LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/1 lup. 4-5
  • Ekintu Bangi Kye Basaba Okwetooloola Ensi Yonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekintu Bangi Kye Basaba Okwetooloola Ensi Yonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • N’ab’Amadiini Amalala Bakisaba
  • Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu I
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • “Mukama Waffe, Tuyigirize Okusaba”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • “Obwakabaka Bwo Bujje”—Essaala Emanyiddwa Abantu Abangi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Ogoberera Ebyo Yesu Bye Yayigiriza ng’Osaba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/1 lup. 4-5

Ekintu Bangi Kye Basaba Okwetooloola Ensi Yonna

LOWOOZA ku bukadde n’obukadde bw’abantu nga bonna basaba ekintu kye kimu. Balina kye baagala oyo asingayo obuyinza mu butonde bwonna abakolere, naye nga kye basaba kyennyini batono nnyo ku bo abakitegeera. Ekintu ng’ekyo ddala kisoboka? Yee, mu butuufu kino kibaawo buli lunaku. Kiki abantu bano bonna kye basaba? Basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje!

Kiteeberezebwa nti waliwo amadiini nga 37,000 ageeyita Amakristaayo, nga gagamba nti Yesu Kristo ye Mukulembeze waago. Amadiini ago galimu abagoberezi abasukka mu buwumbi obubiri. Bangi ku bo basaba essaala etera okuyitibwa Kitaffe Ali mu Ggulu oba Essaala ya Mukama Waffe. Essaala eyo ogimanyi? Nga Yesu bwe yayigiriza abagoberezi be, etandika bw’eti: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”​—Matayo 6:9, 10.

Okumala ebyasa by’emyaka, abantu babadde baddiŋŋana ebigambo ebyo mu masinzizo gaabwe. Babadde babiddiŋŋana mu biseera ebirungi n’ebibi nga bali wamu ng’amaka era nga buli omu ali yekka. Babadde boogera ebigambo ebyo nga basaba n’omutima gwabwe gwonna. Abalala bangi baabikwata bukusu era babyogera bwogezi nga tebalowoozezza na ku makulu gaabyo. Abali mu madiini ageeyita Amakristaayo si be bokka abaagala era abasaba Obwakabaka bwa Katonda okujja.

N’ab’Amadiini Amalala Bakisaba

Essaala emanyiddwa ennyo yeeyo ab’enzikiriza y’Ekiyudaaya gye basaba buli lunaku oba nga bafiiriddwa. Wadde ng’ebigambo ebigirimu tebikwata nnyo ku kufa, etera okusabibwa mu biseera eby’okukungubaga. Essaala eyo egamba nti: “[Katonda] asseewo Obwakabaka bwe ng’okyali mulamu . . . , era mangu ddala.”a Essaala endala eyasabibwanga edda mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya nayo eyogera ku ssuubi ly’Obwakabaka bwa Masiya ow’ennyumba ya Dawudi.

Abalala abatali ba nzikiriza za Kikristaayo nabo Obwakabaka bwa Katonda babwagala. Okusinziira ku lupapula lw’amawulire oluyitibwa The Times of India, omukulembeze w’eddiini Omuyindi eyali omwatiikirivu mu kyasa ekya 19 eyali ayagala okukwanaganya eddiini y’Abahindu, ey’Abasiraamu n’ey’Abakristaayo yagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda obwa nnamaddala tebuyinza kubaawo okuggyako ng’abantu b’ebuvanjuba beegasse wamu n’ab’ebugwanjuba.” Ate ye Omukulu w’ettendekero ly’Abasiraamu eriri mu Strathfield, Australia, gye buvuddeko awo yawandiikira olupapula lw’amawulire n’agamba nti: “Okufaananako Abasiraamu bonna, nzikiriza [nti] Yesu ajja kudda okuteekawo Obwakabaka bwa Katonda obwa nnamaddala.”

Awatali kubuusabuusa, abantu abaagala era abasaba Obwakabaka bwa Katonda bujje batemera mu buwumbi. Naye lowooza ku kintu ekyewuunyisa.

Oyinza okuba ng’okimanyi nti ffe Abajulirwa ba Yakuwa, abakuba magazini eno, tugenda nju ku nju nga twogera n’abantu ku biri mu Baibuli. We tuwandiikidde bino ng’omulimu guno tugukola okwetooloola ensi mu mawanga 236 era mu nnimi ezisukka mu 400. Obwakabaka bwa Katonda gwe mutwe omukulu ogw’obubaka bwe tubuulira. Era weetegereze nti omutwe gwa magazini eno mu bujjuvu guli Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Tutera okubuuza abantu obanga basaba Obwakabaka obwo okujja. Bangi baddamu nti yee. Kyokka bwe tubabuuza nti Obwakabaka obwo kye ki, abasinga baddamu nti, “Simanyi,” oba oluusi kye baddamu kiba tekitegeerekeka era tebakyekakasa.

Kiva ku ki abantu abangi ennyo bwe batyo okusaba ekintu kye batategeera? Kiva ku kuba nti Obwakabaka bwa Katonda tebutegeerekeka? Nedda. Obwakabaka obwo bunnyonnyolwa bulungi mu Baibuli. Ate era obubaka obuli mu Baibuli obukwata ku Bwakabaka buyinza okukuwa essuubi erya nnamaddala mu nnaku zino enzibu. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba engeri Baibuli gy’ennyonnyola essuubi eryo. Oluvannyuma tujja kulaba ddi essaala eyo lw’en’eddibwamu.

[Obugambo obuli wansi]

a Okufaananako essaala ya Mukama waffe, essaala y’Abayudaaya eyo nayo eyogera ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda. Waliwo obutakkiriziganya obanga essaala y’Abayudaaya eyo yatandikibwawo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi oba nga tannajja, naye tekitwewuunyisa nti essaala ezo zombi zirina bye zifaanaganya. Yesu bwe yayigiriza essaala eyitibwa eya Mukama waffe, teyalina kigendererwa kya kutandikawo kintu kipya. Byonna ebiri mu ssaala eyo byesigamye ku Byawandiikibwa Abayudaaya bye baalina mu kiseera ekyo. Yesu yali akubiriza Bayudaaya banne okusaba ebintu bye bayinza okuba nga baali basaba nga tannaba na kujja ku nsi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share