Mwoyo Omutukuvu Kye Ki?
LUMU Yesu yabuuza abayigirizwa be nti: “Taata ki mu mmwe omwana we bw’amusaba ekyennyanja amuwaamu omusota? Oba bw’amusaba eggi amuwaamu enjaba?” (Lukka 11:11, 12) Abaana b’omu Ggaliraaya baayagalanga nnyo okulya amagi n’ebyennyanja; baali bamanyi kye baagala.
Yesu yagamba nti tetusaanidde kukoowa kusaba Katonda kutuwa omwoyo omutukuvu, ng’omwana alumwa enjala bw’atakoowa kusaba mmere. (Lukka 11:9, 13) Okutegeera ekyo omwoyo omutukuvu kye guli kijja kutuyamba okumanya ensonga lwaki kikulu okuba nagwo. Okusooka, ka twekenneenye ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku mwoyo omutukuvu.
“Amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo”
Ebyawandiikibwa bikiraga bulungi nti omwoyo omutukuvu ge maanyi Katonda g’akozesa okutuukiriza by’ayagala. Malayika Gabulyeri bwe yali ategeeza Malyamu nti yandizadde omwana ow’obulenzi wadde nga yali mbeerera, yamugamba nti: “Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubaako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.” (Lukka 1:35) Okusinziira ku bigambo bya Gabulyeri, waliwo akakwate wakati w’omwoyo omutukuvu n’amaanyi “g’Oyo Ali Waggulu Ennyo.”
Kino kirabikira ne mu byawandiikibwa ebirala ebiri mu Baibuli. Nnabbi Mikka yagamba nti: “Nze njijudde amaanyi olw’omwoyo gwa Mukama.” (Mikka 3:8) Yesu yasuubiza abayigirizwa be nti: “Mulifuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gulibakkako.” (Ebikolwa 1:8) Omutume Pawulo naye yayogera ku “maanyi g’omwoyo omutukuvu.”—Abaruumi 15:13, 19.
Kati olwo, ebyawandiikibwa ebyo bituyamba kutegeera ki? Bituyamba okutegeera nti waliwo akakwate wakati w’omwoyo omutukuvu n’amaanyi ga Katonda. Omwoyo omutukuvu Yakuwa gw’akozesa okulaga amaanyi ge. Mu bimpimpi, tuyinza okugamba nti ge maanyi ga Katonda agakola. Era ago nga maanyi ga kitalo! Tetuyinza kutegeera maanyi genkana wa Katonda ge yakozesa okutonda obutonde bwonna. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yagamba nti tulowooze ku bintu bino: “Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli: byonna abituuma amannya; olw’obukulu bw’obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.”—Isaaya 40:26.
Bwe kityo, Baibuli eraga nti obutonde bwonna bwategekebwa mu ‘maanyi’ ga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Kya lwatu, amaanyi ga Katonda agakola mangi nnyo, era ge gatusobozesa okubaawo.—Laba akasanduuko “Engeri Omwoyo Omutukuvu gye Gukolamu.”
Yakuwa asobola okukozesa omwoyo omutukuvu ku kigero ekya maanyi ennyo, gamba nga bwe kyali mu kutonda obutonde bwonna. Naye era asobola okugukozesa okuyamba abantu be yatonda. Mu Baibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Katonda gye yakozesaamu amaanyi ge agakola okuyamba abaweereza be ku nsi.
“Omwoyo gwa Yakuwa Guli ku Nze”
Obuweereza bwa Yesu butuyamba okutegeera engeri omwoyo gwa Katonda omutukuvu gye guyambamu abaweereza be. Yesu yagamba abantu b’e Nazaaleesi nti, “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze.” (Lukka 4:18) Biki Yesu bye yakola mu ‘maanyi g’omwoyo’? (Lukka 4:14) Yawonya endwadde eza buli ngeri, yakkakkanya omuyaga ku nnyanja, yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu emigaati n’eby’ennyanja ebitaali bingi nnyo, era yazuukiza n’abafu. Omutume Peetero yayogera ku Yesu nga “omusajja Katonda gwe yabalaga mu lujjudde okuyitira mu bikolwa eby’amaanyi, n’ebyamagero, n’obubonero bye yamukozesa.”—Ebikolwa 2:22.
Mu kiseera kino, omwoyo omutukuvu tegukyakola byamagero ng’ebyo. Wadde kiri kityo, gusobola okutukolera ebintu eby’ekitalo. Yakuwa awa abo abamusinza omwoyo omutukuvu nga Yesu bwe yasuubiza abayigirizwa be. (Lukka 11:13) Bwe kityo, omutume Pawulo yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Naawe omwoyo omutukuvu guyinza okukuyamba mu ngeri ng’eyo? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ensonga lwaki omwoyo omutukuvu si muntu
Baibuli egeraageranya omwoyo omutukuvu ku mazzi. Katonda bwe yali asuubiza abantu be okubawa emikisa, yagamba bw’ati: “Ndifuka amazzi ku oyo alumiddwa ennyonta n’emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n’omukisa gwange ku nda yo.”—Isaaya 44:3.
Katonda bw’afuka omwoyo gwe ku baweereza be, ‘bajjula omwoyo omutukuvu,’ oba ‘bajjuzibwa omwoyo omutukuvu.’ Yesu, Yokaana Omubatiza, Peetero, Pawulo, Balunabba, era n’abayigirizwa abaaliwo ku Pentekooti 33 E.E. bonna boogerwako ng’abajjula oba abajjuzibwa omwoyo omutukuvu.—Lukka 1:15; 4:1; Ebikolwa 4:8; 9:17; 11:22, 24; 13:9.
Lowooza ku kino: Omuntu asobola ‘okufukibwa’ ku bantu ab’enjawulo? Oyinza okugamba nti omuntu asobola ‘okujjula’ ekibinja ky’abantu? Ekyo tekisoboka. Baibuli eyogera ku bantu abajjuzibwa amagezi, okutegeera, oba okumanya okutuufu, naye teyogera ku muntu yenna eyajjuzibwa omuntu omulala.—Okuva 28:3; 1 Bassekabaka 7:14; Lukka 2:40; Bakkolosaayi 1:9.
Ekigambo ky’Oluyonaani pneuʹma ekivvuunulwa “omwoyo,” kitegeeza amaanyi agatalabika. Okusinziira ku kitabo kya Vine ekiyitibwa Expository Dictionary of New Testament Words, ekigambo pneuʹma ‘okusookera ddala kitegeeza empewo oba omukka ogussibwa; n’olwekyo, omwoyo gulinga mpewo, tetusobola kugulaba, kugukwatako, era gwa maanyi.’
N’olw’ensonga eyo omwoyo omutukuvu si muntu.a
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Amazima Agakwata ku Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu,” ekiri ku lupapula 201-204, mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Photodisc/SuperStock