Kozesa (1) Ekibuuzo, (2) Ekyawandiikibwa, ne (3) Essuula
Engeri ennyangu ey’okugabamu akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kwe kuba nti nnyinimu (1) omubuuzaayo ekibuuzo ekimuyamba okwoleka endowooza ye (2) omusomerayo ekyawandiikibwa ekituukirawo, era (3) n’omubikkulira essuula eyogera ku nsonga eyo omusomere ebibuuzo ebiri ku ntandikwa y’essuula. Nnyinimu bw’aba ayagala okumanya ebisingawo, mulage engeri gye tuyigamu Baibuli ng’okozesa obutundu obusooka mu ssuula eyo. Enkola eno eyinza okukozesebwa okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ku mulundi gw’osookedde ddala okwogera naye oba ng’ozzeeyo okumukyalira.
◼ “Olowooza kisoboka abantu obuntu okumanya Omutonzi waabwe, nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa kino?” Soma Ebikolwa 17:26, 27, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma, bikkula essuula esooka.
◼ “Okusinziira ku bizibu ebiriwo leero, olowooza kisoboka okufuna essuubi n’essanyu ebyogerwako wano?” Soma Abaruumi 15:4, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma, bikkula essuula eyokubiri.
◼ “Singa wali osobola, wandireseewo enkyukakyuka zino?” Soma Okubikkulirwa 21:4, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula eyokusatu.
◼ “Olowooza ekiseera kirituuka abaana baffe ne babeerako mu mbeera ng’eno eyogerwako mu luyimba luno olw’edda?” Soma Zabbuli 37:10, 11, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula eyokusatu.
◼ “Olowooza ekiseera kirituuka ebigambo bino ne bituukirira?” Soma Isaaya 33:24, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula eyokusatu.
◼ “Wali weebuuzizzaako oba nga abafu bamanyi abalamu bye bakola?” Muleke abeeko kyaddamu. Oluvannyuma soma Omubuulizi 9:5, era bikkula ku ssuula ey’omukaaga.
◼ “Olowooza kirisoboka okuddamu okulaba ku baagalwa baffe abaafa, nga bwe kiri mu bigambo bya Yesu ebiri mu nnyiriri zino?” Soma Yokaana 5:28, 29, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula ey’omusanvu.
◼ “Olowooza kirisoboka kitya Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu, nga bwe kiri mu ssaala eno?” Soma Matayo 6:9, 10, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula ey’omunaana.
◼ “Olowooza ebiseera ebyogerwako mu bunnabbi buno si bye tulimu?” Soma 2 Timoseewo 3:1-4, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula ey’omwenda.
◼ “Abantu bangi beebuuza ensonga lwaki ebizibu byeyongera bweyongezi. Olowooza ebyo ebyogerwako mu kyawandiikibwa kino si bye bibiviiriddeko okweyongera?” Soma Okubikkulirwa 12:9, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula ey’ekkumi.
◼ “Wali weebuuzizzaako ku kibuuzo nga kino?” Soma Yobu 21:7, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula 11.
◼ “Olowooza okussa mu nkola amagezi agali mu kyawandiikibwa kino tekiyinza kuyamba abantu okunyumirwa obulamu obw’amaka?” Soma Abaefeso 5:33, era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma bikkula essuula 14.
Bw’osoma n’omuntu emirundi ebiri, era ng’oli mukakafu nti ajja kweyongera okuyiga Baibuli, oyinza okuwaayo alipoota emukwatako.