LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/12 lup. 4
  • Ebirango

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 2/12 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Febwali: Ababuulizi bayinza okugaba ekimu ku bitabo bino: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, ne Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.

◼ Okwogera okw’enjawulo kujja kuweebwa ku wiikendi ya wiiki eyo yennyini omunaabeera Ekijjukizo, era kujja kuba n’omutwe ogugamba nti, “Okimanyi nti Enkomerero Eri Kumpi?”

◼ Buli lw’oba oteekateeka okugenda mu nsi etalagiddwa mu lipoota y’omwaka gw’obuweereza oba ng’endagiriro yaayo teri ku lupapula olusembayo olw’akatabo Yearbook akaakafulumizibwa, osabibwa okwebuuza ku ofiisi y’ettabi ey’omu nsi yo okusobola okumanya obulagirizi bw’olina okugoberera. Omulimu gw’Obwakabaka mu nsi eyo guyinza okuba nga gukugirwa. (Mat. 10:16) Mu nsi ezimu, kiyinza obutaba kirungi okubuuliriza Abajulirwa ba Yakuwa we bali. Oyinza okuweebwa obulagirizi obukwata ku kubuulira embagirawo oba okutambula n’ebitabo. Singa okolera ku bulagirizi obukuweereddwa, kijja kukuyamba okwewala ebizibu oba okuleeta ebizibu ebiyinza okukosa omulimu gw’Obwakabaka mu nsi gy’oba okyadde.—1 Kol. 14:33, 40.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share