Engeri y’Okugabamu Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
Olupapula luno luliko ebirowoozo eby’enjawulo bye tuyinza okukozesa nga tugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Okusobola okubikozesa obulungi, biteeke mu bigambo byo, bituukanye n’abantu ab’omu kitundu kyo, bikwataganye n’ensonga eziri mu katabo z’oyagala okukubaganyako ebirowoozo n’abantu. Muyinza n’okukozesa ennyanjula endala ezituukirawo mu kitundu kyammwe.—Laba Obuweereza Bwaffe aka Jjanwali 2005 ku lup. 8.
Kalumagedoni
◼ “Abantu bangi bwe bawulira ekigambo ‘Kalumagedoni,’ balowooza ku kutta okw’ekikungo. Naye kyandikwewuunyisizza okumanya nti Kalumagedoni lwe lunaku lwe tusaanidde okwesunga? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 16:14, 16.] Weetegereze ebigambo bino ebiraga engeri obulamu gye bunaabaamu oluvannyuma lwa Kalumagedoni.” Genda ku lupapula 82-4, era osome akatundu 21.
Baibuli
◼ “Abantu Baibuli bagiyita Ekigambo kya Katonda. Ggwe wali weebuuzizzaako ensonga lwaki ekitabo ekyawandiikibwa abantu kiyitibwa Ekigambo kya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 2 Peetero 1:21 n’ebyo ebiri ku katundu 5 ku lupapula 19-20.] Akatabo kano kawa eby’okuddamu ebyesigamiziddwa ku Baibuli.” Mulage ebibuuzo ebiri ku lupapula 6.
◼ “Ennaku zino abantu basobola okuyiga ebintu bingi okusinga bwe kyali kibadde. Naye olowooza wa we tuyinza okufuna amagezi agayinza okutuyamba okuba n’obulamu obulungi era obw’essanyu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 2 Timoseewo 3:16, 17 n’akatundu 12 ku lupapula 23.] Akatabo kano kannyonnyola engeri gye tuyinza okuba n’empisa ezisanyusa Katonda era ne n’emiganyulo gye tufunamu.” Mulage ekipande ekiri ku lupapula 122 n’ekifaananyi ekiri ku lupapula 123.
Okufa/Okuzuukira
◼ “Abantu bangi beebuuza ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde. Olowooza kisoboka okukitegeera? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Omubuulizi 9:5 obutundu 5 ne 6 obuli ku lupapula 58.] Akatabo kano koogera ne ku kuzuukira.” Mulage ebifaananyi ebiri ku lupapula 75.
◼ “Omwagalwa wo bw’afa, oba oyagala okuddamu okumulaba. Si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi babudaabudiddwa ebigambo bya Yesu bino ebikwata ku kuzuukira. [Soma Yokaana 5:28, 29 n’ebyo ebiri ku mpapula 71-2, obutundu 16-17.] Essuula eno eddamu n’ebibuuzo bino.” Mulage ebibuuzo ebiri waggulu ku lupapula 66.
Obulamu Obutaggwaawo
◼ “Abantu abasinga obungi baagala obulamu obulungi n’okuwangaala. Naye singa kyali kisoboka okubaawo emirembe gyonna, ekyo ggwe tewandikyagadde? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 21:3, 4 n’akatundu 17 akatandikira ku lupapula 53.] Akatabo kano kalaga engeri gye tuyinza okufunamu obulamu obutaggwaawo era n’engeri obulamu gye bulibaamu ng’ekisuubizo ekyo kituukiridde.”
Amaka
◼ “Ffenna twagala okuba n’obulamu bw’amaka obusanyusa. Si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga nti amaka okusobola okuba amasanyufu, buli omu alina okukoppa Katonda ng’alaga abalala okwagala.” Soma Abaefeso 5:1, 2 n’ebyo ebiri ku lupapula 135, akatundu 4.
Aw’Okusula
◼ “Mu bitundu bingi kizibu nnyo okufuna aw’okusula awalungi ate nga waja mu funa y’omuntu. Olowooza ekiseera kirituuka buli omu n’aba n’aw’okusula awalungi. [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 65:21, 22 n’ebyo ebiri ku lupapula 34, akatundu 20.] Akatabo kano kalaga engeri ekisuubizo kya Katonda kino gye kirituukirizibwamu.
Yakuwa Katonda
◼ “Abantu bangi abakkiririza mu Katonda baagala okuba n’enkolagana ey’okulusegere naye. Obadde okimanyi nti Baibuli etukubiriza okuba n’enkolagana ey’okulusegere ne Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yakobo 4:8a n’ebyo ebiri ku lupapula 16, akatundu 20.] Akatabo kano kategekeddwa okuyamba abantu okwongera okuyiga ebikwata ku Katonda nga bakozesa Baibuli zaabwe.” Mulage ebibuuzo ebiri waggulu ku lupapula 8.
◼ “Abantu bangi basaba nti erinnya lya Katonda litukuzibwe. Wali weebuuzizzaako linnya ki eryo eririna okutukuzibwa? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 83:18 n’ebyo ebiri ku lupapula 195, akatundu 2-3.] Akatabo kano kalaga ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku Yakuwa Katonda n’ekigendererwa kye eri abantu.”
Yesu Kristo
◼ “Abantu bangi ku nsi baali bawuliddeko ku Yesu Kristo. Abamu bagamba nti yali muntu buntu omwatiikirivu. Ate abalala bamusinza nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Olowooza ekyo kye tukkiriza ku Yesu Kristo kikulu?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yokaana 17:3 n’akatundu 3 akatandikira ku lupapula 37. Musomere ebibuuzo ebiri ku ntandikwa y’essuula eyo.
Okusaba
◼ “Wali weebuuzizzaako engeri Katonda gy’addamu okusaba? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Yokaana 5:14 , 15 n’ebyo ebiri ku mpapula 170-2 obutundu 16-18.] Essuula eno ennyonnyola ensonga lwaki tulina okusaba Katonda era n’ekyo kye tulina okukola Katonda okusobola okuwulira okusaba kwaffe.”
Eddiini
◼ “Abantu bangi batandise okutunuulira amadiini ng’ensibuko y’ebizibu so si ng’agabayamba okugonjoola ebizibu byabwe. Ggwe olowooza amadiini gawa abantu obulagirizi obulungi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 7:13, 14 n’akatundu 5 akatandikira ku lupapula 145.] Essuula eno eyogera ku nsonga mukaaga eziraga okusinza Katonda kw’asiima.” Mulage olukalala oluli ku lupapula 147.
Obutyabaga/Okubonaabona
◼ “Bwe wagwawo obutyabaga, abantu bangi beebuuza oba nga ddala Katonda afaayo era oba nga alaba engeri gye babonaabonamu. Ekyo ggwe tokyebuuzangako? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Peetero 5:7 n’ebyo ebiri ku lupapula 11, akatundu 11.] Akatabo kano kannyonnyola engeri Katonda gy’agenda okumalirawo ddala okubonaabona.” Musomere ebibuuzo ebiri ku lupapula 106.
Entalo/Emirembe
◼ “Buli wamu abantu baagala emirembe. Olowooza kirooto bulooto okusuubira nti emirembe gisobola okubaawo mu nsi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 46:8, 9.] Akatabo kano kannyonnyola engeri Katonda gy’agenda okutuukirizaamu ekigendererwa kye ekinaasobozesa emirembe okubaawo mu nsi yonna.” Mulage ekifaananyi ekiri ku lupapula 35, era mukubaganye ebirowoozo ku butundu 17-21 obuli ku mpapula 33-4.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Engeri Gy’Oyinza Okwogera ku Nteekateeka ey’Okuwaayo Kyeyagalire
“Bw’oba nga wandyagadde okubaako ky’owaayo leero okuwagira omulimu gwaffe ogw’ensi yonna, nja kukisiima nnyo.”
“Wadde ng’ebitabo byaffe tebiriiko mutemwa, tukkiriza kyonna ky’osobola okuwaayo okusobola okuwagira omulimu guno.”
“Oyinza okuba nga weebuuza engeri omulimu guno gye guyimirizibwawo. Omulimu guno ogukolebwa mu nsi yonna guwagirwa na kuwaayo kyeyagalire. Bw’oba ng’olina kye wandyagadde okuwaayo leero, nja kukisiima nnyo.”