Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Apuli 1
“Abantu abamu balowooza nti buli ekitutuukako kiba kyatutegekerwa dda, naye ate abalala balowooza nti ffe twesalirawo kye tunaaba. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ebigambo bino. [Soma Omubuulizi 9:11.] Ekitundu kino kiraga engeri Baibuli gy’eddamu ekibuuzo: ‘Buli ekitutuukako kiba kyatutegekerwa dda?’” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 26.
Awake! Apuli
“Obufumbo bungi buggatuluddwa olw’obutali bwesigwa. Olowooza ekyawandiikibwa kino kisobola okuyamba obufumbo okuwangaala? [Soma Matayo 5:28, omuleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kirimu amagezi okuva mu Baibuli agasobola okuyamba abafumbo okukuuma obwesigwa mu bufmbo bwabwe.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.
The Watchtower Maayi 1
“Olowooza kiki ekiyinza okuleetera omuntu obutakkiririza mu Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, kikulu nnyo okuba n’okukkiriza. [Soma Abaebbulaniya 11:6.] Magazini eno eraga ebintu bina bye tusobola okukola okunyweza okukkiriza kwaffe.”
Awake! Maayi
“Abantu bangi nnyo leero bakozesa bubi eddagala. Ggwe olowooza kiva ku ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga ensonga esinga obukulu eviiriddeko kino, naddala mu baana abato. [Soma Engero 13:20.] Magazini eno ennyonnyola engeri ggwe n’ab’omu maka go gye muyinza okwewalamu ekizibu kino.”