Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Okitobba
“Tubakyaliddeko katono nga twogera ku nsonga ezitukwatako ffenna. Olowooza eriyo gavumenti esobola okumalawo ebizibu eby’amaanyi, gamba ng’obutali bwenkanya n’ebikolwa eby’obukambwe?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma mutegeeze nti mu ssaala Yesu gye yayigiriza abagoberezi be, yabagamba basabe Katonda asseewo gavumenti ng’eyo, era nga bwe Bwakabaka bwa Katonda. Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Okitobba 1
“Leero twogerako n’abantu ku bigambo bino ebiri mu ssaala emanyiddwa ennyo Yesu gye yayigiriza abagoberezi be. [Soma Matayo 6:9, 10.] Obwakabaka bwa Katonda Yesu bwe yayogerangako ennyo ng’ayigiriza kye ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano kalaga ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda n’emikisa gye bunaaleeta.”
Awake! Okitobba
“Leero tubakyaliddeko katono tukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino. [Mulage ekibuuzo ekiri kungulu ku magazini eyo] Olowooza omuntu alina kuba mugagga okusobola okufuna essanyu mu bulamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga endowooza gye tusaanidde okuba nayo ku by’obugagga. [Soma Luk. 12:15.] Bayibuli eraga nti buli muntu asobola okuba omusanyufu, era katabo kano kajja kukuyamba okumanya ebisingawo.”