Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Maaki
“Abantu bangi bakuza amazaalibwa ga Yesu, naye olowooza kikulu okujjukira okufa kwe?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma muwe Watchtower eya Maaki 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Kola enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Maaki 1
“Waliwo amadiini mangi agalina enzikiriza ez’enjawulo era ageeyisa mu ngeri ey’enjawulo. Olowooza buli eyeeyita Omukristaayo aba Mukristaayo wa mazima? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku Yesu, kano ke kamu ku bubonero obwawulawo Abakristaayo ab’amazima. [Soma Yokaana 13:34, 35.] Magazini eno erimu ebintu bitaano Yesu bye yayogerako ebituyamba okwawulawo abagoberezi be ab’amazima.”
Awake! Maaki
“Twogera ne baliraanwa baffe ku kintu ekicaase era ekyeraliikiriza ennyo. Kirabika abantu bangi leero bakambwe nnyo era banyiiga mangu. Olowooza kiva ku ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku busungu. [Soma Zabbuli 37:8.] Magazini eno eraga ezimu ku nsonga eziviiriddeko abantu okweyongera okuba abakambwe n’engeri gye tuyinza okufugamu obusungu.”