Lutereke
Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kubuulira
Kozesa ennyanjula eziweereddwa wammanga nga weeteekerateekera okugaba ebitabo ebigabibwa buli mwezi.
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
“Abantu bangi abakkiririza mu Katonda bandyagadde okunyweza enkolagana yaabwe naye. Obadde okimanyi nti Katonda atukubiriza okufuna enkolagana ennungi naye? [Soma Yakobo 4:8.] Akatabo kano kaategekebwa okuyamba abantu okukozesa Baibuli zaabwe okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.” Soma akatundu 1 ku lupapula 16.
“Leero obutali bwenkanya bucaase nnyo mu nsi. Mu butuufu, kiringa bwe kyogerwako wano. [Soma Omubuulizi 8:9b.] Bangi beebuuza obanga ddala Katonda atufaako. [Soma sentensi ebbiri ezisooka mu katundu 4 ku lupapula 119.] Essuula eno ennyonnyola ensonga lwaki Katonda akkirizza obutali bwenkanya okubaawo okumala akaseera.”
Is There a Creator Who Cares About You?
“Wa we tuyinza okufuna amagezi agasingayo obulungi ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu ebitubobbya emitwe? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 7:28, 29.] Ekyawandiikibwa ekyo kiraga engeri abantu gye baatwalamu Okubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi. Ate era weetegereze abalala bye boogedde. [Mulage ebiri ku lupapula 152.] Essuula eno eyogera ku bulamu bwa Yesu n’okuyigiriza kwe.”
“Wali weebuuzizzaako nti: ‘Bwe kiba nti Katonda gyali, alituusa ekiseera n’aggyawo okubonaabona n’obutali bwenkanya ebiri mu nsi?’ [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 21:3, 4.] Akatabo kano kannyonnyola ekyo Katonda ky’anaakola okuggyawo okubonaabona awamu n’ensibuko yaakwo.” Mulage essuula 10.
Beera Bulindaala!
“Abantu bangi beeraliikirivu olw’ebizibu eby’amaanyi n’ebintu ebitiisa ebiriwo mu nsi leero. [Yogera ku kizibu ab’omu kitundu kye bamanyi.] Obadde okimanyi nti ebizibu nga bino bye bimu ku ebyo ebiri mu kabonero akalaga nti gavumenti ya Katonda enaatera okufuga ensi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma ekyawandiikibwa ekituukirawo, gamba nga Matayo 24:3, 7, 8; Lukka 21:7, 10, 11; oba 2 Timoseewo 3:1-5.] Brocuwa eno ennyonnyola ensonga lwaki kikulu okwekenneenya amakulu g’ebintu ebiriwo.”
“Abantu bangi leero bennyamivu olw’ebintu eby’entiisa ebiriwo oba olw’okufiirwa ebintu byabwe. Abamu beebuuza ensonga lwaki Katonda taziyiza bintu ng’ebyo okubatuukako. Baibuli etukakasa nti mangu ddala Katonda ajja kubaako ky’akolawo okukomya okubonaabona. [Soma Okubikkulirwa 14:6, 7.] Weetegereze omusango gwa Katonda kye gulitegeeza eri olulyo lw’omuntu. [Soma 2 Peetero 3:10, 13.] Brocuwa eno eyogera ebisingawo ku nsonga eno enkulu.”
Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
“Singa ogambibwa okubeera mu mbeera ennungi nga zino, wandikkirizza? [Mulage ekifaananyi ekiri ku lupapula 4-5, era omuleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ky’oyinza okukola okusobola okunyumirwa obulamu nga buno emirembe gyonna. [Soma Yokaana 17:3.] Akatabo kano kajja kukuyamba okufuna okumanya okutuusa mu bulamu obutaggwaawo.” Kola naye enteekateeka musome obutundu obutaano obusooka mu ssuula 1 ku lukyala lwo olunaddako.
Ng’okozesa ekifaananyi ekiri ku lupapula 188-9 n’obugambo obukyogerako, buuza nnyinimu: “Osuubira okubeera mu Lusuku lwa Katonda, okumanya okukwata ku Katonda bwe kulijjula ensi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 11:9.] Akatabo kano kajja kukuyamba okumanya ekyo Baibuli ky’eyogera ku Lusuku lwa Katonda era n’ekyo kye tulina okukola okusobola okulubeeramu.” Kola enteekateeka musome obutundu 11-16 mu ssuula 1 ku lukyala lwo olunaddako. Learn From the Great Teacher
“Olowooza ensi yandibadde nnungi okusingawo singa abantu bagoberera ebigambo bino? [Soma Matayo 7:12a. Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitabo kino kirimu ebintu bingi ebyayogerwa omuyigiriza asinga bonna abaali babaddewo.” Mulage ebifaananyi ebiri mu ssuula 17 n’obugambo obubyogerako.
“Abazadde abasinga obungi leero bafuba okuyigiriza abaana baabwe empisa ennungi. Naye olowooza kino kikulu? [Muleke abeeko ky’addamu. Soma Engero 22:6.] Weetegereze nti abazadde bakubirizibwa okutandika okutendeka abaana baabwe nga bakyali bato. Ekitabo kino kyategekebwa okuyamba abazadde okukola kino.” Mulage ebifaananyi ebiri mu ssuula 15 oba 18 n’obugambo obubyogerako.
“Emirundi mingi, abazadde beewuunya ebibuuzo abaana baabwe bye bababuuza. Ebimu ku bibuuzo ebyo biyinza okuba ebizibu okuddamu, si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaefeso 6:4.] Ekitabo kino kisobola okuyamba abazadde okuddamu ebibuuzo by’abaana baabwe.” Mulage ebimu ku bifaananyi n’obugambo obubyogerako mu ssuula 11, 12 oba 34 okutuuka 36.
Life—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation?
“Fenna tweraliikirira olw’obumenyi bw’amateeka n’ettemu ebiri mu kitundu kyaffe. Olowooza waliwo asobola okugonjoolera ddala ebizibu bino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Katonda asobola okubigonjoola.” Bikkula ku lupapula 196; soma Engero 2:21, 22 ekisangibwa mu katundu 19 era obeeko ky’okyogerako. Mulage omutwe ogw’essuula 16, era omuwe akatabo.
Bikkula ku lupapula 6, era ogambe nti: “Abantu bangi balowooza nti ensi yaffe ennungi n’obulamu obugiriko byajjawo mu butanwa. Ggwe olowooza obulamu n’ebintu ebigiriko byajjawo bitya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Waliwo obujulizi bungi obukakasa ekyo Baibuli ky’egamba nti waliwo Omutonzi alina amaanyi mangi era atwagala nnyo. Ye Katonda ow’amazima, era erinnya lye ye Yakuwa.” Soma Zabbuli 83:18, era oluvannyuma onnyonnyole engeri gye kiri ekigendererwa kye okufuula ensi yonna olusuku olulungi.
Mankind’s Search for God
“Wali weebuuzizza engeri gye tuyinza okuzuulamu eddiini esiimibwa Katonda mu ago amangi agali mu nsi leero?” Ng’amaze okubaako ky’addamu, bikkula olupapula 377. Mulage ensonga ey’omusanvu, era omubuuze obanga akkiriza nti eddiini ey’amazima esaanidde okugatta awamu abantu ab’erangi zonna. Musomeyo ekyawandiikibwa kimu ku ebyo ebiweereddwa, era bwe wabaawo ebiseera, mukubaganye ebirowoozo ku nsonga endala ku ezo eziri mu lukalala. Bw’alaga okusiima, muwe akatabo. Ku nkomerero oyinza okumubuuza, “Eddiini ey’amazima yandikutte etya ku nneeyisa y’omuntu?” Teekateeka okuddayo oddemu ekibuuzo ekyo.
Singa omuntu akugamba nti alina eddiini ye, oyinza okumugamba: “Kisanyusa okusanga abantu ab’amadiini ag’enjawulo. Abantu banoonya Katonda mu ngeri nnyingi. [Bwe kiba kituukirawo, soma Ebikolwa 17:26, 27.] Emirundi mingi, abantu bagoberera eddiini za bazadde baabwe. [Soma akatundu 12 ku lupapula 8.] Kiba kirungi okuyiga ebikwata ku madiini amalala. Ekitabo kino kiraga engeri amadiini ag’enjawulo gye gaatandikamu, bye gakola, era ne bye gayigiriza.” Mulage ekyo ekitabo kye kyogera ku ddiini ye, nga bwe kiri ku mpapula eziddirira: ey’Abasiiki (100-1); Abahindu (116-17); aba Budda (141); aba Tao (164-6); aba Confucius (177); aba Shinto (190-5); ab’Enzikiriza y’Ekiyudaaya (220-1); n’Abasiraamu (289).
Revelation—Its Grand Climax At Hand!
“Oyinza okuba nga wawulidde ku [yogera ku ebyo bibadde mu mawulire]. Abantu bwe batokomokera mu butyabaga, bangi beebuuza engeri y’okubudaabudamu abo ababa bafiiriddwa. Ggwe olina kirowoozo ki ku nsonga eyo?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma mulage ekifaananyi ku lupapula 299, ekiraga okuzuukira. Bw’omala mugambe nti: “Bangi beewuunya bwe bakitegeera nti abantu abatuukirivu n’abatali batuukirivu bajja kukomezebwawo mu bulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. [Soma Ebikolwa 24:15 nga bwe lulambikiddwa mu katundu 9 ku lupapula 297, era oluvannyuma onnyonnyole ng’okozesa akatundu 10.] Ekitabo kino kinnyonnyola ebintu ebirala bingi ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eky’ebiseera eby’omu maaso.” The Bible—God’s Word or Man’s?
“Tuli mu kiseera ng’abantu abasinga obungi balina ebizibu eby’amaanyi. Bangi beebuuza ku bawi b’amagezi okusobola okufuna obulagirizi. Ate abalala beebuuza ku balaguzi. Olowooza wa we tuyinza okufuna obulagirizi obulungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga ekintu ekikulu ffenna kye tulina okutegeera. [Soma 2 Timoseewo 3:16. Oluvannyuma bikkula ku lupapula 187, era osome akatundu 9.] Akatabo kano kajja kukuyamba okutegeera nti kya muganyulo okugoberera obulagirizi bwa Baibuli.”
The Greatest Man Who Ever Lived
“Mu kiseera kino abantu abasinga obungi balowooza ku Yesu. Kyokka, olw’okuba waliwo ebintu ebibi bingi okwetooloola ensi, abamu bayinza okwebuuza obanga ddala Yesu atufaako. Ggwe olowooza otya?” Muleke abeeko ky’addamu. Bikkula essuula 24, era oyogere ku nsonga lwaki Yesu yajja ku nsi. Oluvannyuma soma Yokaana 15:13, oggumize nti Yesu ayagala abantu.
“Omuntu bw’ayogera ku Yesu Kristo, abasinga bamulowoozaako ng’omwana omuwere oba ng’omuntu abonaabona anaatera okufa. Kye bamanyi ku Yesu kwe kuzaalibwa kwe n’okufa. Ebintu ebirungi bye yayogera ne bye yakola ng’akyali mulamu babibuusa amaaso. Ebyo bye yakola bikwata ku buli muntu eyali abaddeko ku nsi. Eyo ye nsonga lwaki kikulu nnyo okuyiga ku bintu eby’ekitalo bye yatukolera.” Soma Yokaana 17:3. Bikkula ku lupapula okuli ennyanjula, era osome akatundu ak’okuna.
Katonda Atwetaagisa Ki?
“Olowooza Katonda yakigenderera tube n’ebizibu ng’ebyo bye twolekagana nabyo leero? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 6:10.] Wali weebuuzizzaako Obwakabaka bwa Katonda kye butegeeza?” Bikkula essomo 6, era osome ebibuuzo ebiweereddwa ku ntandikwa y’essomo. Mutandikireewo okusoma oba kola naye enteekateeka musome lw’onodda.
“Wadde nga wabaddewo okukulaakulana, endwadde n’okufa bikyeyongera okulumya abantu. Omanyi Yesu ky’anaakolera abalwadde, abakaddiye, era n’abafu?” Muleke abeeko ky’addamu. Singa omuntu aba ayagala okumanya eky’okuddamu, bikkula essomo 5, era osome ebibuuzo eby’obutundu 5-6. Mubikubaganyeeko ebirowoozo oba kola naye enteekateeka mukikole ku lukyala oluddako.
Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?
“Wali weebuuzizzaako obanga okufa ye nkomerero ya byonna? Oba olowooza waliwo obulamu obulala oluvannyuma lw’okufa?” [Muleke abeeko ky’addamu.] “Baibuli eddamu ebibuuzo byonna bye tuyinza okwebuuza ebikwata ku kufa.” (Soma Omubuulizi 9:5, 10) Bikkula ku lupapula 13 mu brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu era mukubaganye ebirowoozo ku mutwe, “Embeera y’Abafu.”
“Wali weebuuzizzaako bajjajjaffe abaafa gye bali? Bali ludda wa? Basobola okutuyamba oba okutulumya?” [Muleke abeeko ky’addamu.] “Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku bafu mu Zabbuli 49.” (Soma Zabbuli 49:10, 17-19.) Oluvannyuma musome essomo 4 mu brocuwa. Sinza Katonda Omu ow’Amazima
“Olowooza wa we tuyinza okufuna obuyambi okusobola okwaŋŋanga ebizibu by’obulamu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaruumi 15:4.] Weetegereze nti Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa bituwa obulagirizi, okubudaabuda, era n’essuubi, ne tusobola okugumira ebizibu. Akatabo kano katulaga engeri gye tuyinza okuganyulwa mu ebyo bye tusoma mu Baibuli.” Yogera ku nsonga ennya eziri ku lupapula 30.
“Okuviira ddala mu kiseera kya Yesu, abantu bangi babadde basaba Obwakabaka bwa Katonda okujja. Wali weebuuzizzaako Obwakabaka obwo kye bunaakolera abantu nga buzze? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Danyeri 2:44.] Akatabo kano kannyonnyola Obwakabaka bwa Katonda kye butegeeza era n’ekyo kye bunaakola. Era kannyonnyola engeri gye tuyinza okuganyulwa mu bufuzi obwo obw’obutuukirivu.” Mulage ekifaananyi ekiri ku lupapula 92-3.