Yamba Abantu Okuwuliriza Katonda
1. Brocuwa ki ezaafulumizibwa ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwalina omutwe “Obwakabaka bwa Katonda Bujje!,” era lwaki za muganyulo nnyo?
1 Ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwalina omutwe “Obwakabaka bwa Katonda Bujje!,” brocuwa bbiri empya zaafulumizibwa, Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna ne ginnaayo egonzeddwamu eyitibwa Wuliriza Katonda. Olw’okuba zirimu ebigambo bitono, nnyangu okuvvuunula era kitwala ekiseera kitono. Mu butuufu, brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna yagenda okufulumizibwa mu Lungereza, nga kikakasiddwa nti ya kuvvuunulwa mu nnimi 431.
2. Baani abanaaganyulwa mu brocuwa zino?
2 Baani abanaasinga okuganyulwa mu brocuwa zino? Lowooza ku mbeera zino wammanga ezitera okubaawo okwetooloola ensi yonna:
• Omubuulizi akubaganya ebirowoozo n’omuntu ku mulundi gw’asoose okumusisinkana oba ng’azzeeyo okumukyalira, naye akizuula nti omuntu oyo teyasoma oba nti tamanyi bulungi kusoma.
• Omubuulizi abuulira abantu naye nga waliwo ebitabo bitono bye twavvuunula mu lulimi lwe boogera oba nga tetunnaba kuvvuunula kitabo kyonna mu lulimi olwo. Oba ng’abasinga obungi mu kitundu ky’abuuliramu tebamanyi kusoma lulimi lwe boogera.
• Omubuulizi akozesa olulimi lwa bakiggala okubuulira bakiggala abali mu kitundu kye.
• Omuzadde alina omwana atannayiga kusoma gw’ayagala okuyigiriza amazima.
3. Brocuwa Wuliriza Katonda yategekebwa etya?
3 Engeri gye Zaategekebwamu: Brocuwa Wuliriza Katonda erimu ebigambo bitono ddala, era ku nkomerero y’empapula ezisinga obungi kuliko ekyawandiikibwa n’ebigambo ebitonotono ebiraga ensonga enkulu. Lwaki? Kuba akafaananyi ng’omuntu akuwadde akatabo akaawandiikibwa mu lulimi lw’otosobola kusoma era nga n’ennukuta tozimanyi. Kandikusikirizza wadde nga kalimu ebifaananyi ebirabika obulungi? Oboolyawo nedda. Mu ngeri y’emu abantu abatamanyi kusoma tebatera kwagala bitabo birimu bigambo. N’olw’ensonga eyo, brocuwa eno erimu ebifaananyi ebirabika obulungi ebiriko obusaale obusonga ku kifaananyi ky’olina okuzzaako nga mukubaganya ebirowoozo.
4. Brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna yategekebwa etya?
4 Ebifaananyi ebiri mu brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna bye bimu n’ebyo ebiri mu brocuwa Wuliriza Katonda. Yategekebwa okutuyamba okuyigiriza abo abatamanyi bulungi kusoma oba abayiga obuyizi okusoma. Ate era omubuulizi asobola okukozesa brocuwa eno ng’ayiga n’omuyizi mu brocuwa Wuliriza Katonda. Buli ssomo lirina omutwe oguli mu ngeri y’ekibuuzo ekiddibwamu mu ssomo eryo. Ng’oggyeko ebifaananyi, mulimu ebigambo n’ebyawandiikibwa. Ku nkomerero y’empapula ezisinga obungi kuliko akasanduuko akalimu ensonga endala n’ebyawandiikibwa ebiyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo, okusinziira ku busobozi bw’omuyizi.
5. Ddi lwe tuyinza okugaba brocuwa zino era tuyinza kukikola tutya?
5 Engeri y’Okuzikozesaamu: Oyinza okugaba emu ku brocuwa ezo ng’obuulira nnyumba ku nnyumba buli lw’olaba nga kyetaagisa, ne bwe kiba nti si ze zimu ku bitabo ebiba bigabibwa omwezi ogwo. (Laba akasanduuko “Engeri Gye Tuyinza Okuzigabamu.”) Osobola okujanjulira omuntu ng’ozzeeyo okumukyalira. Oyinza okumugamba nti waliwo ky’oyagala okumulaga era n’ogimukwasa.
6. Tunaayigiriza tutya abantu Bayibuli nga tukozesa brocuwa zino?
6 Okuva bwe kiri nti brocuwa Wuliriza Katonda teriimu bibuuzo, si ya kukozesebwa mu ngeri ya kubuuza bibuuzo na kuddamu nga bwe kibeera nga tuyigiriza omuntu mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Mu buli ggwanga abantu banyumirwa okuwuliriza engero. N’olwekyo kozesa ebifaananyi ebirimu obanyumize ebintu ebyaliwo ebyawandiikibwa mu Bayibuli. Bannyonnyole ebifaananyi era yogera n’ebbugumu. Saba omuyizi akubuulire ky’alaba ne ky’alowooza. Soma ebyawandiikibwa ebiri ku nkomerero y’olupapula, era mubikubaganyeeko ebirowoozo. Mubuuze ebibuuzo asobole okwenyigira mu kukubaganya ebirowoozo era kikusobozese okumanya obanga ategedde. Bwe muba mukozesa brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, musomere wamu obutundu n’ebyawandiikibwa ebikwatagana n’ekifaananyi kye mukubaganyaako ebirowoozo.
7. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi waffe owa Bayibuli okukulaakulana?
7 Yamba Omuyizi Okukulaakulana: Tusuubira nti bwe munaakubaganya ebirowoozo n’omuyizi wo, kijja kumuleetera okwagala okuyiga okusoma asobole okwesomera ebikwata ku Katonda. (Mat. 5:3; Yok. 17:3) N’olwekyo, bwe kiba nti brocuwa Wuliriza Katonda gye mukozesa, oluvannyuma lw’ekiseera oyinza okumusaba omuyigirize okusoma, era osobola okumutwala mu brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Ka kibe nti munaaba mumazeeko emu ku brocuwa ezo, omuyizi ajja kuba tannatuukiriza bisaanyizo bya kubatizibwa. Osaanidde okumutwala mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba ekitabo ekirala kyonna ekinaamuyamba okwongera okutegeera Bayibuli.
8. Brocuwa zino ebbiri zinaatusobozesa kukola ki?
8 Abantu basaanidde okuwuliriza Omufuzi w’Obutonde bwonna bwe baba ab’okuba abalamu emirembe gyonna. (Is. 55:3) Ate era Yakuwa ayagala “abantu aba buli ngeri,” nga mw’otwalidde n’abo abatamanyi kusoma, bayige okumuwuliriza. (1 Tim. 2:3, 4) Brocuwa zino ebbiri empya zijja kutusobozesa okuyamba abantu okuyiga okuwuliriza Katonda.
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Engeri Gye Tuyinza Okuzigabamu
Oyo gw’osanze awaka mulage olupapula 2-3, era ogambe nti: “Wandyagadde okubeera mu nsi efaanana bw’eti? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ebyawandiikibwa bisuubiza [oba, ekitabo kino ekitukuvu kisuubiza] nti Katonda anaatera okufuula ensi eno ekifo ekirabika obulungi ennyo, omuliba emirembe, era omutaliba muntu yenna mwavu oba mulwadde. Weetegereze kye tulina okukola bwe tuba ab’okubeera mu nsi eyo. [Soma Isaaya 55:3, olulagiddwa ku lupapula 3.] Ekyawandiikibwa kino kiraga nti tulina ‘okujja’ eri Katonda ‘n’okumuwuliriza.’ Naye, Katonda tuyinza kumuwuliriza tutya?” Bikkula olupapula 4-5 mukubaganye ebirowoozo ku ky’okuddamu. Bw’aba talina biseera, mulekere brocuwa era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku ky’okuddamu.