Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Okitobba
“Leero tugenda tukyalirako baliraanwa baffe. Bangi be twogeddeko nabo bagamba nti ekimu ku bintu ebikyasinze okubanakuwaza kwe kufiirwa omuntu waabwe. Olowooza kiki ekiyinza okutubudaabuda nga tufiiriddwa omuntu waffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Waliwo wano ekituzzaamu ennyo amaanyi.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Okitobba 1
“Tukubiriza buli omu okusoma Bayibuli. Tukisanze nti abantu abamu baagala okusoma Bayibuli ate abalala tebaagala kugisoma. Ate ggwe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli egamba bw’eti. [Soma 1 Abassessaloniika 2:13.] Okuva bwe kiri nti Bayibuli Kigambo kya Katonda, kikulu nnyo okugisoma. Akatabo kano kannyonnyola omulamwa gwa Bayibuli n’ensonga lwaki tusaanidde okugisoma.”
Awake! Okitobba
“Nandyagadde okufuna endowooza yo ku kibuuzo kino: Kisoboka omuntu okuba omumativu wadde nga talina bintu bingi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli ky’egamba. [Soma 1 Timoseewo 6:8.] Akatabo kano kalaga endowooza entuufu gye tusaanidde okuba nayo ku bintu, era kannyonnyola ebintu bisatu eby’omuwendo ennyo ssente bye zitasobola kugula.”