Buulira “Abantu aba Buli Ngeri”
1. Ababuulizi abalungi bageraageranyizibwa batya ku babazzi abakugu?
1 Omubazzi omukugu aba n’ebikozesebwa bingi era amanyi buli kimu lw’alina okukikozesa n’engeri gy’alina okukikozesaamu. Mu ngeri y’emu, tulina ebikozesebwa eby’enjawulo ebisobola okutuyamba okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, brocuwa ezoogera ku bintu eby’enjawulo zikubiddwa okutuyamba okubuulira “abantu aba buli ngeri.” (1 Kol. 9:22) Olupapula olw’omunda lulaga ezimu ku brocuwa zino, lunnyonnyola abantu be zaategekerwa, era luliko amagezi ge tuyinza okukozesa nga tuzigaba.
2. Ddi lwe tusobola okukozesa brocuwa nga tuli mu buweereza?
2 Lwe Tuyinza Okukozesa Brocuwa: Omubazzi akozesa ekyuma ekinaamuyamba okukola obulungi omulimu gwe. Mu ngeri y’emu, naffe tuyinza okugaba brocuwa buli lwe tuba tulaba nti ejja kuganyula omuntu, so si mu myezi egyo gyokka mwe tuba tulina okugigabira. Okugeza, mu mwezi ogumu bwe kiba nti tuli ba kugaba Baibuli Ky’Eyigiriza, naye nga tubuulira mu kitundu omuli abantu abatafaayo nnyo ku Bayibuli, kiyinza okuba eky’omuganyulo okuwa omuntu brocuwa etuukirawo, oluvannyuma lw’ekiseera ng’atandise okusiima obubaka bwaffe, tuyinza okumwanjulira akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
3. Lwaki tusaanidde okulongoosa mu ngeri gye tukozesaamu ebitabo byaffe mu buweereza?
3 Ebyawandiikibwa byogera bulungi ku abo abakola obulungi emirimu gyabwe. (Nge. 22:29) Mu butuufu, tewali mulimu gusinga “mulimu omutukuvu ogw’okubuulira amawulire amalungi.” (Bar. 15:16) Bwe tuba ab’okuba ‘abakozi abataliiko kibakwasa nsonyi,’ tujja kufuba okulongoosa mu ngeri gye tukozesaamu ebitabo byaffe mu buweereza.—2 Tim. 2:15.