LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/11 lup. 4
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 9/11 lup. 4

Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Okitobba

“Mu biseera bino ebizibu, ffenna twolekagana n’ebizibu ebyeraliikiriza ennyo amaka. Olowooza wa we tuyinza okufuna amagezi ageesigika agasobola okutuyamba okufuna essanyu mu amaka?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma muwe Watchtower eya Okitobba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ogumu ku mitwe emitono egiri ku lupapula 16 ne 17 era musomere wamu waakiri ekyawandiikibwa kimu ku ebyo ebiweereddwa. Kola enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kimu ku bibuuzo ebirala.

The Watchtower Okitobba 1

Mulage ebiri ku magazini, era omubuuze nti, “Wandiyisiddwa otya ng’okitegedde nti bye baakuyigiriza ku Katonda bya bulimba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Yesu kye yagamba ekikwata ku ngeri y’okwawulawo amazima ku bulimba. [Soma Yokaana 17:17.] N’olwekyo, Bayibuli yokka y’etubuulira amazima agakwata ku Katonda. Magazini eno eraga obulimba bwa mirundi etaano abantu bwe bayigiriza ku Katonda Bayibuli bw’etuyamba okutegeera.”

Awake! Okitobba

“Leero tukyalira buli maka nga tulina obubaka obukulu bwe tubaleetedde. Olowooza kizibu ki abazadde kye basinga okwolekagana nakyo leero nga bakuza abaana? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abazadde bangi bakozesa amagezi agali mu Bayibuli. Okugeza, ebigambo bino eby’amagezi biyamba nnyo mu kukangavvula abaana. [Soma Abeefeso 4:31.] Magazini eno eraga engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gasobola okuyambamu abazadde ku buli mutendera omwana gw’atuukako ng’akula, okuviira ddala mu buwere okutuuka mu buvubuka.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share