Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Yategekebwa Okutuyamba mu Kuddiŋŋana n’Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli
1. Brocuwa ki eyategekebwa okutuyamba mu kuddiŋŋana n’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli?
1 Mu lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwalina omutwe ogugamba nti “Kuumanga Omutima Gwo,” twali basanyufu nnyo okufuna brocuwa empya ey’okutuyamba mu kuddiŋŋana n’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Okufaananako brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?, brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! erimu amasomo mampi. Kino kijja kutusobozesa okukozesa brocuwa eno okuyigiriza abantu abalina ebiseera ebitono. Kyokka, obutafaananako brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?, eyali eyogera ku ebyo Katonda bye yeetaagisa Abakristaayo ebiyinza okuzibuwalira abayizi abapya, brocuwa eno empya essa essira ku mawulire amalungi agali mu Bayibuli.—Bik. 15:35.
2. Lwaki brocuwa Amawulire Amalungi yakubibwa?
2 Lwaki yakubibwa? Ab’oluganda okwetooloola ensi yonna babadde baagala ekintu ekyangu ekiyinza okusikiriza abantu okuyiga amazima n’oluvannyuma babatwale mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, akatabo kaffe akakulu ke tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Abantu abatya okusoma ebitabo ebinene batera okukkiriza okubayigiriza Bayibuli nga tukozesa brocuwa. Okugatta ku ekyo, brocuwa nnyangu okuvvuunula mu nnimi nnyingi.
3. Brocuwa eno eyawukana etya ku bitabo ebirala bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli?
3 Engeri Gye Yategekebwamu: Ebitabo byaffe ebisinga obungi bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli byawandiikibwa mu ngeri esobozesa omuntu okubisoma n’ategeera amazima, wadde nga tewali amuyigiriza. Kyokka, brocuwa eno yo ya njawulo. Omuntu okusobola okugiganyulwamu, walina okubaawo amuyigiriza. N’olwekyo bw’oba ogiwadde omuntu, kirungi okubaganye naye ebirowoozo ku katundu kamu oba bubiri. Erimu obutundu bumpi, n’olwekyo muyinza okubukubaganyaako ebirowoozo ng’oli n’omuntu ku mulyango gwe oba mu kifo w’akolera. Wadde nga kiba kirungi okutandikira ku ssomo 1, tusobola okutandikira ku ssomo lyonna.
4. Brocuwa eno etuyamba etya okuyigiriza abantu Bayibuli butereevu?
4 Mu bitabo byaffe ebisinga obungi, eby’okuddamu mu bibuuzo bisobola okusangibwa mu butundu. Kyokka mu brocuwa eno, eby’okuddamu ebisinga bisangibwa mu Bayibuli. Abantu abasinga obungi baagala ebyo bye bayiga bibe nga biva butereevu mu Bayibuli so si mu bitabo byaffe. Eyo ye nsonga lwaki kumpi ebyawandiikibwa byonna ebiragiddwa, tebijuliziddwa. Bya kusomebwa butereevu okuva mu Bayibuli. Kino kiyamba omuyizi okulaba nti by’ayiga biva eri Katonda.—Is. 54:13.
5. Lwaki kikulu okweteekateeka obulungi buli lwe tuba tugenda okuyigiriza omuyizi?
5 Brocuwa eno tennyonnyola byawandiikibwa byonna. Lwaki? Yategekebwa okukubiriza abayizi okubuuza ebibuuzo n’okusobozesa omubuulizi okukozesa obusobozi bwe obw’okuyigiriza. N’olwekyo, kikulu nnyo okweteekateeka obulungi buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi. Weewale okwogera ennyo. Mu kifo ky’okunnyonnyola ekyawandiikibwa, kiba kirungi okusaba omuyizi annyonnyole engeri gy’akitegeddemu. Bwe tukozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi, tusobola okumuyamba okutegeera amakulu g’ekyawandiikibwa.—Bik. 17:2.
6. Tusobola tutya okukozesa brocuwa eno: (a) nga tubuulira omuntu abuusabuusa obanga Katonda gyali era obanga Bayibuli ntuufu? (b) nga tubuulira nnyumba ku nnyumba? (c) okutandika butereevu okuyigiriza omuntu Bayibuli? (d) nga tuzzeeyo eri oyo eyasiima obubaka bwaffe?
6 Okufaananako ebitabo ebirala bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli, brocuwa eno tusobola okugigaba ekiseera kyonna, wadde nga si gye tuba tugaba omwezi ogwo. Ejja kutuyamba okutandika okuyigiriza omuntu butereevu ne bwe tuba tuyimiridde ku mulyango gwe. Okugatta ku ekyo, nga bwe twawulira ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, bwe tugikozesa nga tuzzeeyo eri oyo eyasiima obubaka bwaffe, okuddiŋŋana kujja kuba kunyuvu!—Laba obusanduuko obuli ku lupapula 5-7.
7. Osobola otya okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’okozesa brocuwa eno?
7 Engeri y’Okugikozesaamu ng’Oyigiriza Omuntu: Oyinza okutandika okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ng’omusomera ekimu ku bibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu. Oluvannyuma musomere akatundu n’ebyawandiikibwa ebiwunzikiddwa. Buuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi osobole okumuyamba okutegeera ebyawandiikibwa. Nga tonnagenda ku kibuuzo ekiddako, musabe addemu ekibuuzo kye mukubaganyizzaako ebirowoozo, okakase obanga ategedde bulungi. Ku mirundi egisooka, kiba kirungi ne mukubaganya ebirowoozo ku kibuuzo kimu kyokka ku ebyo ebiri mu nnukuta enkwafu. Oluvannyuma, osobola okwongera ku ebyo bye muyiga okutuusa lwe musoma essomo lyonna.
8. Tusaanidde kwanjula tutya ebyawandiikibwa, era lwaki?
8 Ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo “soma” bye biddamu butereevu ekibuuzo ekiri mu nnukuta enkwafu. Bw’oba oyanjula ekyawandiikibwa, weewale okugamba nti, “Omutume Pawulo yagamba nti” oba, “Weetegereze obunnabbi bwa Yeremiya.” Gw’obuulira ayinza okulowooza nti omusomera bigambo bya bantu buntu. Kiba kirungi okugamba nti, “Ekigambo kya Katonda kigamba nti” oba, “Weetegereze obunnabbi bwa Bayibuli.”
9. Ebyawandiikibwa byonna birina okusomebwa nga tuyigiriza omuyizi?
9 Tulina okusoma ebyawandiikibwa byonna oba ebyo byokka ebiriko ekigambo “soma”? Kisinziira ku mbeera y’omuyizi. Ensonga eziri mu byawandiikibwa byonna ebiragiddwa nkulu, era zisobola okukubaganyizibwako ebirowoozo. Naye singa omuyizi aba talina biseera bimala, nga tannaba kusiima bulungi bubaka bwaffe, oba nga tasobola kusoma bulungi, tuyinza okusoma ebyawandiikibwa ebyo byokka ebiriko ekigambo “soma.”
10. Ddi lwe tuyinza okutwala omuyizi mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza?
10 Okumutwala mu Katabo Baibuli Ky’Eyigiriza: Bwe tukubaganya ebirowoozo n’omuntu emirundi egiwera era ne tulaba nti ajja kweyongera okuyiga, tusobola okumutwala mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba okweyongera okumuyigiriza nga tukozesa brocuwa Amawulire Amalungi, okutuusa lwe tugimalako. Tusaanidde okukozesa amagezi nga tusalawo ddi lwe tunaamutwala mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Bwe tuba tumututte mu katabo ako, tuteekwa kutandikira ku ssuula esooka? Tewali teeka lyonna ku nsonga eno kubanga buli muyizi aba wa njawulo. Wadde kiri kityo, kyandibadde kirungi okutandikira ku ssuula esooka, omuyizi ne yeeyongera okunnyonnyoka ensonga z’abadde ayiga mu brocuwa.
11. Lwaki tusaanidde okufuba okukozesa brocuwa eno empya?
11 Ennaku zino abantu basinga kuwulira mawulire mabi. N’olwekyo tulina enkizo ey’ekitalo ey’okulangirira amawulire agasingayo okuba amalungi, nti Obwakabaka bwa Katonda bufuga era nti wanaatera okubaawo ensi empya obutuukirivu mwe bulibeera! (Mat. 24:14; 2 Peet. 3:13) Tuli bakakafu nti abantu bangi abawulira obubaka buno bajja kukkiriziganya n’ebigambo bino: “Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby’obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga!” (Is. 52:7) Ka tufube okukozesa brocuwa eno empya okutwalira abantu abalumwa ennyonta ey’eby’omwoyo amawulire amalungi agava eri Katonda!
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Ababuusabuusa Obanga Katonda gy’Ali era Obanga Bayibuli Ntuufu:
● Mu bitundu ebimu, bw’oyogera ku Katonda oba ku Bayibuli abantu batera obutaagala kuwuliriza. N’olwekyo ku mulundi ogusooka, kiba kirungi okwogera ku nsonga ezibakwatako, gamba ng’obwetaavu bw’okuba ne gavumenti ennungi, ensonga ezikwata ku maka, n’ebikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso. Oboolyawo tusobola okubawa brocuwa Amawulire Amalungi nga tumaze okukubaganya nabo ebirowoozo emirundi egiwera, era nga bamaze okutegeera nti Katonda gyali era nti ne Bayibuli kigambo kya Katonda.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba:
● “Nkukyaliddeko nkubuulire Katonda by’ateeseteese okukolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Wali weebuuzizzaako obanga Katonda aliggyawo okubonaabona? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano kalaga wa mu Bayibuli w’oyinza okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. [Muwe brocuwa, musome akatundu akasooka mu ssomo 1, era musome ne Yeremiya 29:11, NW.] Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, olowooza Katonda ayagala tube n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Nnandyagadde okukulekera akatabo kano. Ku mulundi ogunaddako, tujja kukubaganya ebirowoozo ku katundu ak’okubiri tumanye engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo kino, ‘Katonda anaggyawo atya ebintu ebireetera abantu okubonaabona?’” Bw’aba akyalina obudde, muyinza okusoma era ne mukubaganya ebirowoozo ku katundu ak’okubiri, n’ebyawandiikibwa ebisatu ebiragiddwa mu katundu ako. Kola enteekateeka y’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo eky’okubiri ekiri mu ssomo eryo.
● “Abantu bangi basaba, naddala nga balina ebizibu. Naawe otera okusaba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Olowooza Katonda awuliriza essaala zonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo. [Muwe brocuwa, mukubaganye ebirowoozo ku katundu akasooka mu ssomo 12 era musome n’ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo “soma.”] Tekikusanyusa okukimanya nti Katonda mwetegefu okuwuliriza essaala zaffe? Naye okusobola okusaba mu ngeri esanyusa Katonda, tulina okumutegeera obulungi. [Genda ku ssomo 2 omulage emitwe emitono.] Nandyagadde okukulekera akatabo kano nkomewo omulundi omulala tulabe engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bino.”
● “Abantu bangi beebuuza ensi eno gy’eraga. Olowooza embeera eritereera? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi kibeewuunyisa okukimanya nti Bayibuli erimu amawulire amalungi agasobola okutuwa essuubi. Bino bye bimu ku bibuuzo Bayibuli by’eddamu.” Muwe brocuwa, omusabe alonde ekimu ku bibuuzo ebiri ku lupapula olusembayo ekisinze okumukwatako. Oluvannyuma genda ku ssomo eryo, omulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. Kola enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako mu ssomo eryo.
[Akasanduuko akali ku lupapula 7]
Gezaako Okutandikirawo Butereevu:
● “Nkukyaliddeko okukutegeeza ku nteekateeka empya ey’okuyia Bayibuli. Akatabo kano kalimu amasomo 15 agalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebikulu bye tutera okwebuuza. [Mulage ebiri kungulu n’emabega wa brocuwa.] Wali ogezezzaako okuyiga Bayibuli? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka nkulage engeri ennyangu ey’okugiyigamu. [Mukubaganye ebirowoozo ku katundu akasooka wansi w’ekibuuzo 3 mu ssomo 3, era musome Okubikkulirwa 21:4, 5. Bwe kiba kituukirawo, mukubaganye ebirowoozo ku katundu akaddako, n’ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo “soma.”] Nnandyagadde okukulekera akatabo kano. Tukukubiriza okuyiga Bayibuli ng’okozesa enkola eno. Bw’obanga wandyagadde, nsobola okukomawo ne tweyongera okukubaganya ebirowoozo. Ku mulundi ogunaddako, tusobola okukubaganya ebirowoozo ku ssomo erisooka. Weetegereze nti liri ku lupapula lumu lwokka.”
[Akasanduuko akali ku lupapula 7]
Ng’Ozzeeyo eri Oyo Eyasiima Obubaka Bwaffe:
● Bwe tuba tuzzeeyo eri eyo eyasiima obubaka bwaffe, tuyinza okumugamba nti: “Nsanyuse okuddamu okukusisinkana. Nkuleetedde akatabo kano akasobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu bye tutera okwebuuza. [Muwe brocuwa, era omulage ebibuuzo ebiri ku lupapula olusembayo.] Nsonga ki esinze okukukwatako? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma genda ku ssomo ly’alonze.] Ka nkulage engeri gy’oyinza okukozesaamu akatabo kano okufuna eby’okuddamu okuva mu Bayibuli.” Mukubaganye ebirowoozo ku katundu kamu oba bubiri era musome ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo “soma.” Mu ngeri eyo, oba otandise okuyigiriza omuntu Bayibuli! Mulekere brocuwa, okole enteekateeka ey’okuddayo okumukyalira. Nga mumaze okusoma essomo lyonna, muyinza okugenda ku ssomo eddala ly’aba alonze, oba okutandikira ku ssomo erisooka.