LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 12/15 lup. 13-17
  • Lwaki Twetaaga Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Twetaaga Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?
  • Tetusobola Kweruŋŋamya Ffekka
  • Yesu Yakulemberwa Omwoyo gwa Katonda
  • Omwoyo gw’Ensi Gusobola Okutuwabya
  • Omwoyo Omutukuvu Gutuyamba Okwoleka Engeri Ennungi
  • Okulemberwa Omwoyo gwa Katonda?
  • Tambulira mu Mwoyo Otuukirize Okwewaayo Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Mwoyo Omutukuvu Kye Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 12/15 lup. 13-17

Lwaki Twetaaga Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda?

“Oli Katonda wange: omwoyo gwo mulungi; [ka gunnuŋŋamye].”​—ZAB. 143:10.

1. Amaanyi agatalabika gayinza gatya okuyamba omuntu okukwata ekkubo ettuufu?

WALIWO akuuma akaakula ng’essawa akayitibwa kampasi. Akuuma ako kalimu akalimi akasonga ebukiikakkono buli kiseera, era abantu bakakozesa okubayamba okutegeera wa we bali n’oluuyi lwe baba boolekedde. Ekyo kiri kityo kubanga omuntu bw’akozesa akuuma ako ng’ali ku lugendo, ye ne bw’atambula ng’adda ku ludda ki, akalimi kaako ko kasigala kasonze bukiikakkono. Waliwo amaanyi agatalabika ageetoolodde ensi agasobozesa akuuma ako okusonga ebukiikakkono buli kiseera. Okumala ebyasa bingi abantu abatambula eŋŋendo empanvu ku lukalu ne ku mazzi babadde bakozesa akuuma ako okubaluŋŋamya mu kkubo ettuufu. 

2, 3. (a) Maanyi ki ag’ekitalo Yakuwa ge yakozesa emyaka butabalika emabega? (b) Kiki ekiraga nti omwoyo gwa Katonda gusobola okutukulembera leero?

2 Naye waliwo amaanyi amalala agatalabika ge twetaaga ennyo okutuluŋŋamya. Maanyi ki ago? Ge maanyi ge tusomako mu nnyiriri ebbiri ezisooka mu Bayibuli. Nga kyogera ku kintu Yakuwa kye yakola emyaka butabalika emabega, ekitabo ky’Olubereberye kigamba nti: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” Bwe yali atonda ebintu, Katonda yakozesa amaanyi ag’ekitalo. Bayibuli egamba nti: “Omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi.” (Lub. 1:1, 2) Tuli basanyufu okuba nti Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okututonda n’okutonda ebintu ebirala byonna.​—Yob. 33:4; Zab. 104:30.

3 Naye omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba leero? Yee! Omwana wa Katonda Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omwoyo . . . alibawa obulagirizi ng’abayamba okutegeerera ddala amazima.” (Yok. 16:13) Omwoyo omutukuvu kye ki, era lwaki twetaaga okukulemberwa omwoyo ogwo?

Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?

4, 5. (a) Ndowooza ki enkyamu abo abakkiririza mu busatu gye balina ku mwoyo omutukuvu? (b) Oyinza kunnyonnyola otya omwoyo omutukuvu?

4 Bwe tuba tubuulira, tutera okusanga abantu abalina endowooza etali ya mu Byawandiikibwa ku mwoyo omutukuvu. Ng’ekyokulabirako, abantu abakkiririza mu busatu balowooza nti omwoyo omutukuvu muntu ow’omwoyo eyenkanankana ne Katonda Kitaffe. (1 Kol. 8:6) Naye enjigiriza ey’obusatu ekontana n’Ebyawandiikibwa.

5 Kati olwo omwoyo omutukuvu kye ki? Mu Bayibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ruʹach ekyavvuunulwa ‘omwoyo’ mu Olubereberye 1:2 era kisobola okuvvuunulwa ‘ng’empewo’ oba ng’amaanyi agatalabika. (Geraageranya ne Olubereberye 3:8; 8:1.) Wadde nga tetusobola kulaba mpewo, tusobola okulaba ebintu by’ekola. Mu ngeri y’emu, tetusobola kulaba mwoyo mutukuvu naye tusobola okulaba ebintu bye gukola. Omwoyo omutukuvu si muntu, naye maanyi agava eri Katonda. Agakozesa ku bantu oba ku bintu okusobola okutuukiriza by’ayagala. Ddala kizibu okukkiriza nti amaanyi ng’ago ag’ekitalo gava eri Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna? N’akatono!​—Soma Isaaya 40:12, 13.

6. Kiki Dawudi kye yasaba Yakuwa?

6 Naye Yakuwa asobola okukozesa omwoyo gwe okutukulembera mu bulamu bwaffe bwonna? Yagamba omuwandiisi wa Zabbuli nti: ‘Nnaakuyigirizanga era nnaakulaganga ekkubo ly’onooyitangamu.’ (Zab. 32:8) Ddala ekyo Dawudi yali akyagala? Yee, kubanga yagamba Yakuwa nti: “Onjigirize okukolanga by’oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: omwoyo gwo mulungi; [ka gunnuŋŋamye].” (Zab. 143:10) Naffe tusaanidde okwagala okukulemberwa omwoyo gwa Katonda. Lwaki? Ka tulabeyo ensonga nnya.

Tetusobola Kweruŋŋamya Ffekka

7, 8. (a) Lwaki tetusobola kweruŋŋamya ffekka? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki twetaaga obulagirizi bwa Katonda mu nsi eno embi.

7 Ensonga esooka lwaki twetaaga okukulemberwa omwoyo gwa Katonda eri nti tetusobola kweruŋŋamya ffekka. “Okuluŋŋamya” kitegeeza “okulaga omuntu ekkubo ettuufu ly’asaanidde okukwata oba ekyo ky’asaanidde okukola.” Kyokka, Yakuwa teyatutonda na busobozi kweruŋŋamya era olw’okuba tetutuukiridde, bwe tugezaako okweruŋŋamya tukola ensobi nnyingi. Nnabbi Yeremiya yawandiika nti: “Ai Mukama, mmanyi nti ekkubo ly’omuntu teriri mu ye kennyini: omuntu talina busobozi kuluŋŋamya bigere bye.” (Yer. 10:23, The Bible in Basic English) Lwaki kiri kityo? Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa atubuulira ensonga lwaki tetusobola kweruŋŋamya. Yakuwa yagamba nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya?”​—Yer. 17:9; Mat. 15:19.

8 Kiba kya magezi omuntu okutambula olugendo oluwanvu ng’ali yekka, ng’ayita mu kifo ky’atamanyi, nga talina amulagirira, ate nga talina wadde kampasi? Singa omuntu ng’oyo atuuka awantu n’abula, nga tamanyi kya kukola, era nga takyasobola kuzuula kkubo limutwala gy’alaga, obulamu bwe buba mu kabi. Mu ngeri y’emu, singa omuntu yenna alowooza nti asobola okweruŋŋamya yekka mu nsi eno embi awatali bulagirizi bwa Katonda, aba atadde obulamu bwe mu kabi ak’amaanyi. Okufaananako Dawudi, naffe tusaanidde okusaba Yakuwa atuluŋŋamye. Dawudi yagamba nti: “Olugendo lwange lwanywera mu makubo go, ebigere byange tebiseereranga.” (Zab. 17:5; 23:3) Katonda ayinza atya okutuluŋŋamya?

9. Nga bwe kiragibwa ku lupapula 17, omwoyo gwa Katonda guyinza gutya okutuluŋŋamya?

9 Bwe tuba abeetoowaze era nga tuli beetegefu okukkiriza Yakuwa okutuwa obulagirizi, ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu guluŋŋamye ebigere byaffe. Omwoyo ogwo gutuluŋŋamya gutya? Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuyambi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’alisindika mu linnya lyange, oyo ajja kubayigiriza ebintu byonna era abajjukize ebintu byonna bye nnabagamba.” (Yok. 14:26) Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa, omuli n’ebyo Kristo bye yayigiriza, omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba okwongera okutegeera amagezi ga Yakuwa ag’ebuziba, kituyambe okukola by’ayagala. (1 Kol. 2:10) Era singa twesanga mu mbeera enzibu, omwoyo gwa Katonda gujja kutuyamba okumanya eky’okukola. Gujja kutuyamba okujjukira emisingi gya Bayibuli gye twali tusomyeko era n’engeri gye tuyinza okugikozesa okusalawo obulungi.

Yesu Yakulemberwa Omwoyo gwa Katonda

10, 11. Kiki Yesu kye yali asuubira omwoyo omutukuvu okumukolera, era gwamuyamba gutya?

10 Ensonga ey’okubiri lwaki twetaaga okukulemberwa omwoyo omutukuvu eri nti Omwana wa Katonda kennyini naye yakulemberwa omwoyo ogwo. Bwe yali tannajja ku nsi, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yali amanyi bulungi obunnabbi buno: “Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw’amagezi n’okutegeera, omwoyo ogw’okuteesa n’amaanyi, omwoyo ogw’okumanya n’okutya Mukama.” (Is. 11:2) Obulamu ku nsi tebwandibadde bwangu eri Yesu. Ng’ateekwa okuba nga yali yeetaaga nnyo okufuna omwoyo gwa Katonda!

11 Ebigambo bya Yakuwa ebyo byatuukirira. Enjiri ya Lukka etubuulira ekyo ekyaliwo nga Yesu yaakamala okubatizibwa: “Awo Yesu ng’ajjudde omwoyo omutukuvu n’ava ku mugga Yoludaani, omwoyo ne gumutwala mu ddungu.” (Luk. 4:1) Yesu bwe yali mu ddungu ng’asiiba, ng’asaba, era ng’afumiitiriza, kirabika Yakuwa aliko obulagirizi bwe yamuwa era n’amuyamba okweteekerateekera ebyo ebyali bigenda okubaawo mu bulamu bwe. Omwoyo omutukuvu gwaluŋŋamya ebirowoozo bya Yesu n’omutima gwe. N’ekyavaamu, Yesu buli kiseera yabanga amanyi ekyo Kitaawe kye yabanga ayagala akole era yakikolanga.

12. Lwaki twetaaga okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe okutukulembera?

12 Olw’okuba Yesu yali amanyi obukulu bw’okukulemberwa omwoyo gwa Katonda, yakubiriza abagoberezi be okusaba Katonda agubawe n’okugukkiriza okubakulembera mu bulamu bwabwe. (Soma Lukka 11:9-13.) Lwaki naffe twetaaga omwoyo ogwo okutukulembera? Kubanga gusobola okukyusa endowooza yaffe n’efaanana ng’eya Kristo. (Bar. 12:2; 1 Kol. 2:16) Bwe tukkiriza omwoyo gwa Katonda okutukulembera mu bulamu bwaffe, tusobola okufuna endowooza ya Kristo era ne tukoppa ekyokulabirako kye.​—1 Peet. 2:21.

Omwoyo gw’Ensi Gusobola Okutuwabya

13. Omwoyo gw’ensi kye ki, era abantu gubaleetera kukola ki?

13 Ensonga ey’okusatu lwaki twetaaga omwoyo gwa Katonda okutukulembera eri nti singa tetukulemberwa mwoyo ogwo, omwoyo gw’ensi ogukolera mu bantu abasinga obungi leero gujja kutuwabya. Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okweyisa mu ngeri ekontana n’ebyo omwoyo omutukuvu bye gutukubiriza okukola. Mu kifo ky’okuyamba abantu okuba n’endowooza ng’eya Kristo, omwoyo gw’ensi gubaleetera okulowooza n’okweyisa ng’omufuzi w’ensi eno, Sitaani. (Soma Abeefeso 2:1-3; Tito 3:3.) Omuntu bw’akkiriza okufugibwa omwoyo gw’ensi era n’atandika okukola ebikolwa eby’omubiri, ebimuviiramu tebiba birungi, aba tajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda.​—Bag. 5:19-21.

14, 15. Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi?

14 Yakuwa atuwa ebintu bye twetaaga okusobola okuziyiza omwoyo gw’ensi. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mufunenga amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza bw’amaanyi ge . . . musobole okwerwanako ku lunaku olubi.” (Bef. 6:10, 13) Okuyitira mu mwoyo gwe, Yakuwa atuyamba okwewala okubuzaabuzibwa Sitaani. (Kub. 12:9) Omwoyo gw’ensi gwa maanyi, era tetusobola kugwewalira ddala. Naye tusobola okuguziyiza kubanga omwoyo omutukuvu gwa maanyi nnyo okugusinga era gusobola okutuyamba!

15 Ng’ayogera ku abo abaali bavudde mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, omutume Peetero yagamba nti: “Olw’okuleka ekkubo eggolokofu, bakyamiziddwa.” (2 Peet. 2:15) Nga kituleetera essanyu lingi okukimanya nti tetwaweebwa “mwoyo gwa nsi wabula twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda”! (1 Kol. 2:12) Bwe tukkiriza omwoyo ogwo okutukulembera era ne tukozesa ebintu byonna Yakuwa by’atuwa okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, tusobola okuziyiza omwoyo gw’ensi.​—Bag. 5:16.

Omwoyo Omutukuvu Gutuyamba Okwoleka Engeri Ennungi

16. Ngeri ki omwoyo omutukuvu gwe zitusobozesa okwoleka?

16 Ensonga ey’okuna lwaki twetaaga okukulemberwa omwoyo gwa Katonda eri nti bwe tugukkiriza okutukulembera, gutuyamba okwoleka ekibala kyagwo mu bulamu bwaffe. (Soma Abaggalatiya 5:22, 23.) Ani ku ffe atandyagadde kwongera kwoleka kwagala, ssanyu, na mirembe? Ani ku ffe atandyagadde kusukkirira mu kugumiikiriza, mu kulaga kisa, ne mu bulungi? Ani ku ffe atasobola kuganyulwa singa yeeyongera okuba n’okukkiriza, okuba omukkakkamu, n’okwefuga? Omwoyo gwa Katonda gutuyamba okwoleka engeri ennungi ezituganyula, era eziganyula n’abo be tuba nabo ne be tuweereza nabo. Twetaaga bulijjo okweyongera okukulaakulanya ekibala ky’omwoyo okuva bwe kiri nti okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo tekiriiko kkomo.

17. Tuyinza tutya okweyongera okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo?

17 N’olwekyo kiba kya magezi okwebuuza: Ddala ebigambo byaffe n’ebikolwa byaffe biraga nti tukulemberwa omwoyo omutukuvu era nti twoleka ekibala kyagwo mu bulamu bwaffe? (2 Kol. 13:5a; Bag. 5:25) Bwe tukiraba nti tulina engeri ezimu eziri mu kibala ky’omwoyo ze twetaaga okwongera okukulaakulanya, tuba tulina okukkiriza omwoyo omutukuvu okutuyamba okuzikulaakulanya. Kino tusobola okukikola nga tusoma ku buli emu ku ngeri ezo nga tukozesa Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Ekyo kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okwongera okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo mu bulamu bwaffe era ne tufuba okuzooleka.a Bwe tulaba emiganyulo egiva mu kukulemberwa omwoyo gwa Katonda mu bulamu bwaffe ne mu bulamu bw’Abakristaayo bannaffe, kituyamba okukiraba nti twetaaga nnyo okukulemberwa omwoyo ogwo.

Okulemberwa Omwoyo gwa Katonda?

18. Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki bwe kituuka ku kukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda?

18 Katonda bwe yali atonda ebintu, Yesu ye yali ‘omukozi we omukugu.’ Yesu yali amanyi bulungi amaanyi agatalabika ageetoolodde ensi, agayamba abantu abakozesa kampasi. (Nge. 8:30, NW; Yok. 1:3) Bayibuli terina wonna w’ekiragira nti Yesu yakozesaako amaanyi ago ng’atambula bwe yali ku nsi. Naye eraga nti omwoyo omutukuvu gwayamba nnyo Yesu bwe yali wano ku nsi. Yakkiriza okukulemberwa omwoyo omutukuvu. Bwe gwamuwanga obulagirizi ku kintu kyonna, yakkirizanga obulagirizi bwagwo era n’abukolerako. (Mak. 1:12, 13; Luk. 4:14) Naawe bw’otyo bw’oli?

19. Kiki kye tulina okukola okusobola okukulemberwa omwoyo gwa Katonda?

19 Ne leero, omwoyo gwa Katonda gukulembera abo abeetegefu okukolera ku bulagirizi bwagwo. Oyinza otya okugukkiriza okukuluŋŋamya mu kkubo ettuufu? Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe era akuyambe okukolera ku bulagirizi bwagwo. (Soma Abeefeso 3: 14-16.) Kirage nti oyagala okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu nga weesomesa Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, ekyaluŋŋamizibwa Katonda ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (2 Tim. 3:16, 17) Kolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli era okkirize okukulemberwa omwoyo omutukuvu. Bw’okola bw’otyo, oba okiraga nti weesiga Yakuwa okukukulembera obulungi mu nsi eno embi.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okusoma ku buli emu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo, laba omutwe “Ekibala ky’Omwoyo gwa Katonda” mu Watch Tower Publications Index.

Otegedde Ensonga Enkulu?

• Omwoyo omutukuvu guyinza gutya okutuyamba mu bulamu bwaffe?

• Waayo ensonga nnya lwaki twetaaga okukulemberwa omwoyo gwa Katonda.

• Kiki kye tulina okukola okusobola okukulemberwa omwoyo gwa Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Omwoyo gwa Katonda gwayamba nnyo Yesu bwe yali wano ku nsi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Omwoyo gwa Katonda gukulembera abo abeetegefu okukolera ku bulagirizi bwagwo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share