LUTEREKE
Okozesa Brocuwa Zino?
The Bible—What Is Its Message?
Yategekebwa okusikiriza abo abamanyi ekitono ku Bayibuli, naddala abo abali mu madiini agatali ga Kikristaayo
Engeri y’okugigabamu: “Twandyagadde okumanya endowooza gy’olina ku kyogerwako wano mu Byawandiikibwa (oba mu kitabo kino ekitukuvu). [Soma Zabbuli 37:11, eyogeddwako mu kitundu 11.] Olowooza ensi eneeba etya ng’obunnabbi buno butuukiriziddwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kino kyakulabirako eky’essuubi n’okubudaabuda abantu ab’amawanga gonna n’enzikiriza zonna bye basobola okufuna okuva mu Bayibuli.” Soma akatundu akasooka waggulu ku lupapula 3, oluvannyuma omuwe brocuwa.
Oyinza okukola bw’oti: Bw’oba oyigiriza omuntu atali mu ddiini ya Kikristaayo ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, kozesa eddakiika ntonotono ku buli ntandikwa oba ku buli nkomerero y’okusoma kwammwe musome ekitundu kimu ekya brocuwa eno asobole okumanya mu bumpimpi ebyo ebiri mu Bayibuli.
Yategekebwa okusikiriza Abasiraamu abandyagadde okuyiga Bayibuli
Engeri y’okugigabamu: Mulage ebifaananyi ebiri ku lupapula 16-17 era ogambe nti: “Embeera eno eyawukana nnyo ku eyo gye tulaba mu nsi leero. Olowooza ekiseera kirituuka ensi yonna n’efaanana bw’eti? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Ekitabo kya Katonda kye kisuubiza. [Soma mu Bayibuli yo ekimu ku byawandiikibwa ebijuliziddwa.] Brocuwa eno etuyamba okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala nti ebisuubizo ng’ebyo bijja kutuukirizibwa.”
Oyinza okukola bw’oti: Ng’omaliriza okwogera n’omuntu ku mulundi gw’oba osoose okumukyalira, musabe alonde ekimu ku bibuuzo ebiri ku lupapula olusembayo. Oluvannyuma kola enteekateeka ey’okuddayo okubaganye naye ebirowoozo ku kibuuzo ekyo ng’okozesa brocuwa eno.
A Book for All People
Yategekebwa okusikiriza abantu abayivu naye nga bamanyi kitono ku Bayibuli
Engeri y’okugigabamu: Soma 2 Timoseewo 3:16, 17. Oluvannyuma ogambe nti: “Naawe okikkiriza nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda? Oba olowooza nti kitabo butabo ekirungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu abasinga obungi balina endowooza za njawulo ku kibuuzo kino, naye tukizudde nti batono nnyo abeekenneenyezza Bayibuli ku lwabwe. [Soma ekyokulabirako ekiri wansi w’omutwe oguli ku lupapula 3.] Brocuwa eno ennungi ewa abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’enzikiriza ez’enjawulo ensonga ennungi kwe bandisinzidde okusoma Bayibuli.”
Oyinza okukola bw’oti: Oyo gw’obuulira bw’akkiriza brocuwa, gamba nti: “Emu ku nsonga lwaki abantu bangi balowooza nti si kikulu okusoma Bayibuli eri nti amadiini gayigiriza era gakola ebintu ebikontana ne Bayibuli. Nandyagadde nkuweeyo ekyokulabirako nga nkomyewo.” Bw’oddayo, mukubaganye ebirowoozo ku bimu ku ebyo ebiri ku lupapula 4-5.
Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
Yategekebwa okusikiriza abo abalina obuyigirize obutono oba abatasobola kusoma bulungi
Engeri y’okugigabamu: “Olowooza tusobola okufuuka mikwano gya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yakobo 2:23.] Brocuwa eno esobola okutuyamba okufuuka mikwano gya Katonda nga Ibulayimu bwe yali.”
Oyinza okukola bw’oti: Ku mulundi ogusooka oba ng’ozzeeyo okumukyalira, mulage ngeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli nga mukubaganya ebirowoozo ku butundu bwonna obw’essomo 1 oba obumu ku bwo.
A Satisfying Life—How to Attain It
Yategekebwa okusikiriza abo abatafaayo ku bya ddiini
Engeri y’okugigabamu: “Abantu bangi bandyagadde okuba mu bulamu obweyagaza. Ffenna tufuna ebizibu ebiyinza okutumalako essanyu. Bwe tubifuna, tuyinza okwebuuza ku w’oluganda oba mukwano gwaffe gwe twesiga era tuyinza okunoonyereza mu bitabo oba ku Intaneeti. Ggwe olowooza amagezi ageesigika tuyinza kugafuna wa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abamu kibeewuunyisizza okukimanya nti Bayibuli erimu amagezi ag’omuganyulo. Weetegereze ekyokulabirako kino. [Mulage essuula 2, era osome ekimu ku byawandiikibwa ebijuliziddwa.] Brocuwa eno ennyonnyola engeri gye tuyinza okufunamu obulamu obweyagaza.”
Oyinza okukola bw’oti: Oyo gw’obuulira bw’akkiriza brocuwa, gamba nti: “Bangi bawulidde abantu abagamba nti Bayibuli by’eyogera si bituufu. Bwe nnaakomawo, nja kukulaga ekyokulabirako ekiyinza okukwewuunyisa ekiraga nti Bayibuli ntuufu bw’eba eyogera ku bya sayansi.” Ng’ozzeeyo, mukubaganye ebirowoozo ku katundu 4 akali ku lupapula 12.
Yategekebwa okuyamba abavubuka Abakristaayo abali mu masomero, abayigirizibwa nti ebintu byajja bifuukafuuka. Ate era, esobola okukozesebwa okukubaganya ebirowoozo n’abo abakkiriza nti ebintu byajja bifuukafuuka, abo ababuusabuusa nti Katonda gyali, n’abo abatakkiriza nti Katonda gyali (Brocuwa eno si ya kugabibwa nnyumba ku nnyumba.)
Engeri gye tuyinza okugikozesaamu nga twogera n’omuntu akkiriza nti ebintu byajja bifuukafuuka oba atakkiriza nti Katonda gyali: “Kumpi ebitabo byonna ebya sayansi ebiriwo leero biyigiriza nti ebintu tebyatondebwa wabula byajja bifuukafuuka. Olowooza enjigiriza eyo ntuufu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Nsuubira okkiriziganya nange nti bwe tuba ab’okumanya ekituufu, tusaanidde okwekenneenya enjuyi zombi. Brocuwa eno erimu obumu ku bukakafu obuleetedde abantu bangi okukkiriza nti ebintu byatondebwa.”
Oyinza okukola bw’oti: Bw’oba oli musomi, leka brocuwa eno ku ntebe yo olabe obanga eneesikiriza bayizi banno.
Real Faith—Your Key to a Happy Life
Yategekebwa okusikiriza Abasiraamu abandyagadde okuyiga Bayibuli
Engeri y’okugigabamu: Mulage ebifaananyi ebiri ku lupapula 16-17 era ogambe nti: “Embeera eno eyawukana nnyo ku eyo gye tulaba mu nsi leero. Olowooza ekiseera kirituuka ensi yonna n’efaanana bw’eti? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Ekitabo kya Katonda kye kisuubiza. [Soma mu Bayibuli yo ekimu ku byawandiikibwa ebijuliziddwa.] Brocuwa eno etuyamba okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala nti ebisuubizo ng’ebyo bijja kutuukirizibwa.”
Oyinza okukola bw’oti: Ng’omaliriza okwogera n’omuntu ku mulundi gw’oba osoose okumukyalira, musabe alonde ekimu ku bibuuzo ebiri ku lupapula olusembayo. Oluvannyuma kola enteekateeka ey’okuddayo okubaganye naye ebirowoozo ku kibuuzo ekyo ng’okozesa brocuwa eno.