Obwakabaka bwa Katonda Bunajja Ddi?
“MUKAMA waffe, mu biro bino mw’onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?” (Ebikolwa 1:6) Abatume baali baagala nnyo okumanya ddi Yesu lwe yanditaddewo Obwakabaka bwe. Leero, oluvannyuma lw’emyaka nga 2,000, abantu bakyayagala okumanya: Obwakabaka Katonda bunajja ddi?
Olw’okuba Obwakabaka gwe gwali omutwe omukulu ogw’okubuulira kwa Yesu, ekibuuzo ekyo twandimusuubidde okukiddamu. Era ddala yakiddamu! Yayogera bingi ku kiseera eky’enjawulo kye yayita “okubeerawo” kwe. (Matayo 24:37, NW) Okubeerawo kwe kuno kukwataganyizibwa n’okutandika kw’Obwakabaka bwa Masiya. Okubeerawo kuno kye ki? Ka twetegereze ebintu bina Baibuli by’eyogera ku kubeerawo kwa Kristo.
1. Okubeerawo kwa Kristo kwanditandise nga wayise ekiseera kiwanvu oluvannyuma lw’okufa kwe. Yesu yagera olugero ne yeeyogerako ng’omusajja “eyagenda mu nsi y’ewala, okulya obwakabaka.” (Lukka 19:12) Olugero olwo olw’obunnabbi lwatuukirizibwa lutya? Yesu yafa era n’azuukizibwa; awo n’agenda mu “nsi y’ewala,” mu ggulu. Nga Yesu bwe yalagula mu lugero olulala olufaananako n’olwo, yandikomyewo nga kabaka oluvannyuma ‘lw’ebiro ebingi.’—Matayo 25:19.
Emyaka bwe gyayitawo nga Yesu azzeeyo mu ggulu, omutume Pawulo yawandiika nti: “Oyo [Yesu] bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; ng’alindirira oluvannyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye.” (Abaebbulaniya 10:12, 13) N’olwekyo, Yesu bwe yaddayo mu ggulu, yamala ekiseera kiwanvu ng’alindirira. Ekiseera kyalwaddaaki ne kituuka Yakuwa Katonda n’afuula Omwana we Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya nga bwe yali yasuubiza. Okubeerawo kwa Kristo awo we kwatandikira. Ebintu bino eby’ekitalo abantu abali ku nsi bandibirabye?
2. Okubeerawo okwo tekusobola kulabibwa na maaso. Jjukira nti Yesu yayogera ku kabonero ak’okubeerawo kwe. (Matayo 24:3, NW) Singa abantu baali ba kulaba okubeerawo kwe n’amaaso gaabwe, akabonero kandibadde keetaagisa? Ng’ekyokulabirako: Kuba akafaananyi ng’oli mu kkubo ogenda kulaba nnyanja. Oyinza okusanga obubonero ku kkubo obukulagirira ennyanja gy’eri, naye bw’otuuka ku lubalama lwayo w’ogirabira obulungi, oba okyasuubira okulaba akabonero akalala akakulagirira ‘ennyanja’ gy’eri? N’akatono! Lwaki oba weetaaga akabonero okukulaga ekyo ky’osobola okwerabirako n’amaaso go?
Yesu bwe yawa abantu akabonero k’okubeerawo kwe, yali ababuulira ekintu ekyandibayambye okutegeera ebibaddewo mu ggulu bye batandisobodde kulaba na maaso gaabwe. Eno ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese.” (Lukka 17:20) Kati olwo, akabonero kandiraze katya abo abali ku nsi nti okubeerawo kwa Kristo kutandise?
3. Okubeerawo kwa Yesu kwanditegeereddwa ku bizibu eby’amaanyi ebyandibaddewo ku nsi. Yesu yagamba nti okubeerawo kwe nga Kabaka mu ggulu kwanditegeereddwa ku ntalo, enjala, ebikankano, kawumpuli, n’obumenyi bw’amateeka wano ku nsi. (Matayo 24:7-12; Lukka 21:10, 11) Kiki ekyandivuddeko okubonaabona kuno kwonna? Baibuli ennyonnyola nti Setaani, “omukulu w’ensi eno,” alina obusungu bungi kubanga akimanyi nti alina akaseera katono okuva okubeerawo kwa Kristo nga Kabaka bwe kwatandika. (Yokaana 12:31; Okubikkulirwa 12:9, 12) Mu kiseera kyaffe waliwo obukakafu bungi obulaga okubeerawo kwa Kristo era nti Setaani musunguwavu. Naddala okuva mu 1914, omwaka bannabyafaayo gwe bagamba nti gwaleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi, obukakafu buno bweyolese ku kigera ekitabangawo okwetooloola ensi.
Ebyo byonna biyinza okulabika ng’amawulire amabi, naye si bwe kiri. Bitegeeza nti Obwakabaka bwa Masiya kati bufuga mu ggulu. Mu bbanga eritali lya wala gavumenti eyo ejja kutandika okufuga ensi yonna. Naye abantu banditegedde batya ebikwata ku Bwakabaka obwo basobole okubukkiriza okubafuga?
4. Wandibaddewo okubuulira mu nsi yonna mu kiseera ky’okubeerawo kwa Yesu. Yesu yagamba nti okubeerawo kwe kwandibadde “ng’ennaku za Nuuwa” bwe zaali.a (Matayo 24:37-39) Nuuwa teyakoma ku kuzimba lyato; era yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Nuuwa yalabula abantu nti Katonda yali anaatera okuzikiriza ababi bonna. Yesu yagamba nti abagoberezi be ku nsi bandibadde bakola omulimu ng’ogwo mu kiseera ky’okubeerawo kwe. Yalagula nti: “N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14.
Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza gavumenti z’ensi eno zonna. Okubuulira kulabula abantu nti gavumenti eno ey’omu ggulu eneetera okubaako ky’ekolawo, era kino kibawa omukisa okuwonawo ng’ababi bazikirizibwa, n’okubeera wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka obwo. N’olwekyo ekyebuuzibwa kiri nti, Ggwe onookolawo ki?
Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda Ganaaba Mawulire Malungi gy’Oli?
Obubaka Yesu bwe yabuulira bwali buleeta essuubi eritenkanika. Emyaka mingi emabega ng’abantu abasooka bamaze okujeema mu Adeni, Yakuwa Katonda yateekateeka okussaawo gavumenti eyanditereezezza ebintu, n’eyamba abantu abeesigwa okudda mu mbeera Katonda gye yali abategekedde ku lubereberye—obulamu obutaggwawo mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi. Waliwo ekireeta essanyu okusinga okukimanya nti gavumenti eno eyasuubizibwa kati efuga mu ggulu? Gavumenti eyo si kirooto bulooto, wabula ya ddala!
Kaakano Kabaka Katonda gwe yalonda afugira wakati mu balabe be. (Zabbuli 110:2) Mu nsi eno ey’abantu abatatya Katonda, Masiya atuukiriza Kitaawe ky’ayagala ng’anoonya abo bonna abaagala okumanya ebikwata ku Katonda era n’okumusinza “mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Abantu aba buli ngeri okuva mu buli ggwanga, abato n’abakulu, basobola okuba n’essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda. (Ebikolwa 10:34, 35) Tukukubiriza okukozesa omukisa guno gw’olina. Yiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda osobole okubeera wansi w’obufuzi obwo obutuukiridde emirembe gyonna!—1 Yokaana 2:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti enkyusa za Baibuli ezimu zavvuunula bubi ekigambo “okubeerawo.” Ezimu zikivvuunula “okujja,” oba “okukomawo,” ng’ebigambo byombi biraga ekintu ekibaawo akaseera akatono. Kyokka weetegereze nti Yesu yageraageranya okubeerawo kwe ku “nnaku za Nuuwa,” nga kino kiseera, so si ku Mataba agaaliwo mu nnaku za Nuuwa, ekintu ekyaliwo mu nnaku ezo. Okufaananako ebiro ebyo eby’edda, okubeerawo kwa Kristo kyandibadde kiseera abantu mwe bandyemalidde ennyo ku bintu by’obulamu buno ne batafaayo ku kulabula.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8, 9]
Amawulire amabi ge tuwulira buli lunaku gawa obukakafu nti ebintu ebirungi binaatera okujja
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Antiaircraft gun: U.S. Army photo