Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Maaki
“Nga Apuli 14, wagenda kubaawo omukolo omukulu ennyo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu. Abamu bajja kubaawo ku mukolo ogwo olw’okuba bakitwala nti okufa kwa Yesu kubaganyula. Ate abalala tebeekakasa obanga okufa kwa Yesu kubaganyula. Ggwe olowooza ffenna tuganyulwa mu kufa kwa Yesu?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Maaki 1
“Abantu bangi beebuuza ensonga lwaki Katonda takomya kubonaabona okuliwo mu nsi. Tugambe nti Katonda tatufaako, oba ayagala tuboneebone? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yokaana 3:16.] Wadde nga bangi bakozesa ebigambo bino okulaga nti Katonda atufaako, si bakakafu obanga ddala okufa kw’Omwana wa Katonda kubaganyula. Akatabo kano kannyonnyola engeri Katonda gy’ajja okumalawo okubonaabona kwonna ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu.”
Awake! Maaki
“Tubakyaliddeko tukubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kino. [Soma Olubereberye 1:1.] Abamu bakkiriza nti eggulu n’ensi byatondebwa, naye abalala tebakikkiriza. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli ennyonnyola bulungi engeri ebintu gye byatondebwamu, era akatabo kano koogera ku nsonga eyo.”