Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 5
WIIKI ETANDIKA MAAKI 5
Oluyimba 115 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 13 ¶1-6 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 1-4 (Ddak. 10)
Na. 1: Yeremiya 3:14-25 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Twenyumiririza mu Kuyitibwa Erinnya lya Yakuwa—Is. 43:12 (Ddak. 5)
Na. 3: Bayibuli Eyogera Ki ku Kugattululwa n’Ofumbiriganwa n’Omuntu Omulala?—rs-E lup. 252 ¶1-4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Ganyulwa mu Katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku aka 2012. Ng’olinga awa emboozi, mu bufunze yogera ku ebyo ebiri mu nnyanjula. Oluvannyuma, saba abawuliriza boogere ekiseera kye bassaawo okusomeramu ekyawandiikibwa ekya buli lunaku n’engeri gye baganyuddwamu. Fundikira nga mukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2012.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Maaki. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu ku bitundu ebiyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebiyinza okusikiriza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka ebiri mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 75 n’Okusaba