Onooganyulwa mu Watchtower Egonzeddwamu?
Kati waliwo magazini ya Watchtower omuli ebitundu eby’okusoma mu kibiina eri mu Lungereza olugonzeddwamu. Magazini eno ya kuyamba (1) ababuulizi aboogera Olungereza, abandyagadde okukozesa olulimi olugonzeddwamu, olw’okuba balina obuyigirize butono; (2) ababuulizi abakozesa Olungereza naye nga si lwe lulimi lwabwe oluzaaliranwa; (3) abaana oba abavubuka, nga mw’otwalidde n’abo abali mu bibiina ebya wansi; ne (4) abayizi ba Bayibuli abeetaaga olulimi olwangu okusobola okutegeera obulungi amazima.
Obutundu obusomebwa, ebibuuzo, n’emitwe bikwatagana n’ebya magazini eya bulijjo. Ebigirimu bifaanaganira ddala n’ebyo ebiri mu magazini eya bulijjo, naye olulimi lwe lugonzeddwamu. Akubiriza n’oyo asoma obutundu ba kukozesanga Watchtower eya bulijjo okuggyako ng’abasinga obungi bakozesa egonzeddwamu. Wadde kiri kityo, Watchtower egonzeddwamu erimu ebyawandiikibwa bye bimu n’ebyokulabirako bye bimu era abagikozesa bajja kuba basobola okugoberera ng’obutundu busomebwa n’okubaako bye baddamu.
Oyo yenna eyandyagadde okufuna magazini eno asaanidde okuwaayo okusaba kwe eri ow’oluganda akola ku magazini.