LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 10/1 lup. 3
  • Lwaki Kikulu Okumanya Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Kikulu Okumanya Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • “Obwakabaka Bwo Bujje”—Essaala Emanyiddwa Abantu Abangi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 10/1 lup. 3
Abantu ab’omu mawanga ag’enjawulo nga bayiga ku Bwakabaka bwa Katonda

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBWAKABAKA BWA KATONDA​—BUNAAKUGANYULA BUTYA?

Lwaki Kikulu Okumanya Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?

Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.” (Matayo 6:10) Leero abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna basaba essaala eyo era bakkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okumalawo ebizibu byabwe.

Kyokka, wadde ng’abantu bangi baagala nnyo Obwakabaka bwa Katonda, amadiini agasinga obungi tegayigiriza bikwata ku Bwakabaka obwo. Munnabyafaayo ayitibwa H. G. Wells yawandiika nti Yesu “yassa nnyo essira ku njigiriza gye yayitanga Obwakabaka obw’Omu Ggulu” era yagattako nti enjigiriza eno “tetwalibwa ng’enkulu . . . mu madiini g’Ekikristaayo agasinga obungi.”

Obutafaananako amadiini ago, Abajulirwa ba Yakuwa bassa nnyo essira ku Bwakabaka bwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, akatabo kano k’osoma ke tusinga okukozesa, era kati kali mu nnimi 220. Buli mwezi tufulumya kopi z’akatabo kano ezikunukkiriza mu bukadde 46, era nga ke kakyasinze okubunyisibwa mu nsi yonna. Bubaka ki obukulu obuba mu katabo kano? Weetegereze omutwe oguli kungulu: Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa.a

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tussa nnyo essira ku kulangirira Obwakabaka bwa Katonda? Kubanga tukkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda gwe mulamwa gwa Bayibuli, ekitabo ekisinga okuba eky’omugaso mu nsi yonna. Okugatta ku ekyo, tukkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu.

Abajulirwa ba Yakuwa bassa essira ku Bwakabaka bwa Katonda olw’okuba ne Yesu bw’atyo bwe yakolanga. Yesu bwe yali ku nsi, Obwakabaka bwa Katonda bwe yali akulembeza mu bulamu bwe, era bwe yasinganga okwogerako ng’ayigiriza. (Lukka 4:43) Lwaki Yesu yali abutwala nga bukulu nnyo? Obwakabaka bwa Katonda bunaakuganyula butya? Soma ebitundu ebiddako olabe engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share