Omunnaala gw’Omukuumi Omuli Ebitundu eby’Okusoma mu Kibiina
MAGAZINI eno gy’osoma y’esoose okufulumizibwa ku ezo ezijja okubeerangamu ebitundu eby’okusoma mu kibiina. Kati twagala okunnyonnyola ebimu ku biri mu nteekateeka empya eya magazini eno.
Magazini eno ya kukubibwanga olw’okuganyula Abajulirwa ba Yakuwa n’abayizi ba Baibuli abakulaakulana. Ejja kufulumanga omulundi gumu mu mwezi ng’erimu ebitundu eby’okusoma mu kibiina bina oba bitaano. Ennaku z’omwezi ebitundu bino kwe binaasomerwanga mu bibiina kulagibwa ku ngulu ku ddiba lya magazini. Obutafaanana magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ey’okusomebwa abantu bonna, eno yo tejja kuba na bifaananyi bya njawulo ku ddiba lyayo okuva bwe kiri nti si ya kugabibwa mu buweereza bw’ennimiro.
Ku lupapula 2 olwa magazini eyo, kuliko obugambo obulaga ekigendererwa kya buli kitundu eky’okusoma mu kibiina, wamu n’olukalala lw’ebitundu ebirala ebitajja kusomebwa mu kibiina. Obugambo obwo bujja kuyamba nnyo abo abakubiriza okusoma Omunaala gw’Omukuumi mu kibiina okweteekateeka obulungi.
Ojja kukizuula nti ebitundu eby’okusoma mu kibiina bimpiko okusinga bwe bibadde. N’olwekyo, wajja kubaawo obudde obumala ebyawandiikibwa ebikulu ebirimu bisobole okwekenneenyezebwa obulungi mu kusoma kw’ekibiina. Tukukubiriza buli wiiki okusoma ebyawandiikibwa byonna ebiri mu kitundu ekiba kigenda okusomebwa. Ebyawandiikibwa ebimu biriko ekigambo nti “soma” era bisaanidde okusomebwa n’okukubaganyizibwako ebirowoozo mu lukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi mu kibiina. Obudde bwe buba bumala, ebyawandiikibwa ebirala nabyo biyinza okusomebwa. Mu bitundu ebimu eby’okuyiga, oyinza okusangamu ebyawandiikibwa okuli ekigambo nti “geraageranya.” Olw’okuba ebyawandiikibwa ebyo biba tebiwagira butereevu ensonga enkulu eziri mu katundu, biyinza obutasomebwa mu lukuŋŋaana. Wadde kiri kityo, ebyawandiikibwa ebyo bibaamu ensonga eziba zigaziya ku kiba kyogerwako. Tukukubiriza okubisoma nga weetegekera olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Oboolyawo oyinza okubyogerako ng’oddamu ebibuuzo mu lukuŋŋaana.
Alipoota y’omwaka tejja kuddamu kufulumira mu Omunaala gw’Omukuumi. Okutandika n’omwaka 2008, ejja kufulumiranga mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ne mu Yearbook. Kyokka, nga bwe tulabye waggulu, magazini eno ejja kubaamu n’ebitundu ebirala ebitajja kusomebwa mu kibiina. Wadde ng’ebitundu ebyo si bya kusomebwa mu kibiina, okubirizibwa okubisoma n’obwegendereza. Nabyo birimu emmere ey’eby’omwoyo okuva eri ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’—Mat. 24:45-47.
N’ekisembayo, magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ey’okusoma mu kibiina n’eyo ey’okugabira bonna si magazini bbiri ez’enjawulo. Zombi ziyitibwa Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Ku lupapula 2 zombi zirina akatundu akannyonnyola ekigendererwa kya Omunaala gw’Omukuumi. Zombi zijja kubanga mu muzingo ogufuluma buli mwaka. Era ebiri mu magazini zombi bijja kusangibwanga mu kitundu ekirina omutwe “Ojjukira?” ekijja okufulumiranga mu magazini ey’okusoma mu kibiina.
Okuviira ddala mu 1879, mu biseera byonna eby’entalo, eby’embeera z’eby’enfuna enzibu, n’eby’okuyigganyizibwa, magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ebadde erangirira amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Wamu n’obuyambi bwa Yakuwa, tulina essuubi nti magazini eno ejja kweyongera okukola kye kimu. Tusaba Yakuwa akuwe omukisa ng’okozesa obulungi magazini eno eya Omunaala gw’Omukuumi ey’okusoma mu kibiina.