Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 27, 2012. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero lya buli wiiki.
1. Kituufu okugamba nti ekisa kya Yakuwa kimuleetera obutalaga bwenkanya bwe mu bujjuvu? (Is. 30:18) [Jan. 9, w02-E 3/1 lup. 30]
2. Kiki kye tuyigira ku ky’okuba nti Sebuna yaggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omuwanika wa kabaka Keezeekiya? (Is. 36:2, 3, 22) [Jan. 16, w07 4/1 lup. 5 kat. 1]
3. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebiri mu Isaaya 37:1, 14-20 ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebitweraliikiriza? [Jan. 16, w07 4/1 lup. 5 kat. 2-3]
4. Ekyokulabirako ekikozesebwa mu Isaaya 40:31 kizzaamu kitya abaweereza ba Yakuwa amaanyi? [Jan. 23, w96-E 6/15 lup. 10-11]
5. Bulumbaganyi ki obunaatera okukolebwa ku bantu ba Yakuwa, era ebigambo ebiri mu Isaaya 41:14 bituzzaamu bitya amaanyi mu kiseera kino? [Jan. 23, ip-2-E lup. 24 kat. 16]
6. Tuyinza tutya okulaga Yakuwa nti ‘tugoberera obutuukirivu’? (Is. 51:1) [Feb. 6, ip-2-E lup. 165 kat. 2]
7. “Abakulu” aboogerwako mu Isaaya 53:12 be baani, era kiki kye tuyigira ku Yakuwa ku ngeri gy’akolaganamu nabo? [Feb. 13, ip-2-E lup. 213 kat. 34]
8. Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, nkyukakyuka ki ezibaddewo mu bantu ba Yakuwa ezaayogerwako mu ngeri ey’akabonero mu Isaaya 60:17? [Feb. 20, ip-2-E lup. 316 kat. 22]
9. ‘Omwaka ogw’okukkiririzibwamu’ Yesu n’abagoberezi be gwe baatumibwa okulangirira gwe guluwa? (Is. 61:2) [Feb. 20, ip-2-E lup. 324-325 kat. 7-8]
10. Engeri ya Yakuwa esikiriza eyogerwako mu Isaaya 63:9, y’eruwa? [Feb. 27, w03 7/1 lup. 28 kat. 22-23]