LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 2/15 lup. 21-25
  • Okubeerawo kwa Kristo Kulina Makulu Ki gy’Oli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubeerawo kwa Kristo Kulina Makulu Ki gy’Oli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kiseera Kiwanvu
  • Okutegeera Akabonero
  • Omulembe Ogulaba Akabonero
  • “Mubeere Bulindaala”
  • Obwakabaka bwa Katonda Bunajja Ddi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Abatume Bamusaba Ababuulire Akabonero
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 2/15 lup. 21-25

Okubeerawo kwa Kristo Kulina Makulu Ki gy’Oli?

“Kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno?”​—MAT. 24:3, NW.

1. Kibuuzo ki abatume ba Yesu kye baamubuuza?

EMYAKA nga nkumi bbiri egiyise, abatume ba Yesu bana balina ekibuuzo kye baamubuuza nga bali naye ku Lusozi olwa Zeyituuni. Baamubuuza nti: “Ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno?” (Mat. 24:3, NW) Mu kibuuzo ekyo, abatume baayogera ku ‘kubeerawo kwe’ era ne ku ‘mafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno.’ Ebintu ebyo bitegeeza ki?

2. Makulu ki agali mu kigambo “amafundikira”?

2 Nga tutandika n’ekisembayo, weetegereze ekigambo “amafundikira” ekivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani syn·teʹlei·a. Mu New World Translation, ekigambo kino kyavvuunulwa “amafundikira” buli we kisangibwa, so ng’ate ekigambo ekirala eky’Oluyonaani te’los ekikifaananako, kyo, kyavvuunulwa “enkomerero.” Okutuyamba okutegeera obulungi enjawulo eriwo wakati w’ebigambo bino, tuyinza okulowooza ku mboozi ng’eweebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Amafundikira g’emboozi kye kitundu ekisembayo, omwogezi mw’ajjukiriza abamuwuliriza ebintu by’ayogeddeko era n’abalaga engeri gye bibakwatako. Enkomerero y’emboozi etuuka omwogezi bw’ava ku pulatifoomu. Mu ngeri y’emu, okusinziira ku Baibuli, ebigambo “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno” kye kiseera ekibaawo ng’enkomerero eneetera okutuuka, era nga n’enkomerero yennyini nayo etwalirwamu.

3. Ebimu ku bintu ebibaawo mu kiseera ky’okubeerawo kwa Yesu bye biruwa?

3 Ate “okubeerawo” abatume kwe baabuuzaako kwe kuluwa? Ekigambo kino kyavvuunulwa okuva mu ky’Oluyonaani pa·rou·siʹa.a Okubeerawo kwa Kristo (pa·rou·siʹa) kwatandika mu 1914 Yesu bwe yafuuka Kabaka mu ggulu era kwa kugenda mu maaso okutuusiza ddala mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ Yesu mw’anaazikiririza ababi. (Mat. 24:21) Ebintu bingi eby’enjawulo bibaawo mu kiseera eky’okubeerawo era nga mu ebyo mwe muli ‘n’ennaku ez’oluvannyuma’ ez’enteekateeka y’ebintu eno embi, okukuŋŋanya abalonde, era n’okubazuukiza okugenda mu ggulu. (2 Tim. 3:1; 1 Kol. 15:23; 1 Bas. 4:15-17; 2 Bas. 2:1) Kiyinza okugambibwa nti ‘amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno’ (syn·teʹlei·a) gabaawo mu kiseera kye kimu n’okubeerawo kwa Kristo (pa·rou·siʹa).

Kiseera Kiwanvu

4. Okubeerawo kwa Yesu kugeraageranyizibwa kutya ku ebyo ebyaliwo mu nnaku za Nuuwa?

4 Eky’okuba nti ekigambo pa·rou·siʹa kikwataganyizibwa na kiseera kiwanvu kituukagana n‘ekyo Yesu kye yayogera ku kubeerawo kwe. (Soma Matayo 24:37-39.) Weetegereze nti okubeerawo kwe, Yesu teyakugeraageranya ku kiseera ekimpimpi Amataba we gajjira mu nnaku za Nuuwa. Wabula, yakugeraageranya ku kiseera ekiwanvu ddala ekyasookawo Amataba galyoke gajje. Mu kiseera ekyo mwe mwali omulimu gwa Nuuwa ogw’okuzimba eryato n’okubuulira, okutuukira ddala Amataba lwe gajja. Ebyo byonna byatwala emyaka mingi. Mu ngeri y’emu, ekiseera ky’okubeerawo kwa Kristo kibaamu ebintu eby’enjawulo ebibaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatuuka ate era kizingiramu n’ekibonyoobonyo ekyo.​—2 Bas. 1:6-9.

5. Okubikkulirwa essuula 6 eraga etya nti okubeerawo kwa Yesu kiba kiseera kiwanvu?

5 Obunnabbi obulala obuli mu Baibuli bukiraga bulungi nti okubeerawo kwa Kristo kukwataganyizibwa kiseera kiwanvu, so si awo wokka w’ajjira okuzikiriza ababi. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga Yesu nga yeebagadde embalaasi enjeru era ng’aweebwa engule. (Soma Okubikkulirwa 6:1-8, NW.) Bw’amala okufuuka Kabaka mu 1914, Baibuli eraga nti Yesu ‘agenda awangula, era atuukire ddala ku buwanguzi.’ Ebyawandiikibwa biraga nti agobererwa abeebagazi abalala ab’embalaasi eza langi ez’enjawulo. Abeebagazi bano bakiikirira entalo, enjala, ne kawumpuli, nga bino byonna bibaddewo mu kiseera ekiwanvu ekiyitibwa “ennaku ez’oluvannyuma.” Obunnabbi buno tubulaba nga butuukirizibwa mu kiseera kyaffe.

6. Okubikkulirwa essuula 12 etuyamba kutegeera ki ku kubeerawo kwa Kristo?

6 Okubikkulirwa essuula 12 eraga ebirala ebibaawo ng’Obwakabaka bwa Katonda buteekebwawo mu ggulu. Mu ssuula eyo tusoma ku lutalo olubalukawo mu ggulu. Mikaeri​—Yesu Kristo mu kitiibwa kye eky’omu ggulu​—ne bamalayika be balwanyisa Setaani ne badayimooni be. Ekivaamu, Setaani ne badayimooni basuulibwa ku nsi. Ng’ekyo kimaze okubaawo ebyawandiikibwa bitutegeeza nti Omulyolyomi aba n’obusungu bungi “ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” (Soma Okubikkulirwa 12:7-12.) N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti okuteekebwawo kw’Obwakabaka bwa Kristo mu ggulu kuddirirwa ekiseera eky’ebizibu eby’amaanyi ennyo eri ensi n’abo abagituulamu.

7. Zabbuli ey’okubiri erimu bunnabbi ki, era baani abaweebwa akakisa?

7 Ne zabbuli ey’okubiri erimu obunnabbi obwogera ku Yesu okufuulibwa Kabaka ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu. (Soma Zabbuli 2:5-9; 110:1, 2.) Kyokka, zabbuli eno era eraga nti abafuzi b’ensi n’abo be bafuga baweebwa omukisa okukkiriza obufuzi bwa Kristo. Bakubirizibwa ‘okubeera n’amagezi’ era bakkirize ‘okuyiga.’ Yee, mu kiseera ekyo, ‘baba ba mukisa bonna abeeyuna Katonda’ nga baweereza Yakuwa ne Kabaka gwe yalonda. N’olwekyo, mu kiseera ky’okubeerawo kwa Yesu nga Kabaka, akakisa kabaawo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.​—Zab. 2:10-12.

Okutegeera Akabonero

8, 9. Baani abanditegedde akabonero k’okubeerawo kwa Kristo n’amakulu gaako?

8 Abafalisaayo bwe baabuuza Yesu ddi Obwakabaka lwe bwandizze, yabaddamu nti tebwandizze nga “bweyolese” nga bwe baali basuubira. (Luk. 17:20, 21) Abatali bakkiriza tebanditegedde. Ye ate banditegedde batya? Baagaana n’okukkiriza nti Yesu ye yali ajja okuba Kabaka waabwe. Kati olwo baani abanditegedde akabonero k’okubeerawo kwa Kristo n’amakulu gaako?

9 Yesu yagamba nti akabonero ako abayigirizwa be bandikalabye bulungi nnyo nga bwe bandirabye ‘okumyansa kw’eggulu, okumyansiza ku luuyi olumu olw’eggulu, ate ne kumasamasiza ku luuyi olulala.’ (Soma Lukka 17:24-29.) Matayo 24:23-27 nawo wakwataganya ekintu kye kimu n’akabonero k’okubeerawo kwa Kristo.

Omulembe Ogulaba Akabonero

10, 11. (a) Ekigambo “omulembe” ekiri mu Matayo 24:34 (NW) kyannyonnyolwa kitya emabegako? (b) Awatali kubuusabuusa, abayigirizwa ba Yesu baakitegeera nti baani abandibadde mu ‘mulembe’ ogwo?

10 Emabegako, magazini eno yannyonnyola nti mu kyasa ekyasooka, “omulembe guno” ogwogerwako mu Matayo 24:34 (NW ) be “Bayudaaya abataali bakkiriza abaaliwo mu kiseera ekyo.”b Ennyinnyonnyola eyo yali erabika nti etuukirawo kubanga emirundi emirala gyonna Yesu gye yakozesa ekigambo “omulembe,” be yali ayogera baali babi era ng’emirundi egisinga yayongerezangako ekigambo ‘omubi’ ng’ayogera ku mulembe ogwo. (Mat. 12:39; 17:17; Mak. 8:38) Eyo ye nsonga lwaki kyalowoozebwa nti omulembe Yesu gwe yali ayogerako, mu kiseera kyaffe gwe mulembe gw’abantu abatakkiriza ogwandirabye ebintu ebyandibaddewo mu ‘mafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno’ (syn·teʹlei·a) era ogwandibaddewo ng’enkomerero (teʹlos) y’enteekateeka eno etuuse.

11 Kituufu nti Yesu bwe yakozesanga ekigambo “omulembe” ng’agwogerako bubi, yalinga ayogera ku bantu ababi ab’omu kiseera kye oba ng’ayogera nabo butereevu. Naye bwe kityo bwe kiri ne mu Matayo 24:34 (NW)? Jjukira nti awo abayigirizwa ba Yesu bana baali bamutuukiridde okwogerako naye mu “kyama.” (Mat. 24:3) Okuva bwe kiri nti Yesu bwe yali ayogera nabo ku ‘mulembe guno’ teyagwogerako bubi, awatali kubuusabuusa abatume abo baakitegeera nti bo ne bayigirizwa bannaabwe bandibadde mu ‘mulembe’ ogutandiweddewo ‘okutuusa ebyo byonna lwe byandibaddewo.’

12. Ennyiriri eziriraanyewo ziraga zitya abo Yesu be yali ayogerako bwe yakozesa ekigambo “omulembe”?

12 Tusinziira ku ki okugamba tutyo? Tusinziira ku nnyiriri eziriraanyeewo. Mu Matayo 24:32, 33 Yesu yagamba nti: “Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng’omwaka guli kumpi; bwe mutyo nammwe, bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi.” (Geraageranya Makko 13:28-30; Lukka 21:30-32.) Mu Matayo 24:34 (NW) tusoma nti: “Mazima ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.”

13, 14. Lwaki tusobola okugamba nti Yesu bwe yayogera ku ‘mulembe,’ ateekwa okuba nga yali ayogera ku bayigirizwa be?

13 Yesu yakiraga nti abayigirizwa be abaali banaatera okufukibwako omwoyo omutukuvu be bandirabye “ebintu ebyo byonna” nga bibaawo ne babitegeera. N’olwekyo Yesu ateekwa okuba nga yali ayogera ku bayigirizwa be bwe yagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.”

14 Obutafaananako batali bakkiriza, abayigirizwa ba Yesu tebandikomye ku kulaba bulabi kabonero naye era bandikategedde. ‘Bandiyigidde’ ku biri mu kabonero ako era ne ‘bategeera’ amakulu gaabyo. Banditegeeredde ddala nti “ali kumpi, ku luggi.” Kituufu nti Abayudaaya abataali bakkiriza awamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta baaliwo ng’ebigambo bya Yesu ebimu bituukirizibwa mu kyasa ekyasooka, naye abaafukibwako amafuta bokka be baali basobola okutegeera amakulu g’ebyo bye baalaba.

15. (a) “Omulembe” Yesu gwe yayogerako be baani mu kiseera kyaffe? (b) Lwaki tetusobola kubalirira buwanvu bwa ‘mulembe’ ogwo? (Laba akasanduuko akali ku lupapula 25.)

15 Leero abo abatategeera bya mwoyo balowooza nti akabonero k’okubeerawo kwa Yesu tekannaba ‘kweyoleka.’ Bagamba nti ebintu biringa bwe byali okuva edda. (2 Peet. 3:4) Kyokka bo baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta, ab’ekibiina kya Yokaana ab’omu kiseera kyaffe, basobodde okulaba akabonero kano nga bwe bandirabye ekimyanso kya laddu, era bategedde amakulu gaako. Ekibiina ky’abaafukibwako amafuta gwe ‘mulembe’ oguliwo kaakano ogutaliggwawo okutuusa “ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.”c Kino kiraga nti abamu ku baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta bajja kuba bakyali balamu ku nsi ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira.

“Mubeere Bulindaala”

16. Abayigirizwa ba Kristo bonna bateekwa kukola ki?

16 Kyokka okutegeera akabonero ku bwakyo tekimala. Yesu yagamba nti: “Kye mbuulira mmwe nkibuulira bonna, Mubeere bulindaala.” (Mak. 13:37, NW) Kino kikulu nnyo gye tuli ffenna, ka tube nga twafukibwako amafuta oba nga tuli ba kibiina ekinene. Bukya Yesu afuuka Kabaka mu ggulu mu 1914, kati wayiseewo emyaka egisukka mu 90. Wadde nga si kyangu, tulina okuba abeetegefu era tulina okubeera obulindaala. Okukitegeera nti kati Kristo afuga nga Kabaka wadde nga tetumulaba kijja kutuyamba okukola ekyo. Era kitujjukiza nti anaatera okujja okuzikiriza abalabe be ‘mu kiseera kye tutamusuubira.’​—Luk. 12:40.

17. Okutegeera kuno kutuyamba kutya, era twandibadde bamalirivu kukola ki?

17 Okuteegera amakulu g’okubeerawo kwa Kristo kituyamba okukirabira ddala nti ekiseera ekisigaddeyo kitono. Tukimanyi nti Yesu kaakano waali era nti abadde afuga nga Kabaka mu ggulu okuva mu 1914 wadde nga tetumulaba. Mangu ddala ajja kuzikiriza abajeemu aleetewo enkyukakyuka ez’amaanyi mu nsi yonna. N’olwekyo twandibadde bamalirivu okusinga bwe kyali kibadde okukola omulimu Yesu gwe yatulekera bwe yagamba nti: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Mat. 24:14.

[Obugambo obuli wansi]

a Enjawulo eriwo wakati ‘w’okubeerawo’ kw’omutume Pawulo era ‘n’obutabeerawo’ bwe ebyogerwako mu 2 Abakkolinso 10:10, 11 ne Abafiripi 2:12 eraga bulungi amakulu g’ekigambo pa·rou·siʹa. Okumanya ebisingawo, laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 676-9.

b Laba The Watchtower eya Noovemba 1, 1995, olupapula 11-15, 19, 30, 31.

c Ekiseera “omulembe guno” we gubeererawo kirabika kye kimu n’ekyo okwolesebwa okusooka okw’omu kitabo ky’Okubikkulirwa mwe kutuukiririzibwa. (Kub. 1:10–3:22) Okwolesebwa okwo kwatandika okutuukirizibwa mu 1914 era kwa kukoma ng’asembayo ku baafukibwako amafuta afudde era n’azuukizibwa.​—Laba Revelation​—Its Grand Climax At Hand! olupapula 24, akatundu 4.

Wandizzeemu Otya?

• Tumanya tutya nti okubeerawo kwa Yesu kiseera kiwanvu?

• Baani abategeera akabonero k’okubeerawo kwa Yesu n’amakulu gaako?

• Omulembe ogwogerwako mu Matayo 24:34 (NW) mu kiseera kyaffe be baani?

• Lwaki tetusobola kubalirira buwanvu bwa ‘mulembe guno’?

[Akasanduuko akali ku lupapula 25]

Tusobola Okubalirira Obuwanvu ‘bw’Omulembe Guno’?

Ekigambo “omulembe” kitera okutegeeza abantu ab’emyaka egy’enjawulo ababeerawo mu kiseera ekimu. Ng’ekyokulabirako, Okuva 1:6 (NW) watugamba nti: ‘Yusufu n’afa, ne baganda be bonna, n’omulembe ogwo gwonna.’ Yusufu ne baganda be baalina emyaka gya njawulo, naye baaliwo mu kiseera kye kimu. ‘Omulembe ogwo gwonna’ gwali guzingiramu abamu ku baganda ba Yusufu abaazaalibwa nga ye tannaba. Abamu ku bo baawangala okusinga Yusufu. (Lub. 50:24) Abalala, ‘ab’omulembe ogwo’ nga Benyamini, baazaalibwa Yusufu amaze okuzaalibwa era Yusufu ayinza okuba ye yabasooka okufa.

N’olwekyo ekigambo “omulembe” bwe kikozesebwa ku bantu ababa baliwo mu kiseera ekimu, obuwanvu bw’ekiseera ekyo buba tebusobola kumanyibwa ate era ekiseera ekyo kibaako we kikoma naye tekiba kiwanvu kisukkiridde. N’olwekyo, Yesu bwe yakozesa ebigambo “omulembe guno” mu Matayo 24:34 (NW) yali tawa bayigirizwa be ngeri yakubaliriramu ddi ‘ennaku ez’oluvannyuma’ lwe zandikomye. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yakiggumiza nti tebanditegedde “lunaku luli n’ekiseera.”​—2 Tim. 3:1; Mat. 24:36.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22, 23]

Oluvannyuma lw’okufuuka Kabaka mu 1914, Yesu ayogerwako ng’oyo ‘awangula’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

“Omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share