Omwoyo Omutukuvu—Gwakozesebwa mu Kutonda Ebintu!
“Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; n’eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n’omukka ogw’akamwa ke.”—ZAB. 33:6.
1, 2. (a) Okumanya abantu kwe balina ku nsi n’obwengula kweyongedde kutya? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?
MU 1905, munnasayansi ayitibwa Albert Einstein awamu ne bannasayansi abalala bangi baali balowooza nti obwengula bwonna bulimu ekibinja ky’emmunyeenye kimu kyokka ekiyitibwa Milky Way. Nga baali bamanyi kitono nnyo ku bikwata ku bwengula! Leero kigambibwa nti obwengula bulimu ebibinja by’emmunyeenye ebisukka mu buwumbi 100, era ng’ebimu ku byo birimu obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye. Buli bannasayansi lwe beeyongera okukozesa ebyuma eby’omulembe okulengera mu bwengula, beeyongera okuzuula ebibinja by’emmunyeenye ebirala.
2 Nga bannasayansi bwe baali bamanyi ekitono ennyo ku bwengula mu 1905, n’ebikwata ku nsi baali bamanyi bitono ddala. Kituufu nti abantu abaaliwo emyaka kikumi emabega baali bamanyi bingi okusinga abo abaabasookawo. Kyokka leero, waliwo ebintu bingi ebimanyiddwa ebikwata ku nsi n’engeri gy’ewaniriramu obulamu okusinga bwe kyali mu kiseera ekyo. Era tewali kubuusabuusa nti waliwo ebintu bingi ebikwata ku nsi n’obwengula bye tujja okweyongera okutegeera mu biseera eby’omu maaso. Naye kikulu nnyo okwebuuza nti, Ebintu bino byonna byajjawo bitya? Omutonzi atuwa eky’okuddamu mu kibuuzo kino okuyitira mu Byawandiikibwa Ebitukuvu.
Ebintu Byatondebwa mu Ngeri ey’Ekyamagero
3, 4. Katonda yatonda atya obutonde bwonna, era emirimu gye gimuweesa gitya ekitiibwa?
3 Ebigambo ebisooka mu Bayibuli biraga engeri obutonde bwonna gye bwajjawo: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Lub. 1:1) Yakuwa bwe yali tannatonda ggulu n’ensi, awamu n’ebintu ebirala byonna, tewaaliwo kintu kyonna. Bwe kityo yakozesa omwoyo gwe omutukuvu—amaanyi ge agakola—okusooka okukola ebintu bye yali agenda okukozesa okutonda obutonde bwonna. Abantu bakozesa mikono okukola ebintu, naye ye Katonda akozesa mwoyo omutukuvu okukola ebintu bye eby’ekitalo.
4 Mu ngeri ey’akabonero, Ebyawandiikibwa byogera ku mwoyo omutukuvu ‘ng’olugalo’ lwa Katonda. (Luk. 11:20 ftn; Mat. 12:28) Era “emirimu gy’emikono gye”—ebyo Yakuwa bye yatonda ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu—gimuweesa ekitiibwa n’ettendo. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.” (Zab. 19:1) Mu butuufu, ebitonde byoleka amaanyi ag’ekitalo ag’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bar. 1:20) Bigooleka bitya?
Amaanyi ga Katonda Agataliiko Kkomo
5. Obutonde bulaga butya nti omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwa maanyi nnyo?
5 Obutonde bulaga nti amaanyi ga Yakuwa tegaliiko kkomo. (Soma Isaaya 40:26.) Lowooza ku njuba, emu ku mmunyeenye eziri mu bwengula. Okuva ku njuba okutuuka ku nsi waliwo mayiro obukadde nga 93, era erina ebbugumu eriri ku kipimo kya diguli 15,000,000°C. Wadde ng’enjuba evaako ebbugumu lingi nnyo, yeesudde ensi ebbanga erisaanira okusobola okuwanirira obulamu ku nsi. Kya lwatu nti kyali kyetaagisa amaanyi mangi nnyo okusobola okutonda enjuba awamu n’obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye endala zonna. Amaanyi agaakozesebwa okutonda ebintu ebyo gaava eri Yakuwa era alina amaanyi mangi nnyo n’okusinga ago agaakozesebwa mu kubitonda.
6, 7. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okutegeka obulungi ebintu bye yatonda? (b) Kiki ekiraga nti obutonde tebwajjawo mu butanwa?
6 Waliwo ebintu bingi ebiraga nti Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okutonda ebintu n’okubitegeka obulungi. Lowooza ku kino: Singa ofuna obupiira obwa langi ez’enjawulo n’obuteeka mu bbookisi emu n’oginyenyanyenya ne bwetabulatabula, oluvannyuma n’obuyiwa wansi. Olowooza obupiira obufaananya langi busobola okweyawula ne bwekuŋŋanya wamu bwonna—obwa bbulu bwokka, obwa kyenvu bwokka, n’obwa langi endala bwe butyo? Ekyo tekisoboka! Ebintu bwe bitabaako abitegeka, tebisobola kwetegeka byokka. Kino abantu bonna bakimanyi bulungi.a
7 Bwe tukozesa ebyuma ebitangaaza okutunula mu bwengula, kiki kye tulaba? Tulaba ebibinja by’emmunyeenye ne ziseŋŋendo, nga byonna bitambula mu ngeri entegeke obulungi. Kino tekiyinza kuba nga kyajjawo mu butanwa. N’olwekyo, tuyinza okwebuuza, Maanyi ki agaakozesebwa okusobola okutonda obutonde mu ngeri entegeke obulungi? Sayansi ne tekinologiya tebisobola kutuyamba kutegeera bulungi maanyi ago. Kyokka Bayibuli yo eraga nti amaanyi ago gwe mwoyo gwa Katonda omutukuvu, amaanyi agasingayo mu butonde bwonna. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; n’eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n’omukka ogw’akamwa ke.” (Zab. 33:6) Emmunyeenye ze tusobola okulabako, ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku ‘ggye’ ly’emmunyeenye zonna eziri mu bwengula!
Omwoyo Omutukuvu Gwakozesebwa mu Kutonda Ensi
8. Okumanya kwaffe okukwata ku mirimu gya Yakuwa kwenkana wa?
8 Ebyo bye tumanyi ku butonde bitono nnyo ddala. Ng’ayogera ku kumanya abantu kwe balina okukwata ku bintu Katonda bye yatonda, omusajja omwesigwa Yobu yagamba nti: “Laba, gano ge mabbali gokka ag’amakubo ge: n’akagambo ke tumuwulirako nga katono!” (Yob. 26:14) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Kabaka Sulemaani yagamba nti: “[Katonda] yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw’atyo omuntu n’okuyinza n’atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.”—Mub. 3:11; 8:17.
9, 10. Maanyi ki Katonda ge yakozesa mu kutonda ensi, era bintu ki ebyakolebwa mu nnaku essatu ez’okutonda ezaasooka?
9 Kyokka, Yakuwa alina bingi by’atutegeezezza ku mirimu gye. Ng’ekyokulabirako, Ebyawandiikibwa biraga nti omwoyo gwa Katonda gwali gukola ku nsi oboolyawo okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka ng’olunaku olusooka olw’okutonda terunnatandika. (Soma Olubereberye 1:2.) Mu kiseera ekyo tewaaliwo lukalu na kitangaala, era kirabika n’omukka gwe tussa tegwaliwo.
10 Bayibuli era etutegeeza ebyo Katonda bye yakola mu nnaku ez’okutonda. Zino tezaali nnaku za ssaawa 24, wabula buli lunaku lwalimu emyaka mingi nnyo. Ku lunaku olw’okutonda olwasooka, Yakuwa yasobozesa ekitangaala okutandika okulabika ku nsi. Ekitangaala kino kyalabika mu bujjuvu enjuba n’omwezi bwe byatandika okulabika ku nsi. (Lub. 1:3, 14) Ku lunaku olw’okubiri, ebbanga lyakolebwa. (Lub. 1:6) Mu kiseera ekyo, ku nsi kwaliko amazzi, ekitangaala, n’empewo, naye nga tekuli lukalu. Ng’olunaku olw’okutonda olw’okusatu lwakatandika, Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okusobozesa olukalu okuva mu mazzi. (Lub. 1:9) Era waliwo n’ebintu ebirala ebyakolebwa ku lunaku olw’okutonda olw’okusatu ne ku nnaku endala ezaddirira.
Omwoyo Omutukuvu Gwakozesebwa mu Kutonda Ebiramu
11. Ebiramu ebyakolebwa mu ngeri ey’ekitalo era eyeewuunyisa biraga ki?
11 Omwoyo gwa Katonda era gwakozesebwa mu kutonda ebiramu. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, okuva ku lunaku olw’okutonda olw’okusatu okutuuka ku lunaku olw’omukaaga, Katonda yatonda ebimera n’ebisolo bingi ebya buli ngeri. (Lub. 1:11, 20-25) Ebiramu bino byakolebwa mu ngeri ey’ekitalo era eyeewuunyisa ennyo.
12. (a) Akantu akayitibwa DNA kalina mugaso ki? (b) Ebyo DNA by’ekola biraga ki?
12 Lowooza ku kantu akabeera mu butoffaali bw’ebintu ebiramu akayitibwa DNA, akalinga akajegere, akamu ku bintu ebisobozesa ebimera n’ebisolo okuzaala ebirala ebibifaanana. Ebiramu byonna ku nsi—omuli obuwuka obusirikitu, omuddo, enjovu, zirukwata, n’abantu—bisobola okuzaala ebirala ebibifaanana olw’okuba birina DNA. Wadde ng’ebiramu ebiri ku nsi tebifaanagana, buli kika ky’ekiramu kirina ebiwandiiko byakyo eby’ensikirano, era kino kisobozesezza ebiramu eby’ekika ekimu okusigala nga bizaala ebirala ebibifaanana okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka. Okusinziira ku kigendererwa kya Yakuwa Katonda, ebitonde eby’enjawulo ebiri ku nsi byakolebwa nga buli kimu kirina eky’omugaso kye kikola mu butonde. (Zab. 139:16) Era na kino kiraga nti obutonde mulimu gwa ‘ngalo’ ya Katonda, oba omwoyo gwe omutukuvu.
Ekitonde Ekisingayo Okuba eky’Omuwendo ku Nsi
13. Katonda yatonda atya omuntu?
13 Oluvannyuma lw’okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka nga Katonda atonda ebintu ebirina obulamu n’ebitalina bulamu, ensi yali tekyali “njereere nga yeetabuddetabudde.” Kyokka Yakuwa yali akyeyongera okukozesa omwoyo gwe mu mulimu gw’okutonda. Yali anaatera okutonda ekitonde kye ekisingayo okuba eky’omuwendo ku nsi. Ng’olunaku olw’okutonda olw’omukaaga lunaatera okuggwako, Katonda yatonda omuntu. Kino Yakuwa yakikola atya? Yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okutonda omuntu okuva mu nfuufu y’ensi.—Lub. 2:7.
14. Abantu baawukana batya ku bisolo?
14 Olubereberye 1:27 wagamba nti: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n’omukazi bwe yabatonda.” Okuba nti twatondebwa mu ngeri ya Katonda kitegeeza nti Yakuwa yatutonda nga tusobola okwoleka okwagala, nga tulina eddembe ery’okwesalirawo, era nga tusobola okuba n’enkolagana ennungi naye. N’olwekyo, obwongo bwaffe bwa njawulo nnyo ku bw’ebisolo. Yakuwa yatonda obwongo bwaffe nga bulina obusobozi obw’okuyiga ebimukwatako n’ebikwata ku butonde bwe emirembe gyonna.
15. Ssuubi ki Adamu ne Kaawa lye baalina?
15 Ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu, Katonda yawa Adamu ne mukazi we, Kaawa, ensi n’ebintu byonna ebyagiriko basobole okunyumirwa obulamu. (Lub. 1:28) Yakuwa yabateeka mu lusuku olulabika obulungi omwali emmere ennyingi. Baalina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna n’okuzaala abantu abatuukiridde abandijjuzza ensi yonna. Naye ebyo byonna baabifiirwa.
Okukkiriza nti Omwoyo Omutukuvu gwe Gwakozesebwa mu Kutonda
16. Ssuubi ki lye tulina wadde nga bazadde baffe abaasooka baajeemera Katonda?
16 Mu kifo ky’okugondera Omutonzi waabwe, Adamu ne Kaawa baamujeemera. Ekyo kiviiriddeko bazzukulu baabwe bonna okubonaabona. Naye Bayibuli eraga engeri Katonda gy’ajja okumalawo ebizibu byonna ebyajjawo olw’obujeemu bw’abazadde baffe abaasooka. Ebyawandiikibwa era biraga nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye ekyasooka. Ensi ejja kufuuka olusuku olulabika obulungi omujja okuba abantu abasanyufu era abalamu obulungi, abajja okubeerawo emirembe gyonna. (Lub. 3:15) Okusobola okusigala nga tukkiririza mu ssuubi eryo ery’ekitalo, twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu.
17. Njigiriza ki ze tulina okwewala?
17 Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti obutonde mulimu gwa mukono gwa Katonda. Leero, enjigiriza egamba nti teri Katonda n’eyo egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa zikyase nnyo. Kyokka enjigiriza ezo za bulimba era tezirina musingi kwe zeesigamye. Tetulina kukkiriza njigiriza ng’ezo kutubuzaabuza. Abakristaayo bonna balina okwewala enjigiriza ng’ezo.—Soma Abakkolosaayi 2:8.
18. Bwe tulowooza ku ngeri ebintu byonna gye byajjawo, lwaki tekiba kya magezi kugamba nti teri Mutonzi?
18 Okukkiriza kwe tulina mu Bayibuli ne mu Katonda kujja kunywera singa twekeneenya mu bwesimbu obujulizi obulaga nti ebintu byatondebwa. Bangi bwe balowooza ku ngeri ebintu byonna gye byajjawo, bakitwala nti si kya magezi kukkiriza nti waliwo amaanyi agaava eri Omutonzi agaakozesebwa mu kubitonda. Kyokka, singa naffe tusalawo okutunuulira ebintu mu ngeri eyo, olwo nno tuba tubuusizza amaaso obujulizi obwenkukunala obulaga nti waliwo amaanyi agaava eri omutonzi agaakozesebwa mu kutonda n’okuteekateeka ebintu “ebitabalika.” (Yob. 9:10; Zab. 104:25) Ng’Abakristaayo, tuli bakakafu nti Yakuwa yakozesa amaanyi ge agakola—omwoyo gwe omutukuvu—okutonda ebintu byonna.
Omwoyo Omutukuvu Gutuyamba Okunyweza Okukkiriza Kwaffe
19. Kiki ekiyinza okuyamba buli omu ku ffe okukakasa nti Katonda gyali era nti akozesa omwoyo gwe omutukuvu?
19 Tekitwetaagisa kumanya byonna ebikwata ku butonde okusobola okukkiririza mu Katonda, okumwagala, n’okumussaamu ekitiibwa. Okufaananako omukwano oguba wakati w’abantu, okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa tekwesigamye ku bintu bye tumumanyiiko byokka. Ng’omukwano oguba wakati w’abantu bwe gweyongera okunywera bwe beeyongera okumanyagana, n’okukkiriza kwe tulina mu Katonda kweyongera bwe tweyongera okuyiga ebimukwatako. Era tweyongera okukakasa nti Katonda gyali bwe tulaba engeri gy’addamu okusaba kwaffe era n’engeri okukolera ku misingi gye gye kituganyula mu bulamu bwaffe. Tweyongera okusemberera Yakuwa bwe tweyongera okulaba engeri gy’atuwaamu obulagirizi, engeri gy’atukuumamu, engeri gy’atuwaamu emikisa nga tufuba okumuweereza, era n’engeri gy’atulabiriramu. Ebyo byonna bitukakasa nti Katonda gyali era nti akozesa omwoyo gwe omutukuvu.
20. (a) Kiki ekyakubiriza Katonda okutonda ebintu byonna? (b) Mukisa ki gwe tunaafuna singa tweyongera okukkiriza omwoyo gwa Katonda omutukuvu okutukulembera?
20 Bayibuli ye emu ku bintu ebiraga engeri ey’ekitalo Yakuwa gye yakozesaamu amaanyi ge agakola, kubanga abo abaagiwandiika “baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.” (2 Peet. 1:21) Okwekenneenya Ebyawandiikibwa kisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda ng’oyo eyatonda ebintu byonna. (Kub. 4:11) Okwagala kwe kwakubiriza Yakuwa okutonda ebintu byonna. (1 Yok. 4:8) N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala era Mukwano gwaffe. Singa tweyongera okukkiriza omwoyo gwa Katonda okutukulembera, tujja kufuna omukisa okuyiga ebimukwatako emirembe gyonna. (Bag. 5:16, 25) Ka buli omu ku ffe yeeyongere okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’emirimu gye egy’ekitalo, era ka tufube okwoleka mu bulamu bwaffe okwagala kwe yayoleka bwe yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okutonda eggulu, ensi, n’abantu.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akatabo Is There a Creator Who Cares About You? olupapula 24 ne 25.
Osobola Okunnyonnyola?
• Obwengula n’ensi biraga bitya nti Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okubitonda?
• Busobozi ki bwe tulina olw’okuba twakolebwa mu ngeri ya Katonda?
• Lwaki twetaaga okwekenneenya obukakafu obulaga nti ebintu byatondebwa?
• Tuyinza tutya okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Engeri obutonde gye butegekeddwamu etuyigiriza ki?
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Stars: Anglo-Australian Observatory/David Malin Images
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Kiki ekiraga nti ebintu bino byonna birina DNA?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Oli mwetegefu okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yo?