“Wandizzeemu Otya?”
1. Buzibu ki abangi ku ffe bwe twolekagana nabwo?
1 Oyagala Ekigambo kya Katonda naye okisanga nga kizibu okujjukira ebikirimu oba wa wenyini w’oyinza okusanga ebintu ebimu ebyogerwako mu Baibuli? Wandyagadde abaana bo okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli ezisookerwako? Ebiri wansi w’omutwe ogugamba nti “Wandizzeemu Otya?” oguli ku lupapula 31 olwa buli Awake! efulumizibwa, bisobola okuyamba abato n’abakulu okweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda.—Bik. 17:11.
2. Ebitundu eby’enjawulo ebiri wansi w’omutwe “Wandizzeemu Otya?” biyinza kukozesebwa bitya?
2 Osobola otya okukozesa obulungi ebiri wansi w’omutwe ogwo? Awake! eya Jjanwali 2006 yawa ebirowoozo bino wammanga: “Waayo akaseera weekenneenye ebyo ebiri ku lupapula 31 . . . Ebitundu ebimu ebiri ku lupapula luno bijja kunyumira nnyo abaana abato; ate ebirala biyinza okusoomooza abo abamaze ebbanga nga basoma Baibuli. Ekitundu ekirina omutwe ‘Ddi lwe Kyaliwo?’ kijja kukuyamba okumanya ddi abantu aboogerwako mu Baibuli we baabeererawo era n’ekiseera ebintu ebikulu lwe byaliwo. Wadde ng’eby’okuddamu mu kitundu ekigamba nti ‘Ebiri mu Katabo Kano’ bisangibwa mu magazini yonna, eby’okuddamu mu bibuuzo ebisinga obungi bisangibwa ku lupapula oluba lulagiddwa oluli mu magazini eyo yennyini, nga biri mu kasanduuko era nga bivuunikiddwa. Lwaki tokola okunoonyereza nga tonnasoma bya kuddamu ebyo, ate oluvannyuma by’oyize obikubaganyeeko ebirowoozo n’abalala? Ebyo ebiri wansi w’omutwe guno omuppya ogugamba nti ‘Wandizzeemu Otya?’ oyinza n’okubikozesa mu kusoma kwammwe okw’amaka oba okubikubaganyaako ebirowoozo n’abalala.”
3. Ebiri wansi w’omutwe guno biganyudde bitya amaka agamu, era gwe bitundu ki ebisinga okukunyumira?
3 Mazima ddala, ab’oluganda bangi banyumirwa okukozesa ekitundu kino mu kusoma kwabwe okw’amaka. Maama omu agamba bw’ati: “Nze n’omwami wange twakiraba nti okusoma kwaffe okw’amaka okusobola okunyumira muwala waffe ow’emyaka essatu, kyandibadde kirungi ne tukozesa n’ebyo ebiri mu kitundu ekigamba nti ‘Ebifaananyi Ebinoonyezebwa Abaana Abato.’ Tunyumirwa nnyo bwe tumulaba ng’asanyuse era ng’anoonya ekifaananyi ky’ayagala mu magazini ye eya Awake! okutuusa lw’akiraba.” Taata omu mu Brazil agamba: “Nze ne mutabani wange ow’emyaka omusanvu twagala nnyo ebyo ebiri ku lupapula 31 mu Awake! Biyambye nnyo Moises okussaayo omwoyo, okubikkula Ebyawandiikibwa, okutegeera ebifaananyi ebirimu, n’ekiseera ebintu ebiragiddwa lwe byabeererawo.” Ashley, ow’emyaka omunaana agamba: “Mbebaza nnyo olw’ekitundu ekirina omutwe ‘Wandizzeemu Otya?’ ekiri ku lupapula 31 mu Awake! Njiga bingi ebikwata ku Baibuli okuva mu kitundu ekyo.”
4. Ekitundu kino kiyinza kitya okukozesebwa mu kuyiga kw’amaka?
4 Lwaki tolowooza ku ky’okutandika okukozesa ebiri wansi w’omutwe ogugamba nti “Wandizzeemu Otya?” ng’ekimu ku by’okukozesa mu kusoma kwammwe okw’amaka? Muyinza okukozesa Index oba Watchtower Library eri ku CD-ROM bw’eba nga weeri, okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo ebimu ebizibu ennyo. Bw’okola bw’otyo, ojja kuba oyigiriza abaana bo okunoonyereza. Bw’oba ng’olina abaana abakuzeemu, lwaki tobawa buvunaanyizibwa obw’okunoonya eby’okuddamu mu kibuuzo “Nze Ani?” oba “Ddi lwe Kyaliwo?” ng’okusoma kw’amaka tekunnatandika? Oluvannyuma, ebyo bye baba baafunye mu kunoonyereza kwabwe bayinza okubyogerako mu kusoma kw’amaka. Abazadde bwe bakozesa obulungi ekitundu kino, kijja kubasobozesa okuyigiriza abaana baabwe Ekigambo kya Katonda era babayambe okumanya “ebyawandiikibwa ebitukuvu” okuviira ddala nga bakyali bato.—2 Tim. 3:15; Ma. 6:7.