Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
“Omwoyo gwe gumu gwe gukola bino byonna.”—1 KOL. 12:11.
1. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
OLUNAKU lwa Pentekooti 33 E.E. lwaliko ebintu ebyewuunyisa. Ku olwo Katonda yafuka omwoyo gwe omutukuvu ku baweereza be! (Bik. 2:1-4) Katonda yatandika okukozesa omwoyo gwe okuwa abantu be obulagirizi mu ngeri ey’enjawulo. Mu kitundu ekyayita, twalaba engeri omwoyo gwa Katonda gye gwayambamu abamu ku baweereza be ab’edda okukola emirimu gye yali abawadde wadde nga gyali mizibu. Naye njawulo ki eri wakati w’engeri omwoyo omutukuvu gye gwakulemberangamu abaweereza ba Katonda ng’ekibiina Ekikristaayo tekinnatandikibwawo n’oluvannyuma lw’okutandikibwawo? Era Abakristaayo bakulemberwa batya omwoyo gwa Katonda leero? Ebyo bye tugenda okulaba mu kitundu kino.
“Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
2. Kiki Maliyamu kye yali amanyi ku mwoyo omutukuvu?
2 Omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa abaali mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi, ne Maliyamu yaliwo. (Bik. 1:13, 14) Kyokka, nga n’ekyo tekinnabaawo, Maliyamu yali alabye ebintu ebyewuunyisa Yakuwa bye yali akoze okuyitira mu mwoyo gwe. Emyaka egisukka 30 emabega, Yakuwa yali akozesezza omwoyo gwe okuteeka obulamu bw’Omwana we mu lubuto lwa Maliyamu eyali akyali embeerera.—Mat. 1:20.
3, 4. Ebyo Maliyamu bye yayogera nga malayika aze gy’ali byalaga ki, era tuyinza tutya okumukoppa?
3 Lwaki Maliyamu yaweebwa enkizo eyo ey’ekitalo? Oluvannyuma lwa malayika okumubuulira nti yali wa kuzaala Omwana wa Katonda, Maliyamu yagamba nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.” (Luk. 1:38) Ebigambo bya Maliyamu ebyo byalaga nti yali mwetegefu okukolera ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala. Teyadda awo kubuuza malayika ekyo abantu kye bandirowoozezza ng’afunye olubuto oba okutya nti Yusufu yandigaanye okumuwasa. Mu kweyita omuzaana wa Yakuwa, Maliyamu yalaga nti yali yeesiga Yakuwa.
4 Naawe ebiseera ebimu owulira ng’obuvunaanyizibwa bw’olina mu kibiina kya Katonda buyitiridde obungi? Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kunnyamba okukola ebintu nga bw’ayagala? Nkiraga nti ndi mwetegefu okukola omulimu Yakuwa gw’aba ayagala nkole?’ Ba mukakafu nti Katonda awa omwoyo gwe omutukuvu abo bonna abamwesiga n’omutima gwabwe gwonna era abakkiriza obufuzi bwe.—Bik. 5:32.
Omwoyo Omutukuvu Gwayamba Peetero
5. Omwoyo omutukuvu gwayamba gutya Peetero ng’olunaku lwa Pentekooti 33 E.E. terunnatuuka?
5 Okufaananako Maliyamu, n’omutume Peetero yali alabye engeri omwoyo omutukuvu gye gwali gumuyambyemu ng’olunaku lwa Pentekooti 33 E.E. terunnatuuka. Yesu yali awadde Peetero awamu n’abatume abalala obuyinza okugoba dayimooni. (Mak. 3:14-16) Wadde ng’Ebyawandiikibwa tebitubuulira kalonda yenna akwata ku nsonga eyo, kirabika Peetero yakozesa obuyinza obwo okugoba badayimooni. Ate era Peetero yalaba amaanyi g’omwoyo omutukuvu Yesu bwe yamugamba okugenda gy’ali ng’atambulira ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. (Soma Matayo 14:25-29.) Tewali kubuusabuusa nti Peetero yasobola okukola ebintu bingi eby’ekitalo olw’amaanyi g’omwoyo omutukuvu. Mu kiseera kitono, omwoyo ogwo gwali gwa kuwa Peetero awamu n’abayigirizwa abalala amaanyi okukola n’ebintu ebirala bingi.
6. Omwoyo gwa Katonda gwayamba gutya Peetero ku lunaku lw’embaga ya Pentekooti 33 E.E. n’oluvannyuma lwalwo?
6 Ku mbaga ya Pentekooti 33 E.E., omwoyo omutukuvu gwasobozesa Peetero awamu n’abalala okwogera ennimi z’abantu abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Oluvannyuma, Peetero yayimuka n’ayogera eri abantu abo. (Bik. 2:14-36) Kituufu nti oluusi Peetero yatyanga era yakolanga ebintu nga tasoose kulowooza, naye bwe yafuna omwoyo omutukuvu, yasobola okuwa obujulirwa n’obuvumu wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa. (Bik. 4:18-20, 31) Katonda yakozesa omwoyo gwe n’awa Peetero okumanya okw’enjawulo. (Bik. 5:8, 9) Era yaweebwa amaanyi okuzuukiza omuntu eyali afudde.—Bik. 9:40.
7. Bintu ki Yesu bye yayigiriza Peetero bye yasobola okutegeera oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu?
7 Nga n’olunaku lwa Pentekooti terunnatuuka, Peetero yasobola okutegeera ebintu bingi Yesu bye yayigiriza. (Mat. 16:16, 17; Yok. 6:68) Naye ebintu ebirala yabitegeera luvannyuma lwa Pentekooti. Ng’ekyokulabirako, mu kusooka Peetero yali tategeera nti Kristo yali wa kuzuukizibwa ng’omuntu ow’omwoyo oluvannyuma lw’ennaku ssatu; era yali tategeera nti Obwakabaka bwandibadde bwa mu ggulu. (Yok. 20:6-10; Bik. 1:6) Era yali tamanyi nti n’abantu abamu bandifuuliddwa ebitonde eby’omwoyo ne bafuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Naye bwe yamala okubatizibwa n’omwoyo omutukuvu era n’afuna essuubi ery’okugenda mu ggulu, yasobola okutegeera ebyo Yesu bye yayigiriza ku nsonga ezo.
8. Bintu ki abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’ bye basobola okutegeera?
8 Abayigirizwa ba Yesu baasobola okutegeera ebintu bye baali batategeera mu kusooka oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu. Omwoyo ogwo gwaluŋŋamya abawandiisi b’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani okunnyonnyola ebintu eby’ekitalo ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa. (Bef. 3:8-11, 18) Leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ‘n’ab’endiga endala’ bonna basobola okusoma n’okutegeera ebintu ebyo. (Yok. 10:16) Osiima ebintu eby’omuwendo ebiri mu Kigambo kya Katonda omwoyo omutukuvu gwe bikusobozesa okutegeera?
Pawulo ‘Yajjula Omwoyo Omutukuvu’
9. Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Pawulo kukola ki?
9 Nga wayise omwaka nga gumu oluvannyuma lw’olunaku lwa Pentekooti 33 E.E., Sawulo, oluvannyuma eyafuuka Pawulo naye yafukibwako omwoyo omutukuvu. Omwoyo omutukuvu gwamuyamba okukola ebintu ebituganyula ne leero. Ng’ekyokulabirako, omwoyo omutukuvu gwamuluŋŋamya okuwandiika ebitabo bya Bayibuli 14. Era nga bwe kyali eri Peetero, omwoyo gwa Katonda gwayamba Pawulo okutegeera n’okuwandiika ebikwata ku ssuubi ery’okufuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa n’omubiri ogutasobola kuvunda mu ggulu. Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Pawulo okuwonya abalwadde, okugoba dayimooni, n’okuzuukiza omuntu eyali afudde! Naye era omwoyo omutukuvu gwawa Pawulo amaanyi okukola omulimu omukulu ennyo. N’abaweereza ba Katonda leero bafuna amaanyi okukola omulimu ogwo, wadde nga bo tebagafuna mu ngeri ya kyamagero.
10. Omwoyo omutukuvu gwayamba gutya Pawulo okufuna obusobozi bw’okwogera?
10 Pawulo, ‘eyali ajjudde omwoyo omutukuvu,’ yayogera n’obuvumu ng’avumirira ebikolwa by’omulogo. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyakwata nnyo ku w’essazza ly’e Kupulo, eyawulira Pawulo ng’ayogera eri omulogo oyo! Ow’essaza oyo yakkiriza amazima olw’okuba “yeewuunya okuyigiriza kwa Yakuwa.” (Bik. 13:8-12) Tewali kubuusabuusa nti Pawulo yali akimanyi nti yali yeetaaga omwoyo omutukuvu okusobola okwogera n’obuvumu ng’abuulira. (Mat. 10:20) Yakubiriza ab’oluganda abaali mu kibiina ky’e Efeso okumusabira asobole okuweebwa “obusobozi bw’okwogera.”—Bef. 6:18-20.
11. Omwoyo gwa Katonda gwawa gutya Pawulo obulagirizi?
11 Ng’oggyeko okuyamba Pawulo okwogera n’obuvumu, oluusi omwoyo omutukuvu gwamugaananga okubuulira mu bitundu ebimu. Omwoyo gwa Katonda gwawanga Pawulo obulagirizi bwe yali atambula eŋŋendo ze ez’obuminsani. (Bik. 13:2; soma Ebikolwa 16:6-10.) Ne leero Yakuwa akozesa omwoyo gwe okutuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira. Okufaananako Pawulo, abaweereza ba Yakuwa bonna abeesigwa bafuba okubuulira n’obuvumu era n’obunyiikivu. Wadde ng’engeri Katonda gy’akozesaamu omwoyo gwe okutuwa obulagirizi ya njawulo ku ngeri gye yagukozesaamu mu kiseera kya Pawulo, tuli bakakafu nti akyagukozesa okuyamba abantu ab’emitima emirungi okuyiga amazima.—Yok. 6:44.
“Enkola za Ngeri Nnyingi”
12-14. Omwoyo gwa Katonda gukolera ku baweereza be bonna mu ngeri y’emu? Nnyonnyola.
12 Kituzzaamu nnyo amaanyi leero okusoma ku ngeri Yakuwa gye yawaamu omukisa ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Lowooza ku bigambo bino Pawulo bye yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso ebikwata ku birabo by’omwoyo omutukuvu: “Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye waliwo omwoyo gumu; waliwo obuweereza bwa ngeri nnyingi, naye Mukama waffe y’omu; era waliwo enkola za ngeri nnyingi, naye Katonda y’omu akolera mu buli omu mu ngeri ez’enjawulo.” (1 Kol. 12:4-6, 11) Yee, omwoyo gwa Katonda gusobola okukolera ku baweereza ba Katonda ab’enjawulo mu ngeri ezitali zimu okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Abagoberezi ba Kristo ‘ab’ekisibo ekitono’ ‘n’ab’endiga endala’ bonna bakulemberwa omwoyo omutukuvu. (Luk. 12:32; Yok. 10:16) Naye omwoyo ogwo tegukolera ku buli omu mu kibiina mu ngeri y’emu.
13 Ng’ekyokulabirako, abakadde mu kibiina balondebwa omwoyo omutukuvu. (Bik. 20:28) Naye Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna tebaweereza nga bakadde mu kibiina. Ekyo kiraga ki? Ekyo kiraga nti omwoyo gwa Katonda gukolera ku bantu abali mu kibiina mu ngeri ez’enjawulo.
14 Omwoyo ogusobozesa abaafukibwako amafuta okumanya nti baana ba Katonda, gwe mwoyo gwe gumu Yakuwa gwe yakozesa okuzuukiza Yesu okuva mu bafu n’afuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu. (Soma Abaruumi 8:11, 15.) Era omwoyo ogwo gwennyini Yakuwa gwe yakozesa okutonda ebintu byonna. (Lub. 1:1-3) Omwoyo ogwo era Yakuwa gwe yakozesa okuyamba Bezaleeri okukola ebintu ebyateekebwa mu weema entukuvu, okuwa Samusooni amaanyi okukola ebintu eby’ekitalo, n’okusobozesa Peetero okutambulira ku mazzi. N’olwekyo, tusaanidde okukimanya nti waliwo enjawulo wakati w’okukulemberwa omwoyo gwa Katonda n’okufukibwako omwoyo gwa Katonda. Okufukibwako omwoyo omutukuvu y’emu ku ngeri ez’enjawulo Katonda gy’akozesaamu omwoyo gwe. Katonda y’asalawo ani gw’afukako omwoyo gwe.
15. Okubatizibwa n’omwoyo omutukuvu kunaagenda mu maaso emirembe gyonna? Nnyonnyola.
15 Omwoyo gwa Katonda gubadde gukolera ku baweereza be abeesigwa mu ngeri ez’enjawulo okuva edda n’edda nga tannaba na kutandika kufuka mwoyo mutukuvu ku bantu. Okufuka omwoyo omutukuvu ku bantu kwatandika ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., naye ekyo tekijja kugenda mu maaso mirembe gyonna. Wadde ng’okubatiza abantu n’omwoyo omutukuvu kujja kukoma, omwoyo omutukuvu gujja kweyongera okuyamba abantu ba Katonda okukola by’ayagala emirembe gyonna.
16. Kiki omwoyo gwa Katonda kye gusobozesa abaweereza be okukola leero?
16 Kiki omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu kye gusobozesa abaweereza be okukola leero? Okubikkulirwa 22:17 wagamba nti: “Omwoyo n’omugole bigamba nti: ‘Jjangu!’ Era buli awulira agambe nti: ‘Jjangu!’ Era buli alumwa ennyonta ajje; buli ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.” Omwoyo gwa Katonda guyamba Abakristaayo leero mu mulimu ogw’okuyita “buli ayagala” okutwala amazzi ag’obulamu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta be bawomye omutwe mu mulimu ogwo, era ab’endiga endala bakolera wamu nabo. Abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bonna bakulemberwa omwoyo omutukuvu nga bakola omulimu ogwo. Bonna beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu.” (Mat. 28:19) Era bonna booleka ekibala ky’omwoyo mu bulamu bwabwe. (Bag. 5:22, 23) Omwoyo gwa Katonda gubayamba okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri emusanyusa.—2 Kol. 7:1; Kub. 7:9, 14.
Saba Katonda Akuwe Omwoyo Gwe Omutukuvu
17. Oyinza otya okulaga nti olina omwoyo gwa Katonda?
17 K’obe ng’olina ssuubi lya kufuna bulamu butaggwaawo mu ggulu oba ku nsi, Yakuwa asobola okukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” n’osobola okukuuma obugolokofu bwo okutuukira ddala ku nkomerero. (2 Kol. 4:7) Abantu bayinza okukusekerera ng’obuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Naye jjukiranga ebigambo bino: “Bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo muba basanyufu, kubanga omwoyo ogw’ekitiibwa, era omwoyo gwa Katonda guli ku mmwe.”—1 Peet. 4:14.
18, 19. Yakuwa asobola atya okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okukuyamba, era kiki ky’omaliridde okukola?
18 Omwoyo omutukuvu kirabo Katonda ky’awa abo bonna abamusaba mu bwesimbu. Gusobola okukuyamba okwongera ku busobozi bwo era gusobola okukuyamba okwagala okukola ekisingawo mu buweereza bwe. Bayibuli egamba nti: “Katonda y’akolera mu mmwe olw’ekyo ekimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.” Obuyambi bw’omwoyo omutukuvu awamu n’okufuba kwaffe ‘okunywerera ku kigambo eky’obulamu,’ bijja kutuyamba ‘okweyongera okukolerera obulokozi bwaffe nga tutya era nga tukankana.’—Baf. 2:12, 13, 16.
19 N’olwekyo, fuba okukola obulungi omulimu gwonna Yakuwa gw’aba akuwadde, era musabe akuyambe ng’oli mukakafu nti ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe. (Yak. 1:5) Ajja kukuwa obuyambi bwe weetaaga okutegeera Ekigambo kye, okugumira ebizibu, n’okubuulira amawulire amalungi. Yesu yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.” (Luk. 11:9, 13) Kino kizingiramu okusaba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu. N’olwekyo, weeyongerenga okusaba Yakuwa akuyambe okuba ng’abaweereza be abeesigwa abaakulemberwa omwoyo gwe omutukuvu.
Osobola Okunnyonnyola?
• Tuyinza tutya okukoppa Maliyamu bwe tuba ab’okufuna emikisa?
• Omwoyo gwa Katonda gwawa gutya Pawulo obulagirizi?
• Omwoyo gwa Katonda gukulembera gutya abantu be leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Omwoyo gwa Katonda gwasobozesa Pawulo okuwangula emyoyo emibi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bonna bakulemberwa omwoyo omutukuvu