LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/07 lup. 1
  • Enkyukakyuka Ezisanyusa Ezikwata ku Watchtower!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkyukakyuka Ezisanyusa Ezikwata ku Watchtower!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Omunnaala gw’Omukuumi Omuli Ebitundu eby’Okusoma mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Eri Abasomi Baffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yee, Eno Ye Magazini ey’Okusoma mu Kibiina!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Watchtower eri mu Lungereza Olugonzeddwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 7/07 lup. 1

Enkyukakyuka Ezisanyusa Ezikwata ku Watchtower!

1 Ng’omwaka guno gwa katandika, ebibiina byafuna ekirango ekisanyusa: Okutandika ne Jjanwali 2008, Watchtower ejja kuba mu ngeri bbiri ez’enjawulo, emu ejja kuba ya bonna ate endala nga ya ba luganda bokka! Oboolyawo obadde weebuuza: ‘Njawulo ki eneeba wakati wa magazini zino ebbiri? Miganyulo ki egiri mu kufulumya Watchtower ebiri ez’enjawulo? Waliwo ebippya ebiri mu magazini zino bye tuyinza okwesunga?’

2 Enjawulo Eriwo: Eyo eneefulumanga buli lusooka mu mwezi ejja kuyitibwa ya Bonna. Ebyo byonna ebinaabeeranga mu Magazini eno bijja kuba bigendereddwamu kuyamba bantu be tubuulira. Ate yo eneefulumanga nga 15 buli mwezi, ejja kuyitibwa ya Kusoma mu Kibiina era tejja kugabibwanga mu buweereza bw’ennimiro. Ejja kubeerangamu ebitundu eby’okusoma mu kibiina bya mwezi mulamba awamu n’ebitundu ebirala ebinaaganyula Abakristaayo abeewaddeyo eri Yakuwa. Watchtower eya Bonna tejja kunyumira Bajulirwa bokka, naye okusingira ddala ejja kunyumira abantu abatali Bajulirwa abakkiririza mu Baibuli. Ku luuyi olulala, Awake! ejja kusigala ng’efulumizibwa olw’okuganyula abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo ababuusabuusa obutuufu bwa Baibuli awamu n’abo abali mu ddiini ezitali za Kikristaayo.

3 Emiganyulo: Mu Watchtower Ey’okusoma mu Kibiina, kijja kuba tekikyetaagisa kunnyonnyola bigambo gamba nga “payoniya” okusobozesa abantu abatali Bajulirwa okubitegeera. Okusingira ddala, ebyo ebinaabanga mu Watchtower eno bijja kuganyula Bajulirwa ba Yakuwa awamu n’abayizi ba Baibuli abakulaakulana. Ate yo eya Bonna? Okuva bwe kiri nti ebyo ebinaabeera mu magazini eno awamu n’olulimi olunaakozesebwa bijja kuba bigendereddwa kuganyula bantu bonna, abo abatali Bajulirwa bajja kunyumirwa okugisoma yonna nga tebasanzeemu bibakaluubiriza. Kya lwatu, buli Mujulirwa wa Yakuwa ajja kuganyulwa mu kusoma Watchtower zino zombi. Olw’okuba buli mwezi tujja kuba tugaba Watchtower emu ne Awake! emu mu buweereza bw’ennimiro, tujja kukozesa ennyanjula emu okumala ebbanga lya mwezi mulamba.

4 Ebitundu Ebippya: Waliwo ebitundu ebippya ebitegekeddwa okubeera mu Watchtower eya Bonna. Ekitundu ekimu kijja kwogera ku njigiriza za Baibuli ezisookerwako mu ngeri ennyangu ennyo. Ekitundu ekirala kijja kulaga engeri Baibuli gy’esobola okuyambamu amaka. Mujja kubaamu n’enteekateeka en’eyamba abavubuka okwesomesa Baibuli. Buli emu ku magazini zino ejja kubaamu ekitundu ekinnyonnyola Ebyawandiikibwa ebimu ebituyigiriza ku ngeri za Yakuwa.

5 Tusaba Yakuwa awe omukisa enteekateeka eno empya ekwata ku Watchtower. Tusuubira nti magazini eno eya Watchtower, awamu ne Awake!, zijja kusobozesa abantu bangi nnyo okufuna amawulire amalungi.​—Mat. 10:11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share