LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 10/1 lup. 8-9
  • Obwakabaka bwa Katonda—Bunaakuganyula Butya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obwakabaka bwa Katonda—Bunaakuganyula Butya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Obwakabaka bwa Katonda—Lwaki Yesu Abutwala nga Bukulu Nnyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Salawo Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda Kati!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 10/1 lup. 8-9
Omwami ne mukyala we nga bayigirizibwa ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBWAKABAKA BWA KATONDA​—BUNAAKUGANYULA BUTYA?

Obwakabaka Bwa Katonda Bunaakuganyula Butya?

Mu bitundu ebivuddeko, oyinza okuba ng’okirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa bassa nnyo essira ku Bwakabaka bwa Katonda. Ate era oyinza okuba ng’okwatiddwako nnyo olw’ebyo Obwakabaka obwo bye bujja okutukolera. Naye oyinza okuba nga weebuuza nti: ‘Ddala ebisuubizo ebyo binaatuukirira?’

Si kirungi kumala gakkiriza buli kimu ky’oba owulidde. (Engero 14:15) Kiba kirungi okusooka okukola ekyo abantu ab’omu kibuga Beroyaa eky’edda kye baakola. Abantu abo bwe baabuulirwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka, tebaamala gakkiriza ebyo bye baawulira. Baasooka kwekenneenya Byawandiikibwa “okulaba obanga ebintu ebyo byali bituufu.” (Ebikolwa 17:11) Abantu b’omu Beroya baageraageranya amawulire amalungi ge baawulira n’ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba. Oluvannyuma, baakakasa nti amawulire amalungi ge baawulira gaali geesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.

Abajulirwa ba Yakuwa bakukubiriza okukola kye kimu. Tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere ne basobola okugeraageranya ebyo bye tukkiririzaamu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.

Bw’onooyiga Bayibuli tojja kukoma ku kuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, naye era ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo, gamba nga bino:

  • Twava wa?

  • Obulamu bulina kigendererwa ki?

  • Lwaki Katonda aleka abantu okubonaabona?

  • Abafu bali ludda wa, era bali mu mbeera ki?

  • Ensi eneezikirizibwa?

  • Kiki ekisobozesa amaka okubaamu essanyu?

N’ekisinga byonna, okuyiga Bayibuli kijja kukusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Yakobo 4:8) Gy’onookoma okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda, gy’ojja okukoma okulaba engeri Obwakabaka bwe gye bujja okukuganyulamu kati, n’emirembe gyonna. Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”​—Yokaana 17:3.

Abajulirwa ba Yakuwa basobola okukuyigiriza Bayibuli nga bakozesa akatabo kano.

Okusobola okufuna akuyigiriza Bayibuli ku bwereere, tuukirira omu ku Bajulirwa ba Yakuwa oba jjuzaamu foomu eri ku mukutu www.pr418.com. (Nga waakaggulawo omukutu ogwo nyiga ku bigambo, SABA OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI)

a Beroya kyali kibuga mu ssaza ly’e Makedoni.

Ayagala Nnyo Obwakabaka bwa Katonda

Folake

Gye buvuddeko, omuwala ow’emyaka ekkumi ayitibwa Folake yagambibwa okuwandiika emboozi eyalina omutwe ogugamba nti “Kye Nsinga Okwagala mu Nsi Eno.” Folake yasalawo okuwandiika ku nsonga lwaki ayagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

Folake yawandiika nti: “Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala. Naye tosobola kubulaba ne bw’oyambala gaalubindi!”

Folake era yawandiika ku bintu by’asinga okwesunga Obwakabaka bye bujja okukola. Ng’ayogera ku bimu ku bizibu Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okuggyawo, yawandiika nti: “Mpulira bubi nnyo bwe ndaba abantu abasula ku nguudo,” era “n’abaana abafa enjala mu nsi ezitali zimu.” Yagattako nti: “Naye kinsanyusa nnyo bwe nsoma Isaaya 65:21.” Olunyiriri olwo lwogera ku bantu abalibeera ku nsi ng’efugibwa Obwakabaka bwa Katonda, era lugamba nti: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu.”

Folake era yawandiika nti yeesunga ekiseera Katonda lw’aliggyawo endwadde zonna ng’akozesa Obwakabaka bwe. Yajuliza Okubikkulirwa 21:4 awagamba nti, Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi.” Ng’afundikira, Folake yakiggumiza nti okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa ne ku Bwakabaka bwe ky’asinga okwagala. Awatali kubuusabuusa, omuwala ono ayagala nnyo Obwakabaka bwa Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share