Eri Abasomi Baffe
TULINA essanyu okubategeeza nti okutandika ne magazini eno, waliwo enkyukakyuka ezijja okuba mu nteekateeka ya Omunaala gw’Omukuumi. Nga tetunnayogera ku bigenda kukyuka, ka tusooke tulabe ebyo ebijja okusigala nga tebikyuse.
Erinnya lya magazini eno, Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa, terikyuse. N’olwekyo, magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ejja kugenda mu maaso okugulumiza Yakuwa nga Katonda ow’amazima n’okubudaabuda abasomi okuyitira mu mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe. Ebitundu ebiri ku lupapula 5 okutuuka ku 9 mu magazini eno bikwata ku Bwakabaka. Okugatta ku ekyo, magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ejja kwongera okukubiriza abasomi baayo okukkiririza mu Yesu Kristo, era eyongere okutumbula amazima agali mu Baibuli, n’okunnyonnyola engeri ebiriwo mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Baibuli, nga bw’ebadde ekola okumala emyaka egissuka mu kikumi.
Kati olwo, biki ebigenda okukyuka? Ka tunnyonnyole ebintu ebipya ebinaabeera mu magazini eneefulumanga nga 1 buli mwezi.a
Buli mwezi magazini eno ejja kubangamu ebitundu ebireetera omuntu okufumiitiriza. Ekitundu “Obadde Okimanyi?” kijja kunnyonnyolanga ebintu ebitali bimu ebisangibwa mu Baibuli. Ekitundu “Semberera Katonda” kijja kutulaga biki bye tuyinza okuyiga ku Yakuwa okuva mu bitundu bya Baibuli ebitali bimu. Ekitundu “Abasomi Baffe Babuuza” kijja kuddamu ebibuuzo ebikwata ku Baibuli abantu bye batera okubuuza. Ng’ekyokulabirako, bangi babuuza, “Obwakabaka bwa Katonda buli mu mutima gwo?” Eky’okuddamu ojja kukisanga ku lupapula 13.
Ebitundu ebiwerako bitekeddwawo okuganyula amaka. Ekitundu “Engeri y’Okufuna Essanyu mu Maka,” ekijja okufulumanga emirundi ena buli mwaka, kijja kwogeranga ku bizibu ebibeerawo mu maka n’engeri emisingi gya Baibuli gye giyinza okuyamba omuntu okubigonjoolamu. Ekitundu “Yigiriza Abaana Bo” abazadde basaanidde okukisomanga wamu n’abaana baabwe. Emyezi egimu mu kifo ky’ekitundu ekyo mujja kubeerangamu ekitundu “Eri Abavubuka Baffe” ekijja okuyamba abavubuka okwesomesa Baibuli.
Waliwo ebitundu ebirala ebijja okufulumanga emirundi ena buli mwaka. Ekitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe” kijja kutukubiriza okukoppa ekyokulabirako ky’omuntu omu ayogerwako mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, ku lupapula 18 okutuuka ku 21 mu magazini eno ojja kusoma ku bikwata ku nnabbi Eriya, olabe n’engeri gy’oyinza okukoppa okukkiriza kwe. Ekitundu “Ebbaluwa Okuva eri . . . ” kijja kubangamu ebikwata ku bulamu bw’abaminsani n’abalala okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Ekitundu “Kye Tuyiga Ku Yesu” kijja kubangamu enjigiriza za Baibuli ezisookerwako nga zinnyonnyoddwa mu ngeri ennyangu okutegeera.
Tuli bakakafu nti magazini eno eya Omunaala gw’Omukuumi ejja kweyongera okusikiriza abasomi abassa ekitiibwa mu Baibuli era abaagala okumanya kiki ddala ky’eyigiriza. Tusuubira nti magazini eno ejja kukuyamba okukkusa ennyonta gy’olina ey’okumanya amazima ga Baibuli.
ABAGIKUBA
[Obugambo obuli wansi]
a Magazini eyitibwa The Watchtower ejja kufulumanga emirundi ebiri. Magazini eneefulumanga nga 1 buli mwezi ejja kubanga ya bantu bonna. Ate eyo eneefulumanga nga 15 buli mwezi ejja kubangamu ebitundu eby’okusoma mu nkuŋŋaana z’ekibiina ez’Abajulirwa ba Yakuwa, era bonna abantu bonna baanirizibwa okuzibeeramu.