LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 10/1 lup. 4-7
  • Obwakabaka bwa Katonda—Lwaki Yesu Abutwala nga Bukulu Nnyo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obwakabaka bwa Katonda—Lwaki Yesu Abutwala nga Bukulu Nnyo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBWAKABAKA OBWO BUJJA KUTUKUZA ERINNYA LYA KATONDA
  • OBWAKABAKA BYE BUJJA OKUKOLERA ABANTU ABAKOLA KATONDA BY’AYAGALA
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yayagala Nnyo Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 10/1 lup. 4-7
Yesu ng’ayigiriza abagoberezi be ku Bwakabaka bwa Katonda

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBWAKABAKA BWA KATONDA​—BUNAAKUGANYULA BUTYA?

Obwakabaka Bwa Katonda Lwaki Yesu Abutwala nga Bukulu Nnyo?

Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abantu ebintu bingi. Ng’ekyokulabirako, yabayigiriza engeri y’okusabamu, engeri y’okukola ebyo ebisanyusa Katonda, n’engeri y’okufunamu essanyu erya nnamaddala. (Matayo 6:5-13; Makko 12:17; Lukka 11:28) Naye bwe yabanga ayigiriza yasinganga kwogera ku Bwakabaka bwa Katonda.​—Lukka 6:45.

Nga bwe tulabye mu kitundu ekisoose, Yesu essira yalissa ku ‘kubuulira n’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.’ (Lukka 8:1) Yatambulanga eŋŋendo empanvu mu Isiraeri ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka. Ebyo Yesu bye yayigiriza byawandiikibwa mu bitabo by’Enjiri ebina, era nga mu bitabo ebyo ekigambo “Obwakabaka” kirimu emirundi egisukka mu 100. Emirundi egisinga obungi ku egyo Yesu ye yakyogera, ate ng’ebimu ku ebyo bye yayogera ku Bwakabaka biyinza okuba nga tebyawandiikibwa.​—Yokaana 21:25.

Lwaki Yesu bwe yali ku nsi, Obwakabaka bwa Katonda yali abutwala nga bukulu nnyo? Yesu yali akimanyi nti Katonda yamulonda okuba omufuzi mu Bwakabaka obwo. (Isaaya 9:6; Lukka 22:28-30) Naye mu kuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka obwo Yesu yali teyeenoonyeza ttutumu oba kitiibwa. (Matayo 11:29; Makko 10:17, 18) Yesu yali ayagala nnyo Obwakabaka bwa Katonda, era akyabwagala nnyoa kubanga amanyi kye bujja okukolera Kitaawe ow’omu ggulu n’abagoberezi be abeesigwa.

OBWAKABAKA OBWO BUJJA KUTUKUZA ERINNYA LYA KATONDA

Yesu ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu. (Engero 8:30; Yokaana 14:31) Amwagala nnyo kubanga alina okwagala, wa kisa, era mwenkanya. (Ekyamateeka 32:4; Isaaya 49:15; 1 Yokaana 4:8) N’olwekyo, Yesu bw’awulira abagamba nti Katonda tafaayo ku bantu era nti ayagala tuboneebone, kiteekwa okuba kimuyisa bubi nnyo. Eno y’emu ku nsonga lwaki Yesu yabuulira n’obunyiikivu “amawulire amalungi ag’Obwakabaka.” Yali akimanyi nti ekiseera kijja kutuuka Obwakabaka butukuze erinnya lya Kitaawe. (Matayo 4:23; 6:9, 10) Ekyo bunaakikola butya?

Okuyitira mu Bwakabaka, Yakuwa ajja kuleeta enkyukakyuka ez’amaanyi ezijja okuganyula abantu. “Alisangula buli zziga” mu maaso g’abantu abakola by’ayagala. Yakuwa ajja kuggyawo ebintu ebireetera abantu okukaaba. Bayibuli egamba nti: “Tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Katonda ajja kuggyawo okubonaabona kwonna ng’akozesa Obwakabaka bwe.b

Eyo ye nsonga lwaki Yesu yabuulira nnyo abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda! Yali akimanyi nti okuyitira mu Bwakabaka obwo Kitaawe ajja kukiraga nti wa maanyi era nti musaasizi. (Yakobo 5:11) Ate era Yesu yali akimanyi nti bujja kuganyula nnyo abantu abakola Katonda by’ayagala.

OBWAKABAKA BYE BUJJA OKUKOLERA ABANTU ABAKOLA KATONDA BY’AYAGALA

Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yali abeera ne Kitaawe mu ggulu. Katonda yakozesa Omwana we, Yesu, okutonda ebintu byonna nga mw’otwalidde eggulu, emmunyeenye ezitabalika, ensi, awamu n’ebintu ebiramu ebigiriko. (Abakkolosaayi 1:15, 16) Ku bintu byonna ebyatondebwa, Yesu yasinga ‘kusanyukira’ bantu.​—Engero 8:31.

Yesu bwe yali wano ku nsi yakiraga nti ayagala nnyo abantu. Yagamba nti yajja okubuulira abantu “amawulire amalungi.” (Lukka 4:18) Naye Yesu teyakoma ku kwogera bwogezi nti yajja kuyamba bantu, naye alina bye yakola ebyalaga nti ayagala nnyo abantu. Ng’ekyokulabirako, ekibiina ky’abantu bwe kyakuŋŋaana okumuwuliriza ng’ayigiriza, Yesu ‘yabasaasira, n’awonya abalwadde baabwe.’ (Matayo 14:14) Lumu omusajja omugenge yagamba Yesu nti: “Mukama wange bw’oba oyagala, osobola okunnongoosa.” Mu ngeri ey’ekisa, Yesu yamugamba nti: “Njagala. Longooka.” (Lukka 5:12, 13) Yesu bwe yalaba Maliyamu ng’akaaba olw’okufiirwa mwannyina Laazaalo, Yesu ‘yanakuwala nnyo’ era “n’akaaba.” (Yokaana 11:32-36) Oluvannyuma Yesu yakola ekyamagero. Yazuukiza Laazaalo eyali amaze ennaku nnya mu ntaana!​—Yokaana 11:38-44.

Yesu yali akimanyi nti ebyo bye yakolera abantu abo byali bya kaseera buseera. Abo be yawonya bandizzeemu okulwala, n’abo be yazuukiza bandizzeemu okufa. Wadde kyali kityo, yali akimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalirawo ddala ebizibu byonna. Eyo ye nsonga lwaki Yesu teyakola byamagero byokka, naye era yabuulira n’obunyiikivu “amawulire amalungi ag’Obwakabaka.” (Matayo 9:35) Ebyamagero ebyo byali biraga bulazi ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaatera okukolera abantu mu nsi yonna. Ka tulabe ebimu ku ebyo bye bunaatera okukola.

  • Omusajja abadde omulema ng’awonyezeddwa

    Buli omu ajja kuba mulamu bulungi.

    “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne alyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba.” Okugatta ku ebyo, “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.”​—Isaaya 33:24; 35:5, 6.

  • Omuwala ng’azuukiziddwa

    Okufa tekulibaawo.

    “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

    ‘Alimirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amazima mu maaso gonna.’​—Isaaya 25:8.

  • Abafu bajja kuzuukira.

    ‘Bonna abali mu ntaana baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.’​—Yokaana 5:28, 29.

    “Wajja kubaawo okuzuukira.” ​—Ebikolwa 24:15.

  • Abantu nga bazimba ennyumba

    Buli muntu ajja kuba n’aw’okusula era n’omulimu.

    “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya . . . n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw’engalo zaabwe.”​—Isaaya 65:21, 22.

  • Abantu ab’omu mawanga ag’enjawulo nga bali bumu

    Entalo tezijja kubaawo.

    “Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.”​—Zabbuli 46:9.

    “Eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.” ​—Isaaya 2:4.

  • Abantu nga balina emmere ebamala

    Tewajja kubaawo bbula lya mmere.

    “Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.”​—Zabbuli 67:6.

    “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi ku nsi ku ntikko y’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

  • Tewajja kubaawo bwavu.

    “Abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna.”​—Zabbuli 9:18.

    “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga.”​—Zabbuli 72:12, 13.

Bw’olowooza ku bintu ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okutukolera, olaba ensonga lwaki Yesu abutwala nga bukulu nnyo? Yesu bwe yali wano ku nsi, yabuulira n’obunyiikivu ebikwata ku Bwakabaka obwo kubanga yali akimanyi nti bujja kuggyawo ebizibu byonna ebiriwo leero.

Oteekwa okuba ng’osanyuse nnyo okumanya ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okutukolera. Oyinza otya okuyiga ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka obwo? Kiki ky’osaanidde okukola okusobola okufuna emikisa egyo? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

a Yesu mulamu era ali mu ggulu. Okuva lwe yaddayo mu ggulu, Obwakabaka obwo akyabutwala nga bukulu nnyo.​—Lukka 24:51.

b Okumanya ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona, laba essuula 11 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share