota emu eraga nti ffuuti ekisolo kino ze kyakasinze okubbira ziri 1,795! Ekisolo kino kisobola kitya okubbira ffuuti ez’enkanidde awo ne kitafa? Bwe kibbira, omutima gwakyo gukendeeza sipiidi gye gukubirako, bwe kityo omusaayi ogumu gugenda mu mutima, ate omulala ne gugenda mu mawuggwe ne mu bwongo. Ate era, ebinywa byakyo bitereka empewo eyeeyambisibwa mu kussa. Ekisolo ekiyitibwa Elephant seal ne lukwata eyitibwa sperm whale, bisobola okubbira wansi nnyo n’okusinga bottlenose dolphin. Magazini emu eyitibwa Discover egamba: “Amawuggwe gaabyo gatoowolokoka ne gaggweeramu ddala empewo.” Empewo esinga obungi gye bikozesa mu kussa eterekebwa mu binywa byabyo. Mazima ddala, ng’ebitonde bino byoleka amagezi ga Katonda omuyinza w’ebintu byonna!

18. Ennyanja eyoleka etya amagezi ga Yakuwa?

18 N’ennyanja nayo eyoleka amagezi ga Yakuwa. Magazini emu eyitibwa Scientific American egamba: “Buli ttondo ly’amazzi agali mu mita 100 ezisooka ng’okka wansi mu gayanja aganene, lirimu enkumi n’enkumi z’obumera obusirikitu.” “Obumera obwo obutalabika” buyonja empewo yaffe nga buggyamu omukka gwe tufulumya oguyitibwa carbon dioxide. Obumera buno obusirikitu bwe bukola omukka ogusinga obungi gwe tweyambisa mu kussa.

19. Omuliro n’omuzira bituukiriza bitya ebyo Yakuwa by’ayagala?

19 Zabbuli 148:8 lugamba: ‘Omuliro n’omuzira, seruji n’omukka n’omuyaga, ebituukiriza ekigambo kye.’ Yee, Yakuwa akozesa n’ebintu ebitalina bulamu okutuukiriza by’ayagala. Lowooza ku kyokulabirako ky’omuliro. Mu myaka egiyise, omuliro ogwokya ebibira gwali gutwalibwa nga ogwonoona obwonoonyi. Kyokka, kati abeekenneenya bagamba nti omuliro gulina eky’omuganyulo kye gukola. Guzikiriza emiti emikadde oba emirwadde ne kisobozesa ensigo okuloka, gusobozesa ettaka okufuna ebigimusa, ate ne gukendeeza ku kabi k’ekibira okuddamu okukwata omuliro. Omuzira [snow] gufukirira ettaka era ne guligimusa, gujjuza emigga, era gukuuma ebisolo n’ebimera ne bitafa olw’obunnyogovu obw’amaanyi.

20. Mu ngeri ki ensozi n’emiti gye biri eby’omugaso eri abantu?

20 Zabbuli 148:9 lugamba: “Ensozi n’obusozi bwonna; emiti egibala n’emivule gyonna.” Ensozi ziwa obujulizi obulaga amaanyi ga Yakuwa. (Zabbuli 65:6) Naye ate zirina n’ekintu eky’omugaso kye zikola. Alipoota emu okuva mu Kitongole Ekyekenneenya Enkula y’Ebitundu by’Ensi eky’omu kibuga Bern eky’omu Switzerland, egamba: “Emigga gyonna eminene mu nsi gisibuka mu nsozi. Abantu abasoba mu 50 ku buli kikumi, bakozesa mazzi agava mu nsozi . . . Amazzi gano ga mugaso nnyo eri abantu.” N’omuti ogwa bulijjo guwa ekitiibwa Oyo eyagutonda. Alipoota emu okuva mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte egamba nti emiti “gya mugaso nnyo eri abantu mu mawanga gonna . . . Ebika bingi eby’emiti birina kinene nnyo kye biyamba mu by’enfuna olw’okuba bivaamu embaawo, ebibala, eddagala, ne ggaamu. Okwetooloola ensi, abantu obuwumbi bubiri bafumbisa nku.

21. Nnyonnyola engeri ekikoola gye kyakolebwa mu ngeri ey’ekitalo.

21 Obukakafu obulaga amagezi g’omutonzi bulabikira mu ngeri emiti gye gyakolebwamu. Lowooza ku kikoola. Ku ngulu waakyo kuliko olububi olukiyamba obutaggwaamu mazzi. Wansi w’olububi olwo waliwo obutoffaali obutono obukola ekintu ekya kiragala ekisika amaanyi g’ekitangaala. Okuyitira mu nkola eyeewuunyisa, ebikoola bikola emmere. Mu ngeri ey’ekitalo, amazzi gasikibwa okuyitira mu mirandira ne gatwalibwa mu bikoola. Oluuyi lw’ekikoola olwa wansi luliko enkumi n’enkumi z’obutuli obutono obweggula ate ne bweggala ne kisobozesa omukka gwe tufulumya (carbon dioxide) okuyingira. Ekitangaala kye kivaamu amaanyi agasobozesa amazzi okwegatta n’omukka ne bikola emmere. Kati ekimera kiba kisobola okulya ku mmere yaakyo yennyini gye kyekoledde. Kyokka, enkola eno ya mu kasirise ate nga nnungi nnyo. Mu kifo ky’okuba nti gyonoona obutonde, emiti gifulumya omukka omulungi gwe tweyambisa okussa!

22, 23. (a) Busobozi ki obw’enjawulo ebisolo ebimu n’ebinyonyi bye bulina? (b) Bibuuzo ki ebirala bye twetaaga okwetegereza?

22 “Ensolo n’ente zonna; ebyewalula n’ennyonyi ezibuuka,” bw’etyo Zabbuli 148:10 bwe lugamba. Ebisolo bingi eby’oku lukalu n’ebibuuka byoleka obusobozi obw’ekitalo. Embaata z’oku mazzi eziyitibwa Laysan albatross zisobola okubuuka eŋŋendo empanvu ennyo (olumu zaabuuka mayilo 25,000 mu nnaku 90 zokka). Akanyonnyi akayitibwa blackpoll, kabuuka okuva Ebukiika Kkono bwa Amerika okutuuka Ebukiika Ddyo okumala essaawa 80 nga tekawumuddemu. Eŋŋamira tetereka mazzi mu bbango lyayo nga bwe kyali kirowoozebwa, wabula egatereka mu lubuto ne kigisobozesa okumala ekiseera ekiwanvu nga terumiddwa nnyonta. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bayinginiya beekenneenya ensolo n’obwegendereza bwe baba bakola ebyuma oba ebintu ebippya. Omuwandiisi omu ayitibwa Gail Cleere agamba: “Bw’oba oyagala okukola ekintu ekinaakola obulungi . . . era ekitaayonoone butonde, weetegereze ebitonde ojja kufuna ekintu ky’okoppa.”

23 Yee, mazima ddala obutonde bulangirira ekitiibwa kya Katonda. Okuviira ddala ku ggulu erijjudde emmunyeenye, okutuuka ku bimera n’ebisolo, buli kimu mu ngeri yaakyo kireetera Omutonzi waakyo ettendo. Ate kiri kitya eri ffe abantu? Tusobola tutya okweyunga ku butonde mu kutendereza Katonda?

[Obugambo obuli wansi]

a Ekitangaala kidduka mayiro 186,000 buli katikitiki.

Ojjukira?

• Lwaki abo abagamba nti Katonda taliiyo tebalina kya kwekwasa?

• Emmunyeenye ziwa zitya Katonda ekitiibwa?

• Ensolo ez’omu nnyanja n’ez’oku lukalu ziwa zitya obukakafu nti eriyo Omutonzi omwagazi?

• Ebintu ebitalina bulamu bituukiriza bitya Katonda by’ayagala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Bannasayansi bateebereza nti omuwendo gw’emmunyeenye ezirabika guli obuwumbi musanvu emirundi obuwumbi omutwalo gumu!

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Frank Zullo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

“Snowflake”

[Ensibuko]

snowcrystals.net

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Embaata ento ey’oku mazzi eyitibwa “Laysan albatross”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share