“Obwakabaka Bwo Bujje”—Essaala Emanyiddwa Abantu Abangi
Wali osabyeko Obwakabaka bwa Katonda bujje? Okuva edda n’edda, abantu bukadde na bukadde bazze basaba nti, “Obwakabaka bwo bujje.” Lwaki basaba essaala eyo? Kubanga Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje.
Mu kusooka, abagoberezi ba Yesu baali tebamanyi byonna bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Lumu baabuuza Yesu nti: “Mukama waffe, ogenda kuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri mu kiseera kino?” Yesu teyabaddamu kibuuzo ekyo butereevu, era ekyo kiyinza okuba nga kyabeewuunyisa. (Ebikolwa 1:6, 7) Ekyo kitegeeza nti tetusobola kumanya bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, na ddi lwe bunajja? Si bwe kiri!
Akatabo kano kagenda kukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino:
Lwaki twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?
Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’ani?
Obwakabaka bwa Katonda bulitandika ddi okufuga ensi?
Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola?
Lwaki osaanidde okusalawo okuwagira Obwakabaka bwa Katonda kati?
Obwakabaka bwa Katonda kye ki?