LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/15 lup. 3-4
  • Okuyigiriza nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyigiriza nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Engeri y’Okuyigiriza Omuntu nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Okozesa Brocuwa Zino?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandikirawo Okuyigiriza Omuntu Bayibuli ng’Okozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 9/15 lup. 3-4

Okuyigiriza nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi

1. Brocuwa Amawulire Amalungi yategekebwa etya?

1 Nga bwe twalaba mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi, ekimu ku bintu ebikulu bye tukozesa nga tuyigiriza ye brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Ebyawandiikibwa ebisinga mu brocuwa eno biragiddwa bulagibwa kisobozese omuntu okubisoma obutereevu mu Bayibuli. Ebitabo byaffe bingi biwandiikibwa mu ngeri esobozesa omusomi okuyiga ku lulwe, naye omuntu okusobola okuganyulwa mu brocuwa eno, walina okubaawo amuyigiriza. N’olwekyo bwe tugigabira omuntu tusaanidde okumulaga engeri gye tugikozesaamu okuyigiriza abantu Bayibuli, asobole okutegeera amawulire amalungi agali mu Bayibuli.​—Mat. 13:44.

2. Tuyinza tutya okukozesa brocuwa eno nga tubuulira omuntu omulundi ogusooka?

2 Ku Mulundi gw’Osoose Okubuulira Omuntu: Oyinza okumugamba nti: “Nkukyaliddeko, kubanga abantu bangi beeraliikirivu olw’ebyo ebigenda mu maaso mu nsi. Ggwe olowooza embeera eneetereera? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli erimu amawulire amalungi agasobola okutuwa essuubi. Bino bye bimu ku bibuuzo Bayibuli by’eddamu.” Muwe brocuwa, era omusabe alondeko ekimu ku bibuuzo ebiri ku lupapula olusembayo. Oluvannyuma omulage engeri gye tuyigirizaamu Bayibuli ng’okozesa akatundu akasooka ak’essomo ly’alonze. Oba oyinza okubuuza omuntu ekibuuzo ekiddibwamu mu ssomo ggwe ly’oba olonze, oluvannyuma n’okozesa brocuwa okumulaga engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo. Bwe wabaawo vidiyo ku mukutu jw.org ekwatagana n’essomo eryo, ababuulizi abamu bagiraga omuntu.

3. Nnyonnyola engeri gye tuyinza okuyigirizaamu omuntu Bayibuli nga tukozesa brocuwa Amawulire Amalungi.

3 Nga Tuyigiriza: (1) Soma ekibuuzo ekiri mu nnukuta enkwafu osobole okuyamba omuntu okussa ebirowoozo ku nsonga enkulu eyogerwako. (2) Soma akatundu akali wansi w’ekibuuzo ekyo. (3) Soma ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo “Soma,” oluvannyuma omubuuze ebibuuzo ebituukirawo asobole okulaba engeri ebyawandiikibwa ebyo gye biddamu ekibuuzo ekiri mu nnukuta enkwafu. (4) Bwe wabaawo akatundu akalala wansi w’ekibuuzo, ddamu omutendera 2 ne 3. Bwe wabaawo vidiyo ekwatagana n’ekibuuzo gy’otomulagangako, funayo ekiseera ogimulage. (5) Ku nkomerero, buuza omuntu ekibuuzo ekiri mu nnukuta enkwafu osobole okukakasa obanga ensonga agitegedde bulungi.

4. Kiki ekinaatuyamba okuyigiriza obulungi nga tukozesa brocuwa Amawulire Amalungi?

4 Fuba okumanya obulungi ebyo ebiri mu brocuwa eno, era gikozese buli lw’oba ofunye akakisa. Nga tonnagenda kuyigiriza muyizi wo, lowooza ku ngeri gy’oyinza okumuyigiriza ng’okozesa ebyawandiikibwa ebiragiddwa mu ssomo lye muliko. (Nge. 15:28; Bik. 17:2, 3) Bw’oneeyongera okukozesa brocuwa eno, ojja kukiraba nti y’emu ku bitabo by’osinga okwagala okukozesa okuyigiriza abantu amazima!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share