LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Maaki lup. 5
  • Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Yamba Abantu Okuwuliriza Katonda
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Kozesa Brocuwa oba Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! mu Buweereza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Emu ku Ngeri gye Tuyinza Okukozesaamu Brocuwa Eyitibwa Bible’s Message
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Maaki lup. 5

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda

Wuliriza Katonda

Brocuwa Wuliriza Katonda yategekebwa okuyamba abantu abatasobola kusoma bulungi. Buli ssomo liri ku mpapula bbiri era erimu ebifaananyi n’obubonero obusonga ku kifaananyi ekiba kiddako.

Brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna erimu ebifaananyi bye bimu n’ebyo ebiri mu Wuliriza Katonda, naye yo erimu ebigambo bingiko, era abayizi abasobola okusoma bayinza okugikozesa. Omubuulizi asobola okugikozesa ng’ayigiriza omuyizi brocuwa Wuliriza Katonda. Ku mpapula ezisinga obungi kuliko ebirala bye basobola okukubaganyaako ebirowoozo okusinziira ku busobozi bw’omuyizi.

Omubuulizi akozesa brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, ate omuyizi akozesa brocuwa Wuliriza Katonda

Brocuwa eyo tusobola okugiwa abantu mu buweereza ekiseera kyonna ne bwe tuba nga si gye tugaba omwezi ogwo. Bw’oba oyigiriza omuntu, kozesa ebifaananyi ebiri mu brocuwa eyo okunnyonnyola ebiri mu Bayibuli. Buuza omuyizi ebibuuzo kikuyambe okumanya obanga by’ayiga abitegeera. Musome ebyawandiikibwa ebiri ku nkomerero ya buli lupapula era mubikubaganyeeko ebirowoozo. Bwe mumalako brocuwa eyo, kozesa akatabo Kiki Ddala Bayibuli Ky’Eyigiriza oba Biki bye Tuyiga mu Bayibuli, kimuyambe okukulaakulana.

Essomo mu brocuwa Wuliriza Katonda erikwata ku Adamu ne Kaawa nga bali mu lusuku Edeni
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share