Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Apu. 15
“Abantu abamu balowooza nti buli ekibaawo mu bulamu nga mw’otwalidde n’obutyabaga, Katonda y’ayagala kibeewo. Naawe bw’otyo bw’olowooza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi essaala eno bagimanyi. [Soma Matayo 6:10b.] Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa era ddi lwe kinaatuukirizibwa? Magazini eno ewa eky’okuddamu okuva mu Baibuli.”
Awake! Apu. 22
“Mu nsi ey’akakyo kano, abantu abamu bawulira nga tebalina ssuubi lyonna. Naawe bw’otyo bw’owulira emirundi egimu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaruumi 15:4.] Abantu abasinga obungi bamanyi obukulu bw’okuba n’essuubi. Ojja kunyumirwa okusoma ensonga omusanvu mu Awake! eno ezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa eziwa essuubi.”
The Watchtower May. 1
“Nga bafuba okulongoosa embeera z’obulamu bw’abantu, abamu ku bakulembeze b’amadiini benyigira mu by’obufuzi. Kyokka, weetegereze Yesu kye yakola abantu bwe baayagala okumufuula kabaka. [Soma Yokaana 6:15.] Yesu essira yalissa ku kintu ekyandisinze okuganyula abantu. Magazini eno ekinnyonnyola.”
Awake! May. 8
“Abantu bangi boolekagana n’embeera ezisoomooza ku mirimu. Abamu bayisibwa bubi bakozi bannaabwe. Obadde okimanyi nti Baibuli erimu amagezi agayinza okutuyamba okwolekagana n’okusoomooza ng’okwo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 15:1.] Magazini eno etuwa amagezi aganaatusobozesa okutabana ne bannaffe ku mirimu.”