LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/1 lup. 5-6
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Katonda Atwetaagisa Ki?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/1 lup. 5-6

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

OBUBAKA Yesu bwe yabuulira bwalina mutwe ki omukulu? Okusinziira ku Yesu kennyini, omutwe ogwo gwali Bwakabaka bwa Katonda. (Lukka 4:43) Emirundi mingi abantu baamuwulira ng’ayogera ku Bwakabaka. Abantu baalabika ng’abatategeera kye eyali ayogerako? Baamubuuza nti Obwakabaka obwo kye ki? Nedda. Enjiri teziriimu bibuuzo ng’ebyo. Ekyo kitegeeza abantu baali bamanyi bulungi Obwakabaka bwa Katonda?

Ekituufu kiri nti Ebyawandiikibwa eby’edda Abayudaaya bye baali batwala ng’ebitukuvu byali binnyonnyola Obwakabaka obwo era nga biraga bulungi kye bujja okukola. Okufaananako Abayudaaya, naffe leero tusobola okuyiga ebisingako ku Bwakabaka nga tusoma Baibuli. Ka twetegereze ebintu musanvu Baibuli by’etuyigiriza ku Bwakabaka. Ebisatu ebisooka byali bimanyiddwa Abayudaaya ab’omu kiseera kya Yesu n’abo abaaliwo nga tannajja ku nsi. Ebisatu ebiddako byategeerwa okuyitira mu Kristo oba abatume be mu kyasa ekyasooka. Ekisembayo kitegeerekese mu kiseera kyaffe.

1. Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala ejja okubeerawo emirembe gyonna. Obunnabbi obwasooka mu Baibuli bwalaga nti Katonda yali wa kusindikira abantu abeesigwa omununuzi. Ono yayitibwa “ezzadde,” era yali wa kumalawo ebibi byonna n’okubonaabona ebyaleetebwawo obujeemu bwa Adamu, Kaawa, ne Setaani. (Olubereberye 3:15) Oluvannyuma lw’ekiseera, Kabaka Dawudi eyali omwesigwa yategeezebwa ekintu eky’essanyu ekikwata ku ‘zzadde’ lino, oba Masiya. Yali wa kuba Kabaka wa Bwakabaka. Obwakabaka obwo bwandibadde bwa njawulo ku bulala bwonna. Bwandibaddewo emirembe gyonna.​—2 Samwiri 7:12-14.

2. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna. Nnabbi Danyeri yayolesebwa engeri obufuzi kirimaanyi obuwerako gye bwandigenze buddiriŋŋana okuviira ddala mu kiseera kye okutuuka mu kiseera kyaffe. Weetegereze ekibaawo ku ntikko y’okwolesebwa okwo: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” N’olwekyo obwakabaka bwonna, oba gavumenti ez’ensi eno​—wamu n’entalo zaazo, okunyigiriza abantu, n’obulyi bw’enguzi​—zijja kuzikirizibwa emirembe gyonna. Ng’obunnabbi bwa Danyeri bwe bulaga, Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okufuga ensi yonna. (Danyeri 2:44, 45) Obwakabaka buno bwa ddala era ye gavumenti yokka ejja okusigalawo okufuga ensi emirembe gyonna.a

3. Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo entalo, obulwadde, ebbula ly’emmere n’okufa. Obunnabbi bwa Baibuli bulaga ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola wano ku nsi. Gavumenti eyo ejja kukola ekyo gavumenti z’abantu kye zitayinza kukola. Teeberezaamu​—ebyokulwanyisa byonna nga bizikiriziddwa emirembe gyonna! “Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Zabbuli 46:9) Tewajja kuba basawo, malwaliro, wadde obulwadde obw’engeri yonna. “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Wajja kuba tewakyali bbula lya mmere, ndya mbi, oba njala. “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi.” (Zabbuli 72:16) Tewajja kuba bya kuziika, kusula ku nnyimbe, biggya, mawanika, oba okukungubagira abafudde. Okufa, omulabe waffe asingayo obubi, kujja kumalibwawo emirembe gyonna. Katonda “[alimirira] ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna.”​—Isaaya 25:8.

4. Obwakabaka bwa Katonda bulina Omufuzi eyalondebwa Katonda. Masiya si ye yeeteekawo okuba omufuzi, era teyalondebwa bantu abatatuukiridde. Yakuwa Katonda kennyini ye yamulonda. Ebitiibwa Masiya ne Kristo byennyini biraga nti yalondebwa Katonda. Ebigambo ebyo byombi bitegeeza “Oyo Eyafukibwako Amafuta.” N’olwekyo Kabaka ono yafukibwako amafuta oba yalondebwa Yakuwa okukola omulimu gwe ogw’enjawulo. Katonda amwogerako bw’ati: “Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira: ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab’amawanga.” (Isaaya 42:1; Matayo 12:17, 18) Waliwo asinga Omutonzi waffe okumanya obulungi Omufuzi gwe twetaaga?

5. Omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda akiraze eri abantu bonna nti asaanidde. Yesu ow’e Nazaaleesi ye yali Masiya eyasuubizibwa. Yazaalibwa mu lunyiriri Katonda lwe yalonda. (Olubereberye 22:18; 1 Ebyomumirembe 17:11; Matayo 1:1) Bwe yali ku nsi, yatuukiriza obunnabbi bungi nnyo obukwata ku Masiya obwali bwawandiikibwa emyaka mingi nnyo emabega. Era waaliwo obukakafu okuva mu ggulu nti ye yali Masiya. Ekyo kyaliwo kitya? Katonda yayogera okuva mu ggulu ng’agamba nti Yesu ye Mwana we; bamalayika baakiraga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa; era Yesu yakola ebyamagero​—emirundi mingi mu maaso g’ebikumi oba enkumi z’abantu​—ekyo kyalagira ddala yali akozesa maanyi ga Katonda.b Enfunda n’enfunda, Yesu yalaga nti yandibadde Mufuzi mulungi. Ng’oggyeko okuba nti yalina obusobozi okuyamba abantu, yali ayagala okubayamba. (Matayo 8:1-3) Yali musaasizi, muvumu, mwetoowaze era nga teyeefaako yekka. Ebyo bye yakola mu bulamu bwe obw’oku nsi byawandiikibwa mu Baibuli bonna basobole okubisoma.

6. Abantu 144,000 ba kufugira wamu ne Kristo mu Bwakabaka bwa Katonda. Yesu yagamba nti waaliwo abalala abandifuze naye mu ggulu, nga muno mwe muli n’abatume be. Bano yabayita “ekisibo ekitono.” (Lukka 12:32) Ng’ekiseera kiyiseewo, omutume Yokaana yagambibwa nti bano ab’ekisibo ekitono baali ba kuwera 144,000. Bandibadde n’omulimu omulungi ddala mu ggulu, nga bafugira wamu ne Kristo nga bakabaka era bakabona.​—Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 3.

7. Obwakabaka bwa Katonda, kati obufuga mu ggulu, bunaatera okutandika okufuga ensi yonna. Ensonga eno esembayo ye emu ku bintu ebisingayo okuba eby’essanyu ebiri mu Baibuli. Baibuli ewa obukakafu bungi nti Yesu aweereddwa obuyinza okufuga nga Kabaka mu ggulu. Kati gy’ali afuga, era mangu ddala ajja kutandika okufuga ensi yonna atuukirize obunnabbi obw’ekitalo obwayogeddwako. Naye tukakasa tutya nti ddala Obwakabaka bwa Katonda kaakano bufuga? Era bunaatandika ddi okufuga ensi yonna?

[Obugambo obuli wansi]

a Obunnabbi nga buno butulaga nti Obwakabaka bwa Katonda si kintu ekiri mu mitima gyaffe, ng’abangi bwe bayigiriziddwa. Laba ekitundu “Abasomi Baffe Babuuza,” ku lupapula 13.

b Ng’ekyokulabirako, laba, Matayo 3:17; Lukka 2:10-14; Yokaana 6:5-14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share