Emu ku Ngeri gye Tuyinza Okukozesaamu Brocuwa Eyitibwa Bible’s Message
Abantu bangi mu kitundu kyaffe, naddala abo abatali mu madiini ga Kikristaayo, bamanyi kitono nnyo ku Bayibuli. Ababuulizi abamu nga bayiga n’abantu ng’abo mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, bakozesezza brocuwa eyitibwa Bible’s Message okuyamba abayizi baabwe okumanya mu bumpimpi ebyo ebiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ayanjula ekitundu 1 ekya brocuwa eno ekiri ku lupapula 4 nga basoma essuula 3 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Oluvannyuma, ku buli nkomerero y’okusoma kwabwe okwa bulijjo, akubaganya naye ebirowoozo ku kitundu ekirala ekya brocuwa eno. Oyiga n’omuntu amanyi ekitono ku Bayibuli oba atagimanyiddeeko ddala? Okusobola okumuyamba okuyiga ‘ebyawandiikibwa ebitukuvu ebisobola okumufuula omugezi n’afuna obulokozi,’ lowooza ku kwongereza ku ebyo bye musomye mu katabo Baibuli ky’Eyigiriza ng’okozesa brocuwa eyitibwa Bible’s Message.—2 Tim. 3:15.