LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/02 lup. 3-6
  • Ezimu ku Nnyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ezimu ku Nnyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kubuulira
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri y’Okutandikamu Emboozi
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Brocuwa Atwetaagisa
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Akatabo Okumanya
  • Ebitabo Ebirala
  • Ennyanjula Etuuka Obutereevu ku Nsonga
  • Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Okozesa Brocuwa Zino?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Weeyambisa Brocuwa Atwetaagisa Okutandika Okusomesa Abantu Baibuli?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kubuulira
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 1/02 lup. 3-6

Lutereke

Ezimu ku Nnyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kubuulira

Engeri y’Okukozesaamu Olupapula Luno

Nnyingi ku nnyanjula zino eziddirira zaafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka obw’emabega. Gezaako okukozesa ennyanjula ez’enjawulo mu mulimu gwo ogw’okubuulira era olabe ebivaamu. Tereka olupapula luno olw’omunda era olukozesenga nga weeteekateeka okugenda okubuulira.

Oyinza okusikiriza omuntu okwagala okumanya ebiri mu kigambo kya Katonda singa otuukirawo ku nsonga. Mubuuze ekibuuzo, ate oluvanyuma soma eky’okuddamu ekyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ekiri mu bufunze. Oyinza okukozesa ennyanjula zino:

“Bw’ofumiitiriza ku biseera eby’omu maaso, muli ofuna essuubi oba weeraliikirira? [Muleke abeeko ky’addamu.] “Baibuli yalagula ku mbeera ezeeraliikiriza eziriwo leero n’ebinaavaamu.”​—2 Tim. 3:1, 2,  5; Nge. 2:21, 22.

“Leero abantu beeraliikirira okulwala. Obadde okimanyi nti Katonda asuubiza okukomeza ddala okulwala?”​—Is. 33:24; Kub. 21:3, 4.

“Obadde okimanyi nti Baibuli eragula nti ekiseera kijja kutuuka wabeewo gavumenti emu yokka efuga ensi yonna?”​—Dan. 2:44; Mat. 6:9, 10.

“Olowooza ensi yandibadde mu mbeera ki singa Yesu Kristo y’abadde agifuga?”​—Zab. 72:7, 8.

“Abantu bangi basosolwa olw’okuba bakazi oba basajja, olw’enzikiriza zaabwe oba langi. Olowooza Katonda awulira atya olw’okusosola okwo?”​—Bik. 10:34, 35.

“Tumanyi nti Yesu Kristo yakola ebyamagero bingi mu biseera bye. Singa obadde wa kumusaba akoleyo ekyamagero kimu, kiruwa kye wandimusabye?”​—Zab. 72:12-14, 16.

“Abantu abasinga obungi beenyiyiddwa okuwulira ebikwata ku bizibu. Baagala kuwulira ngeri ebizibu ebyo gye biyinza okugonjoolebwamu. Naye ddala wa we tuyinza okukyukira okusobola okugonjoola ebizibu byaffe?”​—2 Tim. 3:16, 17.

“Osobola okutegeera Obwakabaka bw’osaba mu Ssaala ya Kitaffe ali mu ggulu?”​—Kub. 11:15.

Engeri y’Okutandikamu Emboozi

Olukalala lw’ebibuuzo ebiddirira, luggiddwa mu katabo Reasoning, era luwa n’olupapula ekibuuzo we kiddibwamu mu katabo ako:

Lwaki tukaddiwa era ne tufa? (98)

Abafu bali mu mbeera ki? (100)

Waliwo ensonga ennywevu lwaki twandikkiririzza mu Katonda? (145)

Ddala Katonda afaayo ku bitutuukako ffe ng’abantu? (147)

Katonda muntu wa ddala? (147)

Abantu abalungi bonna bagenda mu ggulu? (162)

Omuntu alina kugenda mu ggulu okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu? (163)

Lwaki kikulu okumanya n’okukozesa erinnya lya Katonda? (196)

Ddala Yesu Kristo Katonda? (212)

Obwakabaka bwa Katonda bunaakola ki? (227)

Obulamu bulina makulu ki? (243)

Kiki ekiyinza okutereeza obufumbo? (253)

Eddiini zonna zisiimibwa Katonda? (322)

Omuntu asobola atya okumanya eddiini entuufu? (328)

Setaani alina buyinza bwenkana wa mu nsi leero? (364)

Lwaki Katonda akkirizza okubonaabona okubeerawo? (393)

Lwaki waliwo obubi bungi? (427)

Ani afuga ensi eno—Katonda oba Setaani? (436)

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Brocuwa Atwetaagisa

“Awatali kubuusabuusa okikkiriza nti abantu bangi bakkiririza mu Katonda. Bonna abamukkiririzaamu bakkaanya nti alina ky’atwetaagisa. Kyokka, abantu kye batakkaanyako kikwata ku ekyo Katonda ky’atwetaagisa.” Kati mulage brocuwa Atwetaagisa, obikkule ku ssomo 1, era mulikubaganyeeko ebirowoozo.

“Ng’obulamu bw’amaka leero bujjuddemu ebizibu, wali weebuuzizza ekyama eky’okufuna essanyu mu maka?” Ng’amaze okubaako ky’addamu, munnyonnyole nti mu Baibuli, Katonda abikkula ekyama eky’okufuna essanyu mu maka. Soma Isaaya 48:17. Oluvanyuma bikkula ku ssomo 8 mu brocuwa Atwetaagisa, era oyogere ku byawandiikibwa ebimu ebiweereddwa ebiwa obulagirizi obwesigika obukwata ku buli muntu mu maka. Soma olukalala lw’ebibuuzo oluli ku ntandikwa y’essomo. Buuza gw’oyogera naye oba nga yandyagadde okumanya eby’okuddamu.

“Akatabo kano kannyonnyola enjigiriza za Baibuli enkulu. Ku buli lupapula ojja kusangako eby’okuddamu mu bibuuzo ebitawaanyizza ennyo abantu okumala ebyasa n’ebyasa. Ng’ekyokulabirako, Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa? Bikkula ku ssomo 5, era osome ebibuuzo ebiri ku ntandikwa yaalyo. Buuza gw’osanze awaka ekibuuzo ky’asinga okwagala okuddibwamu. Oluvannyuma soma akatundu akaddamu ekibuuzo ekyo era okebere n’ebyawandiikibwa ebigenderako. Mutegeeze nti n’ebibuuzo ebirara biyinza okuddibwamu mu ngeri ematiza okuyitira mu nkola y’emu. Mutegeeze nti ojja kuddayo omulundi omulala mweyongere okwetegereza ebibuuzo ebirala.

“Olowooza lwaki amasomero galimu ebikolwa eby’obukambwe bingi? Olowooza kiva ku bazadde obutagunjula baana baabwe? Oba kiva ku kintu kirala gamba Omulyolyomi?” Muleke abeeko ky’addamu. Singa addamu nti kiva ku Mulyolyomi, soma Okubikkulirwa 12:​9, 12. Nnyonnyola ekyo Omulyolyomi ky’akoze okuleetawo obutabanguko mu nsi. Olwo bikkula brocuwa Atwetaagisa ku ssomo 4, era omubuuze oba nga yali yeebuuzizzaako wa Omulyolyomi gye yava. Soma era mukubaganye ebirowoozo ku butundu obubiri obusooka. Bw’addamu nti ebikolwa eby’obukambwe mu masomero biva ku “bazadde obutagunjula baana baabwe,” soma 2 Timoseewo 3:​1-3 era omulage engeri eziviirako ekizibu kino. Kati bikkula brocuwa Atwetaagisa ku ssomo 8, soma akatundu 5, era mweyongere mu maaso n’okukubaganya ebirowoozo.

“Olowooza twandisuubidde Omutonzi waffe okutuwa obulagirizi bwe twetaaga okusobola okuba n’obulamu bw’amaka obulungi?” Ng’amaze okubaako ky’addamu, mulage brocuwa Atwetaagisa. Bikkula ku ssomo 8, era omulage nti mulimu emisingi gya Baibuli egikwata ku buli muntu ow’omu maka. Mulage engeri y’okukozesaamu brocuwa eno ne Baibuli.

“Olw’ebizibu ebingi bye tusanga mu bulamu leero, olowooza okusaba kuyinza okutuyamba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi bagamba nti okusaba kubawa amaanyi. [Soma Abafiripi 4:​6, 7.] Wadde kiri kityo, omuntu ayinza okuwulira nga okusaba kwe tekuddiddwamu. [Bikkula brocuwa Atwetaagisa ku ssomo 7.] Brocuwa eno ennyonnyola engeri okusaba gye kuyinza okubaamu okw’omuganyulo gye tuli.”

“Tubadde twogera ne balirwana baffe ku nsonga lwaki waliwo amadiini mangi nnyo mu nsi, so ng’ate waliwo Baibuli emu yokka. Okusinziira ku ndowooza yo, lwaki waliwo amadiini mangi nnyo leero? [Muleke abeeko ky’addamu. Bikkula brocuwa Atwetaagisa ku ssomo 13, era osome ebibuuzo ebisooka.] Ojja kuddibwamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ematiza bw’onoosoma essomo lino.”

Ng’omaze okuwa omuntu magazini Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! musabe omusomereyo akatundu kamu. Bw’aba akukkirizza, bikkula brocuwa Atwetaagisa ku ssomo 5. Mulage ebibuuzo ebiri ku ntandikwa y’essomo era musabe awulirize eky’okuddamu mu kibuuzo ekisooka ng’omusomera akatundu akasooka. Ng’omaze okusoma akatundu, mubuuze ekibuuzo owulire ky’addamu. Muwe brocuwa era bw’agikkiriza teekateeka okuddayo olabe by’anaddamu mu bibuuzo ebibiri ebisigadde.

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Akatabo Okumanya

Ng’okutte Baibuli yo mu ngalo, tandika ng’oyogera bw’oti: “Waliwo ekyawandiikibwa kye tukubaganyaako ebirowoozo leero na buli muntu gwe tusanga mu kitundu kyammwe. Kigamba . . . ” Soma Yokaana 17:3, oluvannyuma buuza ekibuuzo: “Weetegerezza ekisuubizibwa singa tubeera n’okumanya okutuufu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ludda wa omuntu gy’ayinza okufuna okumanya okwo?” Ng’amaze okubaako ky’addamu, mulage akatabo Okumanya, era omugambe: “Akatabo kano koogera ku kumanya okutuusa mu bulamu obutaggwaawo. Kasobola okukola ekyo nga kaddamu ebibuuzo abantu bye batera okuba nabyo ebikwata ku Baibuli.” Mulage olukalala lw’ebirimu, era omubuuze oba nga yali yeebuuzizzaako ebibuuzo ebikwata ku nsonga ezo.

“Wali weebuuzizzaako oba nga Katonda afaayo ku butali bwenkanya n’okubonaabona bye tulaba oba ebitutuukako ffe kennyini? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli etukakasa nti Katonda atwagala era nti ajja kutuyamba mu biseera eby’okulaba ennaku.” Soma ennyiriri ezimu mu Zabbuli 72:12-17. Bikkula akatabo Okumanya ku ssuula 8, era mutegeeze nti eddamu ekibuuzo obukadde n’obukadde bw’abantu kye beebuuzizza ekigamba nti, Lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo? Bwe kiba kisoboka, mukubaganye ebirowoozo ku Byawandiikibwa ebimu ebiri mu butundu 3 okutuuka ku 5, oba mukikole ng’ozzeeyo omulundi omulala.

“Bangi ku ffe twali tufiiriddwako abaagalwa baffe. Wali weebuuzizzaako oba nga tuliddamu ne tubalaba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yawa obukakafu nti abaagalwa baffe basobola okuzuukizibwa. [Soma Yokaana 11:11, 25, 44.] Wadde ng’ekyo kyaliwo ebyasa bingi ebiyiseewo, kiraga ekyo Katonda ky’asuubizza okutukolera.” Bikkula akatabo Okumanya ku lupapula 85 era osome obugambo obwogera ku kifaananyi. Bw’omala, mulage ekifaananyi ekiri ku lupapula 86, era okyogereko. Mulekere ekibuuzo kye munaakubaganyaako ebirowoozo ng’ozzeeyo omulundi oguddako: “Wandyagadde okumanya ensonga lwaki abantu bakaddiwa era ne bafa?” Ddayo mukubaganye ebirowoozo ku ssuula 6.

“Wali olowoozezzaako ku nsonga lwaki abantu baagala okuwangaala ennyo?” Ng’amaze okubaako ky’addamu, bikkula akatabo Okumanya ku ssuula 6 era osome akatundu 3. Yogera ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Ng’ojuliza ebibuuzo ebibiri ebiri ku nkomerero y’akatundu ako, omuntu mubuuze oba nga yandyagadde okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Bw’aba ng’ayagala, mukubaganye ebirowoozo ku butundu obumu obuddako.

“Tubuuza abantu oba nga kino bakikkiriza . . . ” Soma Olubereberye 1:1, era omubuuze: “Ebigambo ebyo obikkiriza?” Omuntu bw’aba abikkiriza, gamba: “Nange mbikkiriza. Kyokka, bwe kiba nga Katonda ye yatonda ebintu byonna, olowooza nti era y’avunaanyizibwa olw’obubi obuliwo?” Ng’omaze okuwuliriza omuntu oyo ky’addamu, soma Omubuulizi 7:29. Bikkula akatabo Okumanya ku ssuula 8 era osome akatundu 2. Bw’aba nga takkiriziganya na Olubereberye 1:1, mukubirize okwekenneenya obujulizi obulaga nti Omutonzi waali.—Laba akatabo Reasoning empapula 84-6.

“Okkiriza nti olw’okuba emitindo gy’empisa gikyukakyuka leero, twetaaga obulagirizi obwesigika mu bulamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde nga kye kitabo ekisingayo obukadde, Baibuli ewa okubuulirira okw’omuganyulo ku ngeri gye tuyinza okubeera n’obulamu obulungi era n’amaka amasanyufu mu kiseera kino.” Bw’omala, bikkula essuula 2 mu katabo Okumanya, era soma akatundu 10 n’olunyiriri olusooka ku katundu 11 ne 2 Timoseewo 3:16, 17.

“Wandyagadde okumanya kiki kye tusuubira mu biseera eby’omu maaso? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga nti mu biseera eby’omu maaso tusuubira Olusuku lwa Katonda! Abafumbo abaasooka Katonda yabateeka mu Lusuku bwe lutyo. Weetegereze ebigambo bino ebiraga ekifo ekyo bwe kyali kifaanana.” Bikkula akatabo Okumanya ku ssuula 8 era osome akatundu 9 wansi w’omutwe “Obulamu mu Lusuku lwa Katonda.” Bw’omala, mukubaganye ebirowoozo ku katundu 10 era soma ekyawandiikibwa ekiweereddwa ekya Isaaya 55:10, 11. Mutegeeze nti wandyagadde okukubaganya naye ebirowoozo ku ngeri obulamu gye bunaabeeramu mu Lusuku lwa Katonda oluzziddwawo ebyogerwako mu butundu 11 okutuuka ku 16.

Ng’ozzeeyo eri abo be walekera magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, oyinza okwogera bw’oti:

“Ku mulundi guli bwe nnali wano, nnakulekera kopi ya magazini Omunaala gw’Omukuumi. Oboolyawo weetegereza nti omutwe gwa magazini eyo mu bujjuvu gugamba nti Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Leero nnandyagadde okukunnyonnyola Obwakabaka obwo kye buli era ne kye buyinza okutegeeza gy’oli n’eri ab’omu maka go.” Bw’omala, bikkula brocuwa Atwetaagisa ku ssomo 6, lisome era mukubaganye ebirowoozo okusinziira ku biseera nnyinimu by’aba alina.

“Gye buvuddeko awo nnakukyalira era ne nkulekera magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Magazini ezo ziyamba abantu okweyongera okuwa Baibuli ekitiibwa era n’obulagirizi obugirimu obukwata ku mpisa. Olw’okubanga muli mpulira nti kikulu nnyo buli muntu okutegeera Ekigambo kya Katonda, nkomyewo okukulaga ekinaakuyamba okukitegeera.” Mulage brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya era omutegeeze nti wandyagadde okumuyigiriza Baibuli.

Bw’oba ng’ogaba ekitabo kyonna eky’empapula 192, oyinza okukozesa ennyanjula eno:

“Essira liteekeddwa nnyo ku bwetaavu bw’okufuna obuyigirize obulungi ennyo. Ggwe olowooza otya, buyigirize bwa ngeri ki omuntu bw’asaanidde okufuna okusobola okubeera n’essanyu era n’okutuuka ku buwanguzi mu bulamu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 9:10, 11.] Akatabo kano [yogera omutwe gw’akatabo k’omuwa] keesigamiziddwa ku Baibuli. Koogera ku kumanya okwa nnamaddala okuyinza okutuusa omuntu mu bulamu obutaggwaawo.” Mulage ensonga emu eri mu katabo era mukubirize okukasoma.

Ebitabo Ebirala

Ebirowoozo ebirala ku ngeri gy’oyinza okugabamu obutabo obulala ne brocuwa oyinza okubisanga mu Watch Tower ­Publications Index wansi w’omutwe:

Ennyanjula

Olukalala lw’Ebitabo

Ennyanjula Etuuka Obutereevu ku Nsonga

Okusobola okutandika omuyizi wa Baibuli, gezaako okukozesa ennyanjula zino ezituuka obutereevu ku nsonga:

“Obadde okimanyi nti mu ddakiika ntono nnyo osobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekikulu ekikwata ku Baibuli? Ng’ekyokulabirako, ...” Buuza ekibuuzo kimu ekiri ku ntandikwa y’amasomo agali mu brocuwa Atwetaagisa ky’olowooza nti kye kiyinza okusikiriza omuntu oyo.

“Nzize okukulaga enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere. Kiyinza okuntwalira eddakiika nga ttaano zokka okugikulaga. Olinayo eddakiika ezo ettaano?” Bw’akkiriza, kozesa essomo erisooka mu brocuwa Atwetaagisa okumulaga engeri y’okuyigamu era somayo ekyawandiikibwa kimu oba bibiri. Bw’omala, mubuuze: “Ddi lw’onoofunayo eddakiika nga 15 tusobole okusoma essomo eriddako?”

“Abantu bangi balina Baibuli, naye tebamanyi nti esobola okuddamu ebibuuzo ebikulu ffenna bye tulina ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Bw’okozesa obutabo buno [brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya] okumala essaawa emu oba ezisingawo buli wiiki, osobola okutegeera enjigiriza za Baibuli ezisookerwako mu myezi mitono. Nnandyagadde okukulaga engeri ekyo gye kikolebwamu.”

“Nzize okukuyigiriza Baibuli mu maka go ku bwereere. Bw’oba nga wandyagadde, nnyinza okukozesa eddakiika ntono okukulaga engeri abantu mu nsi ezisukka 200 gye bakubaganyamu ebirowoozo ku Baibuli mu maka gaabwe. Tuyinza okukozesa ogumu ku mitwe gino nga tukubaganya ebirowoozo. [Mulage olukalala lw’ebiri mu katabo Okumanya.] Mutwe ki ogusinga okukusikiriza?” Muleke abeeko gw’alonda. Bikkula ku ssuula gy’alonze era mutandike okusoma nga mukozesa akatundu akasooka.

“Njigiriza abantu Baibuli ku bwereere era nkyalina ebiseera mu nteekateeka yange eby’okuyigiriza abantu abalala. Kano ke katabo ke tukozesa okuyigiriza Baibuli. [Mulage akatabo Okumanya.] Okuyiga kumala emyezi mitono nnyo era kusobola okuddamu ebibuuzo nga: Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? Lwaki tukaddiwa ne tufa? Kiki ekituuka ku baagalwa baffe abafa? Era tuyinza tutya okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda? Wandyagadde nkulage engeri gye tuyigamu?”

Bw’oba ng’olina ennyanjula yonna gy’okozesa ng’esobola okuvaamu ebibala ebirungi, weeyongere okugikozesa! Gikwataganye n’ekitabo ekirina okugabibwa mu mwezi ogwo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share